TOP

Zari akooye eby’abasajja

By Musasi wa Bukedde

Added 16th February 2018

“Nsazeewo okuva mu bufumbo buno olw’engeri Diamond gyeyeeyisaamu etyoboola ekitiibwa kyange.

Zaridiamond1 703x422

Zari ne Diamond Platnumz.

Bya Martin Ndijjo

“EBY’ABASAJJA mbimaze kankuze abaana bange’ Zari Hussein bwe yalangiridde amangu ddala ng’amaze okwawukana ne bba Omutanzania, Diamonnd Platnumz bwe babadde mu bufumbo okumala ekiseera kyokka nga bayita mu kusoomoozebwa.

Ku Lwokusatu olwabadde olunaku lw’abaagalana, Zari yaweerezza bba Diamond Platnumz akamuli akaddugavu akalaga nti baabadde baawukanye n’agattako obubaka obutongole okumutugeeza nti obufumbo bwabwe bukomye awo.

Zari agamba Diamond ayitirizza obwenzi, era yabadde takyayinza kweyongerayo mu mukwano naye kye yavudde asalawo amwesonyiwe okwewala ebiyinza okuddirira ebitali birungi.

“Nsazeewo okuva mu bufumbo buno olw’engeri Diamond gyeyeeyisaamu etyoboola ekitiibwa kyange.

 abetto ne epetu abamu ku babatabudde Mabetto ne Sepetu abamu ku babatabudde.

 

Mmanyi nti kye nkoze kizibu naye sikyasobola kweyongerayo’, Zari bwe yategeezezza, ng’ayogera ku kwawukana ne bba.

Kyokka Zari yatangaazizza nti baawukanye mu by’obufumbo naye bajja kusigala nga balabirira abaana kuba balina obuvunaanyizibwa ku zzadde lye balina ku nsi.

Yagambye nti ajja kusobola okwebeezaawo kuba mukyala mukozi era waali ye yeetuusizzaawo. Zari yagambye nti okusinziira ku byalabye ewa Diamond, agenda kusomesa batabani be abana okuva nga bakyali bato bayige okussa ekitiibwa mu bakyala ate ayigirize muwala we obukulu bw’omukazi okuba n’empisa.

Yakiraze nti obutafaananako n’abantu bangi, abadde mu kisaawe ky’ebyamasanyu okumala emyaka 12 naye okusoomoozebwa kwonna abadde akuyitamu nga muwanguzi era yeebaza abawagizi be abangi ababadde naye buli kadde.”

ENGERI ABAKAZI GYE BA BATABUDDE

Wadde Zari agezezzaako okugumiikiriza embeera za Diamond ez’okubaliga, yatendewaliddwa olw’olukalala lw’abawala bba b’ayagala olweyongera buli olukya.

Abadde akyalwana olutalo lwa moddo Omutanzania, Hamisa Mobettu (eyajja mu Uganda mu December) ayagala okumusuzza eddya ate yagenze okuwulira nga waliwo omuwala omulala Tundu Sebastian agambibwa okuba nti kati Diamond gw’apepeya naye ate nga waliwo n’omulala Pansheni Salam.

 

Mu kiseera kye kimu, Diamond agambibwa okuba nga yadding’ana ne mwana muwala Wema Sepetu omu ku bawala be yasooka okwagala akola obwa moddo era omuzannyi wa firimu ng’ono sereebu e Tanzania era tebalima kambugu na Zari.

Omwaka guwedde Zari yatabukira Diamond bwe yategeezezebwako nti yali azadde omwana mu Hamisa Mobetto.

Diamond yasooka kwegaana mwana kyokka oluvannyuma yakkiriza ng’agamba tayinza kwegaana musaayi gwe era kye yakola kwali kuwooyawooya Zari amusonyiwe n’amukakasa nga bw’atagenda kuddamu kuganza mukazi mulala era n’akakasa Zari nti ye mukyala we omutongole Zari akooye eby’abasajja abalala bamwegwanyiza bwegwanyiza, tabaliiko.

Diamond era azze ayogerwako okuganza abakazi abalala okuli Jesca Honey ow’e Burundi n’abalala bangi e Kenya n’awalala.

Mukwano gwa Diamond ayogedde Wadde nga Diamond tannaba kubako ky’ayogera ku nsonga za Zari, Omu ku mikwano gye atayagadde kumwatuukiriza mannya yasekeredde Zari ng’agamba Diamond abadde yamukoowa dda ng’ayagala yeegobe ekituukiridde.

“Laavu ya Zari ne Diamond yaggwawo dda lwakuba Diamond kibadde kimukaluubiriza okwatulira Zari kwe kusalawo okukola ebintu ebimunyiiza yeegobe era kino kyatuukiridde Diamond waaali musanyufu.”

Okumanya Zari yalumiddwa nnyo, ono yatuuse n’okujuliza omugenzi Ivan Ssemwanga gweyayogeddeko nti ye musajja yekka eyali amutegeera ate nga yamulabula ne ku Diamond.

Zari okwagalana ne Diamond yadduka ku Ssemwanga ng’ono yamuleka amuzaddemu abaana basatu abalenzi ate Diamond amulinamu abaana babiri omulenzi n’omuwala.

Wabula waliwo abagamba nti Zari ayinza okuba ng’ali ku kakodyo ng’alina ky’ateekateeka okukola

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Story 220x290

Bamukubye kalifoomu ne bamuwamba...

POLIISI y'omu Bbuto ekisangibwa e Bweyogerere mu munisipaali y'e Kira eronze omuwala Joan Nagujja (32) mu kiwonvu...

Wanika1 220x290

'Okusomesa abaana eddiini kye ky'okulwanyisa...

AKULIRA yunivasite y’Abasiraamu asabye Bannayuganda okukosomesa abaana eddiini ng’ekyokulwanyisa okumalawo ebikolobero...

Card1 220x290

Kiki ekifuna sizoni eno?

Obadde okimanyi nti ku 40,000/= osobola okutandika bizinensi ya Success Cards ne wenogera ensimbi?!

Uneb3 220x290

Ebigezo by'e Mbarara byatuukidde...

Ebigezo bya S4 ebya UCE byatuusidwa ku Poliisi y'e Mbarara nga bikuumibwa butiribiri abaserikale ba miritale...

Exams3 220x290

Ebibuuzo bya UCE 2019 bitandise...

Ebibuuzo bya S4 bitandise na kigezo kya Physics Practicals.