TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omuwala agamba Moze okumuzaalamu alombozze engeri aba famire ya Moze gye bamutiisatiisaamu

Omuwala agamba Moze okumuzaalamu alombozze engeri aba famire ya Moze gye bamutiisatiisaamu

By Musasi wa Bukedde

Added 17th February 2018

Omuwala agamba Moze okumuzaalamu alombozze engeri aba famire ya Moze gye bamutiisatiisaamu

Mow1 703x422

Nakalema n’omwana gw’agamba okuzaala mu Moze (ku kkono mu katono).

OMUWALA agamba nti Moze Radio yamuzaalamu omwana akutte wansi ne waggulu. Judith Nakalema,19, agamba nti y’azaala Tracey Nakibogo mu Moze alumiriza nti okuva Moze lwe yafa, agezezzaako okutuukirira aba famire y’omugenzi okubamatiza nti alina omwana w’omugenzi kyokka tayambiddwa okuggyako okwagala okumusiba n’okumulemesa okulaba maama w’omugenzi gw’alinamu essuubi ly’okumuyamba.

“Oba eky’okukebeza omwana omusaayi mukigaanye kati tukole endagaano eraga nti temujja kuvaayo wadde n’olunaku n’olumu okumukaayanira n’ekyo tukimale,’’ bwatyo Julius Jjuuko mwannyina wa Nakalema eyabadde ayogeza obusungu bwe yategeezezza ng’agamba nti bakooye aba famire y’omugenzi okubazunza. Jjuuko eyazze ne Nakalema ku ofi isi za Bukedde ku Lwokuna ng’asitudde bebbi Tracey Nakibogo agamba nti “Moze nga yaakafa, Nakalema yagenda e Makindye mu maka g’omugenzi abalage omwana eno ne bamutwala ku polliisi.

Ng’okuziika kuwedde yagenda e Kagga- Nakawuka (gye baaziika) asisinkane Muky. Jane Kasubo maama w’omugenzi kyokka Frank Ssekibogo ne banne ne bamulemesa. Leero ku Lwokuna tukubidde Ssekibogo essimu twogere ku ky’omusaayi , ono azze mu bya kututiisatiisa kutusiba nti twagala kuswaza famire yaabwe.

Kakati ddala ffe tukole ki?” Jjuuko bwe yabuuzizza Nakalema muwala wa Emmanuel Ndagizze e Ssembabule wabula mu kiseera kino abeera Kireeka ewa mwannyina Jjuuko agamba omwana gwe yazaala mu Moze omugenzi yamutuma erinnya lya Tracy Nakibogo.

ABA FAMIRE YA MOZE BOOGEDDE Meddie Sembajje omu ku booluganda lwa Moze bwe yatuukiriddwa ku ssimu ku nsonga eno yagambye nti tebanagaana kuyamba Nakalema oba okukebeza omwana omusaayi wabula bamusaba abaweemu obudde wakiri omwezi gumu bamale okwetereeza kubanga babadde mu bya kukungubaga.

“Omuwala oyo bwe yajja twamusaba atuweemu obudde tumalirize bye tubaddeko tukole ku nsonga ye kubanga naffe twagala nnyo okumanya abaana b’omugenzi bonna tulabe n’engeri gye tubayamba, bwe yagambye” Sembajje yagasseeko nti wadde ensonga yonna ekwata ku mugenzi nga famire bazikwasa looya John Katende, eky’okukebeza omwana ono omusaayi kigenda kukolebwa omugagga Bryan White eyeeyama okuwaayo ssente okuzuula abaana ba mukwano gwe Moze Radio.

Nakalema anyumya bwe yasisinkanamu Moze n’okutuuka okumuzaalamu. “Nasooka kumusisinkana mu April 2015 e Kireka. Nali ntambula ng’enda ku dduuka kwe kumusanga akawungeezi n’annyimiriza.

Olw’okuba nnali simumanyi ne bwe yang’amba nti ye Moze Radio olw’okuba nnali sigobera nnyo bya bayimbi nga ne mu Kireka naakajja ewa muganda wange saamufaako nnyo.

Twayogera kitono n’ansaba ennamba yange ey’essimu enkeera n’ankubira. Okuva olwo yatandika okunkwanira ku ssimu okutuusa lwe twaddamu okusisinkana mu July wa 2015 era e Kireka gye yansanga.

Omulundi ogwokusatu okusisinkana yankubira essimu ng’alina w’ayagala musisinkane naye olw’okutya okuva awaka nti muklulu wange ayinza okukomawo nga siriwo namusaba waakiri ajje tusisinkane wa mukwano gwange Ritah okumpi n’awaka. Yajja bw’omu ne mmotoka simanyi we yagireka kubanga nze okumulaba ng’ali ku bigere. Twayingira mu nju era bwe yansaba tukole omukwano saagana kubanga nnali mmaze okumumatira nga ssereebu era omuyimbi ow’erinnya.

Olw’okuba tetwakozesa kondomu, Moze kirabika yakimanya nti anfunyisizza olubuto anti olwali okumaliriza ng’ansiibula yang’amba kimu nti bwenfunanga olubuto simukweka era siruggyamu mukubiranga essimu ajja kumpa obuyambi. Omwezi ogwasooka saagenda mu nsonga n’ogw’okubiri okwetegereza nga ndi lubuto era namukubira essimu okumutegezza ku nsonga eno n’anziramu kimu nti mbeere mugumu agenda kumpa buli kimu.

Olw’embeera gye nalimu nali sikyasobola kubeera wa muganda wange kwe kuddayo mu kyalo era nazaalira wa Tereeza e Bukomansimbi. Nga wayise emyezi ena nga nzadde najja e Kireka owa mukwano gwange Ritah ne nkubira Moze essimu n’ajja okulaba omwana. Yasanyuka nnyo era yamuwa n’erinnya lya Nakibogo Tracy. Oluvannyuma naddayo mu kyalo era tubadde twogera ku ssiimu ng’awereeza obuyambi. Kibi nnyo nti Moze yafa talina waaluganda lwe yadde ow’omukwano gw’andaze osanga sandibadde mu bya kubonaabona bino ate era yali ansuubizza okunkolera bizinensi mu March

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Coronavirus2 220x290

Engeri Corona gy’akyusizza enkola...

MU kiseera kino buli muntu amaze okuloza ku bulumi bwa Corona. Ebyenfuna by’amawanga gonna bisannyaladde olwa Corona....

Nonya 220x290

Tunoonya abakyala abalina kebeekoledde...

Nneetaaga omukyala omukkakkamu, alabika bulungi, alina empisa okuva ku myaka 18 ne 28 omwetegefu okwekebeza omusaayi....

Lumba 220x290

Ekisenge ky’ekikomera kigwiiridde...

FFAMIRE ya bantu mwenda yasimattuse okufiira mu nju mwe baabadde beebase ekisenge ky’ekikomera kya kalina ebaliraanye...

Baana1 220x290

Byotalina kusuulirira ku mwana...

Omuzadde buli mutendera omwana gw’atuukako mu kukula kwe olina okwogerako naye.

Jjemba1 220x290

Omuyimbi Jjemba landiroodi amugoba...

OMUYIMBI omuto eyavuganya Fred Ssebatta, Vincent Segawa, Silvester Busuulwa, Mathias Walukagga, n’abalala mu mpaka...