TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni afunye lipooti y'akakiiko k'omulamuzi Bamugemereire ku mivuyo gy'ettaka.

Museveni afunye lipooti y'akakiiko k'omulamuzi Bamugemereire ku mivuyo gy'ettaka.

By Muwanga Kakooza

Added 16th February 2018

Museveni afunye lipooti y'akakiiko k'omulamuzi Bamugemereire ku mivuyo gy'ettaka.

Jib1 703x422

Bamugemereire ng'akwasa Pulezidenti lipoota y'emivuyo gy'ettaka ekoleddwa okumala emyezi musanvu

PULEZIDENTI Museveni afunye lipooti ey’ekiseera ekwata ku byakazuulwa  akakiiko k’omulamuzi Catherine Bamugemereire akali mu kubuuliriza ku mivuyo gy’ettaka mu ggwanga.

Ssentebe w’akakiiko kano  Justice Catherine Bamugemereire, y'amukwasizza lipooti eno ng’amusisinkanye ku ffaamu ye e Kawumu mu disitulikiti y’e Luwero. Lipooti ennyonnyola ebyakazuulibwa akakiiko kano mu myezi omusanvu gye kaakamala nga kakkalabya emirimu.

Akakiiko kassibwawo mu 2016 okunoonyereza ku muze gw’okugobaganya abantu ku ttaka  okwali kuyitiridde .Era kasabwa okutunuulira oba amatteeka gaali gakola bulungi ku nsonga z’ettaka wamu n’okulaba engeri abantu gye bafunamu ettaka n’engeri y’okulifunirako ebyapa.

 Bamugamereire agamba nti abantu bajjumbidde nnyo okujja mu kakiiko kano era kafunye okwemulugunya kwa mirundi  4,900 ne kawuliriza okwemulugunya kw’abantu 287 wamu n’okwenneenya okwemulugunya kw’abantu nga 600.

Ategeezezza nti kino kiraga nti ensonga z’ettaka nkulu nnyo eri eggwanga kuba zeekuusa ku by’obulimi eggwanga kwe liyimiridde.

Akakiiko kagamba nti wasaanye okussibwawo ekitongole ekivunaanyizibwa ku nsonga z’ettaKa ekya ‘’Land Authority and Conservation Agency’’. Era lipooti eyagala ebitongole bya gavumenti biyambe ku kakiiko okussa mu nkola bye baakazuula.

Pulezidenti Museveni yebazizza akakiiko olw’omulimu gwe kakola. N’agamba nti ettaka kati ligenda kuyamba mu kulaakulanya obulungi ensi n’agamba nti okuva mu 1924 tewabanhawo kakiiko ku bya ttaka  n’agamba nti kano kalina obuyinza era  gwe kazuula n’ebicupuli kasobola okumusima emyaka musanvu. 

Pulezidenti yagambye nti agenda kuwa akakiiko abapoliisi abakulu ne bannamatteeka okwongera okukayamba okukola emirimu gyako. N’agamba nti gavumenti ejja kukubaganya ebirowoozo ku nsonga zino lipooti enzijjuvu bwenaaletebwa mu May w’omwaka guno.

Abali ku kakiiko kuliko; Mary Odupa Ochan,  Robert Ssebunya, Muky. Joyce Habasa, Dr. Rose Nakayi,  eyali omumyuka wa ssabawolereza wa gavumenti  Fred Ruhindi, Mw. George Bagonza Tinkamanyire, Muky.. Olive Kazzarwe Mukwaya, Mw. Elbert Byenkya, Dr. Douglas Singiza ne Mw. John Bosco Rujagaata.    

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ret2 220x290

Proline esuze bulindaala

Proline esuze bulindaala

Yes3 220x290

Uganda esubiddwa eza Afrika

Uganda esubiddwa eza Afrika

Bok1 220x290

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa...

Abeebikonde bayiiseemu kavvu wa bukadde 60

Mis1 220x290

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo...

Ez'amaato bazongeddemu ebirungo

Kip2 220x290

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa...

Sheikh Dr. Rashid Semuddu Edduwa y’okusiibulukuka Allah agyanukulirawo