TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi eremesezza okuziika abooluganda mu nkukutu

Poliisi eremesezza okuziika abooluganda mu nkukutu

By Musasi wa Bukedde

Added 17th February 2018

Poliisi eremesezza okuziika abooluganda mu nkukutu

Bug1 703x422

Abantu nga bakungubaga e Kaasangombe

WAABADDEWO vvaayo mpitewo e Kaasangombe mu ggombolola y’e Kalagala mu disitulikiti y’e Nakaseke abatuuze bwe bataayizza famire, ebadde egenda mu maaso n’okuziika abooluganda babiri mu nkukutu okukkakkana nga poliisi ekutte aba famire ne batwalibwa ku poliisi y’e Nakaseke.

Bino bibaddewo ku ssaawa 10:00 ez’olweggulo ku Lwokusantu aba famiire ya Daniel Kimbugwe e Kalagala bwe babadde bagenda mu maaso okuziika abooluganda Steven Kayondo 20, ne Rogers Jjuuko 23 ababadde batuuze ku kyalo ky’e Kirinnyabigo ekisangibwa e Kawanda. Mu kiseera ky’ekimu munnaabwe Kenny Kimbugwe ali mu ddwaaliro e Mulago ng’apooca.

Kigambibwa nti ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde, abooluganda bano baali mu mmotoka nga bagenda Nakawuka okukyala ku bukojja bwe baatuuka mu kkubo ne bafuna obuzibu mmotoka yaabwe n’ekwata omuliro ne gubookya.

Kino kyawaliriza abatuuze b’e Kawanda okwebuuza ebibuuzo ku ngeri mmotoka gye yakwatamu omuliro. Kigambibwa nti abasatu bano abaafuna obuzibu ababiri ne bafa waaliwo ettaka lye baali balemesa aba famire okulitunda era nga wabaddewo obutakwatagana wakati w’abaana abalenzi nga y’ensonga lwaki kiyinzika okuba nga baabakoledde olukwe okubaggyawo basobole okutunda ettaka. Abatuuze baagenda mu ddwaaliro e Mulago okulaba ku batuuze bannaabwe ng’embeera yaabwe mbi nnyo kyokka ng’abantu be bagamba nti, be baali nabo tebalabikako ate nga n’emmotoka gye bagamba nti, mwe baafunira obuzibu nayo terabika ne bagenda ku poliisi y’e Nakawuka nga nayo teriiyo.

Abantu abaagenda mu ddwaaliro e Mulago baavaayo nga si bamativu ku biwundu ebyali ku mibiri gy’abagenzi nga bagamba nti, yandibeera asidi nga ye yabookya. Ku Ssande Jjuuko ne Kayondo baafa abatuuze ne batabukira muto w’abagenzi bano eyategeerekeseeko erya Reagan nga baagala okumanya ekyabasse kyokka n’adduka. Ab’ekika bwe baategedde nti bafudde baanonye emirambo e Mulago ne bagenda butereevu ku kiggya okuziika.

Abatuuze olwategedde bino nabo kwe kufuna emmotoka ne boolekera e Kaasangombe era baasanze okusoma obubaka obukubagiza kunaatera okuggwa ne bategeeza eyabadde asoma obubaka akiyimirize basooke bamanye ebbaluwa y’abasawo okuva e Mulago ky’eyogera. Baalemeddwa okuleeta ebbaluwa eno ekyanyiizizza abakungubazi ne batandika okukola effujjo. Brian Ssendawula nga mutuuze w’e Kirinnyabigo yagambye nti, tebasobola kuziika bannaabwe nga

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Drssempangieyasingaanidwamumakagenanyonyolawebuse 220x290

Abaana Abakaramoja basomesebwe...

Ssempangi awabudde gavumenti ku baana b’e Karamoja abasibira ku nguudo n’ategeeza nga bwe batundibwa abazadde okujja...

Chozenbeckyclearwebuse 220x290

Abayimbi beesunga kusanyusa badigize...

Abayimbi ab'amannya bali mu kuwawula maloboozi olw'okwesunga okuyimba mu Kyepukulu ekiwagiddwa Vision Group ne...

Lukiikombalirira7 220x290

Buganda eyisizza embalirira yaayo...

OBWAKABAKA bwa Buganda buyisizza embalirira y’Omwaka 2019/2020 ng’eno ya nsimbi 121,079,490,880/- nga kweyongera...

Samba 220x290

Omusika atunze ebiggya ku 1500/=!...

PULOFEESA Kiwanuka Ssemakula amaziga gaamuyunguse bwe yatuuse ku butaka gy’asibuka ng’amalaalo ga kitaawe gaatundibwa...

Kub2 220x290

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza...

Gavt. esiimye ebitongole ebisikiriza abavubuka okuyingira obulimi n’obulunzi