TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Museveni agumiza abantu ku ttemu ku mukolo gw'okujjukira Janan Luwum

Museveni agumiza abantu ku ttemu ku mukolo gw'okujjukira Janan Luwum

By Muwanga Kakooza

Added 16th February 2018

Museveni agumiza abantu ku ttemu ku mukolo gw'okujjukira Janan Luwum

Hub1 703x422

Hon Rhakana Rugunda ng'ayogera ku mukulu gw'okujjukira Janan Luwuum

PULEZIDENTI Museveni agambye nti ettemu ery’ekyeyonoonere ng’eryaliwo ku mulembe gwa Idi Amin eryatwaliramu  ne bannaddiini ng’eyali Ssabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda Janan Luwumu terisobola kubaawo ku mulembe guno gwa  NRM.

Museveni era yagambye nti okutemulwa kwa Luwum kwaziibula ensi yonna amaaso  ne kugatta Bannayuganda n’abantu abalala okuva ebweru  ng’e Tanzania okutandika okulwanyisa Idi Amin okutuusa lwe yafumuulwa mu ntebe.

Bino bibadde mu bubaka bwe obusomeddwa Katikkiro Dr. Ruhakana Rugunda ku mukolo gw’okujjukira okutemulwa kw’eyali Ssabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda Janan Luwum eyattibwa ku mulembe gwa Amin mu 1977. Luwum agambibwa nti yali munnaddiini ateerya ntama eyali ayogera ku bikyamu ebyaliwo mu kiseera ekyo.

Omukolo gubadde Kitgum mu bukiikakkono bwa Uganda era nga gukulembeddwa Ssabalabirizi aliko Stanley Ntagali era gwetabiddwaako bannaddiini , bannanyabufuzi n’abantu abalala bangi.

Museveni agambye nti omugenzi yayagala nnyo ensi ye era kino yakisasulira n’okutwalibwa kw’obulamu bwe.

 Ayongeddeko nti yalwanyisa nnyo effugabbi n’enjawukana z’amawanga n’eddiini. Era asaanye okutwalibwa ng’eky’okulabirako eri abantu  bonna awatali kulowooza ku nzikiriza zaabwe.

Akkaatirizza nti ne NRM nayo yakola ogwayo mu kulwanyisa effuggabbi era n’asuubiza nti  ejja kwongera okulaba ng’efuula Uganda ensi ekulaakulanye  era nga ya mulembe.

Ssabalabirizi Stanley Ntagali  yebazizza gavumenti olw’okuyamba ku pulojekiti z’eddiini omuli okulaakulanya ekiggwa ky’abajjulizi e Namugongo era n’asaba eyambe mu kulakulanya n’awaziikibwa Luwum.

Asabye bannaddiini obutakuba kampeyini mu biseera by’okulonda omulabirizi yenna ng’agamba nti ofiisi z’eddiini teziba za byabufuzi. Kitgum bategeka okufuna omulabirizi omuggya.

Minisita w’ensonga z’obwa Pulezidenti Esther Mbayo yasabye amaddiini okuyamba okugatta abantu ba Katonda n’okukuuma emirembe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ev1 220x290

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa...

Ekikopo kya Kanyike Cup kitongozeddwa

Mayinjangaayimba 220x290

Mayinja yeeganye eby'okuwagira...

Yayogedde ku nkolagana ye n’aba NRM n’agamba nti ali ku mulamwa gwa kubaperereza kwegatta ku kisinde kya People...

Wanga 220x290

Muwala wa kkansala owa S5 bamutuze...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Kisowera mu ggombolola y’e Nama mu disitulikiti y’e Mukono mu kiro ekikeesezza olwa...

Malawo 220x290

Ab’ewa Kisekka batabukidde Gavt....

ABASUUBUZI b’ekiwayi kya ssentebe Robert Kasolo ewa Kisekka bawadde gavumenti obukwakkulizo ku kabineeti kye yayisa...

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...