TOP

Mbuga aggaliddwa mu kkomera ekkambwe

By Musasi wa Bukedde

Added 19th February 2018

EKKOMERA omugagga SK Mbuga gy’aggaliddwa mu Dubai, liri mu ddungu. Wadde liriko ekitundu esibirwa abaloodi, kyokka era lye lisinga obulabe mu United Arab Emirates kubanga y’eggalirwa abantu ab’omutawaana.

Mbugaprison1 703x422

SK Mbuga

Bya BASASI BAFFE

EKKOMERA omugagga SK Mbuga gy’aggaliddwa mu Dubai, liri mu ddungu. Wadde liriko ekitundu esibirwa abaloodi, kyokka era lye lisinga obulabe mu United Arab Emirates kubanga y’eggalirwa abantu ab’omutawaana.

Ekifo ekuumirwa aba­lina emisango eminene eriyo embeera enkakali abaliddukanya gye bay­isaamu abasibe.

Al Awir Central Jail, lisangibwa wakati mu ddungu Al Aweer Desert nga liri ku ttaka lya bugazi bwa yiika 250. Litiibwa nnyo naddala ekitundu kyalyo eggalirwa abantu ab’omutawaana kubanga bangi bafiirayo oba okulwali­rayo ennyo nga tebannamalako biboner­ezo byabwe.

 mulyango oguyingira mu kkomera Omulyango oguyingira mu kkomera.

 

SK Mbuga 34, yeegasse ku basibe 4,300 abaggaliddwa mu Al Awir Cen­tral Jail eri obulamu bwe wandiyise obuzibu bw’ogeraageranya ku bulamu bw’abaddemu ng’omusajja omugagga.

Wabula ekkomero lirina ebifo okuli abatemu n’abali ku misango gya nnag­gomola. Ekitundu awaggalirwa abaku­kusa enjaga n’ebiragalalagal n'abayingira mu Dubai mu bukyamu. Awasibirwa bamalaaya oba abakwatibwa mu bwenzi. Eriyo ekifo awaggalirwa abamaze okusalirwa emisango. Abakazi basibirwa walala okuva ku basajja.

SK Mbuga yakwatibwa poliisi y’e Dubai ku nkomerero ya January, bwe yali agenda okulinnya ennyonyi okudda mu Uganda.

 buga ne mukyala we aliaSK Mbuga ne mukyala we Jalia

 

Era okuva olwo abadde yaggalirwa ku Poliisi y’oku kisaawe e Dubai. Kyokka aboobuyinza mu Dubai baasazeewo okumwongerayo mu kkomera kubanga ekiseera omusibe ky’akkirizibwa okumala ku poliisi kiwed­deko.

Eno gy’ajja okubeera okutuusa ng’okunoonyereza ku misango gye kuwedde kisalibwewo okwongerwayo e Sweden eri abamuvunaana.

SK Mbuga ng’amannya ge ye Sulaiman Kabangala Mbuga agambibwa okweko­baana ne mukyala we, Jalia Birungi (Angela Vivienne Chebet) ne babba Omuzungu Sten Heinsoo 71.

 ten Sten

 

Kigambibwa nti Mbuga ne mukazi we Birungi nga mu kiseera kino aliira ku nsiko, baanyaga ku Sten, obukadde bwa Krona (ssente za Sweden) 55 mu za Uganda obuwumbi 23 mu ddiiru gye baamulukira okumuguza zaabu kyokka nga baali bamufera.

Poliisi y’e Sweden yeetaaga SK Mbuga ne Birungi babitebye naye Poliisi y’e Dubai ekyamunywezezza eyagala oku­zuula oba ddala alina ekibinja ky’abafere bwe babadde banyaga abantu.

Mbuga baamutadde mu kitundu eky’ekkomera omuli abasibe abatan­nasalirwa nga bonna bambala yunifoomu enjeru.

Omu ku Bannayuganda abakolera e Dubai, yategeezezza Bukedde nti kyeta­agisaawo looya Omuwalabu mu bwangu okukola ku by’okuggya SK Mbuga mu kkomera kubanga embeera zaalyo mbi nnyo tayinza kuziso­bola.

Yagambye nti Omuddugavu akaluu­birirwa nnyo kubanga abasibe Abawala­bu basosola nnyo abaddugavu.

Mbuga yaakava mu ddwaaliro gye yassiddwaamu ebyuma mu magulu olw’akabenje ke yagwako n’amenyeka amagulu gombi.

Ennaku z’okumuggyamu ebyuma zaayitako ng’ali mu kaduukulu ka poliisi.

 kamu ku busenge bwekkomera lino bwe kafaanana Akamu ku busenge bw'ekkomera lino bwe kafaanana.

 

Kyokka Munnayuganda ono yagam­bye nti ekirungiko ekiri ku makomera ag’omu Buwalabu, kwe kubeera nti omuntu akkirizibwa okuba ne ssente ez’okukozesaako n’agamba nti buli wiiki, omusibe akkirizibwa okubeera ne ssente za Dubai 300 ( mu za Uganda emitwalo nga 28).

Ssente omusibe z’akozesaako zisobola okumuweebwa aba famire oba mikwano gye oba zisobola okuggyibwa ku ssente z’abeera asangiddwa nazo mu kiseera w’akwatiddwa.

Kigambibwa nti Mbuga baamusanga ne ssente eziwerako mu kiseera we baamukwatira era ze zimu ku zimuyambako mu kkomera.

Ekirungi abakulira ekkomera lya Al Awir Central bakkiriza abasibe okufulu­mako ebweru mu kibangirizi okugolola ku magulu, n’okuzannyamu ku mizannyo emirondemu oba okusoma ku bitabo n’okulaba TV n’okunaabako nga kino kibaawo mu ssaawa ez’akawungeezi nga tebannalya kyaggulo ku ssaawa 12.

 kitundu ku kkomera lya l wir e ubai mwe baasibidde buga Ekitundu ku kkomera lya Al Awir e Dubai mwe baasibidde Mbuga.

 

OMUZUNGU AWERA

Kyategeezeddwa nti Omuzungu naye akola butaweera okwetegekera omusan­go. Ku by’akoze kuliko okufuna looya Munnayuganda gw’asasudde oku­noonyereza ku Mbuga naddala okuzuula ebyobugagga bya Mbuga we biri olwo omusango bwe gunaatandika asabe kkooti bitundibwe okumusasula.

Omu ku mikwano gya Mbuga yatute­geezezza nti Sten aliko looya ow’erinnya mu Kampala gwe yafunye era ono yamuwadde omulimu gwa kunoonyereza ku Mbuga n’okuzuula buli kyabugagga kye gye kiri.

Era balooya bagenda na kunoonya engeri Mbuga gy’azze asaasaanya ssente okuli n’okulaga kkopi ya bajeti y’embaga gye yakola mu December wa 2016.

 

 mbeera enzibu abasibe gye bayitamu mu makomera gebweru ano baali mu kkomera lya uantanamo ilitary rison eriddukanyizibwa merika Embeera enzibu abasibe gye bayitamu mu makomera g’ebweru. Bano baali mu kkomera lya Guantanamo Military Prison, eriddukanyizibwa Amerika.

 

 EBIMU KU BY’OBUGAGGA EBITUNUULIDDWA OKUTWALIBWA

l Eddwaaliro ery’omulembe eddene ly’azimba e Makindye mu Kiwempe zooni.

lEttaka n’ebizimbe okuli n'ebya kalina gattako ezizimbe ebipan­gisibwa e Buziga.

l Mmotoka ez’ebbeeyi okuli; Rolls Royce, Ferrari, Cross-country, Mercedes Benz, BMW, Range Rover Sport ne Vogue, Hummer n’ebirala.

l Alina bizinensi e Dubai (gy’abeera mu kiseera kino), e South Afrika ne China.

l Kkampuni za Mbuga okuli egula n’okutunda zaabu n’ebyobugagga by’omu ttaka.

 zimu ku mmotoka za buga ezebbeeyi Ezimu ku mmotoka za Mbuga ez'ebbeeyi.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.