TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ekutte n'eggalira Kamagu, munnamawulire wa Top Radio

Poliisi ekutte n'eggalira Kamagu, munnamawulire wa Top Radio

By Musasi wa Bukedde

Added 20th February 2018

POLIISI ekutte munnamawulire Richard Kasule amanyiddwa ng’omugagga Kamagu, akolera ku Top Radio mu Kampala.

Ndege 703x422

Busuulwa (mu ggaalubindi) ku poliisi e Wandegeya. Mu katono ye Kamagu

Poliisi eyabadde eduumirwa Joseph Nsabimana aduumira poliisi y'e Wandegeya yazinzeeko ofiisi za Top Radio ne bakwata Kamagu eyabadde yaakamaliriza pulogulaamu ye eya ‘Simbula first class’ ng’anaatera okuvaawo.

Kamagu olwamukutte baamuwalirizza okulinnya kabangali ya poliisi ne bamutwala ku poliisi e Wandegeya. Kyokka ensonda mu poliisi zaategeezezza nti ebigambo Kamagu by'azze ayogerera ku pulogulaamu ye bye byamuleetedde obuzibu.

Dunstan Busuulwa, akulira abakozi ku Top Radio yagambye nti Nsabimana yasoose kumukubira ssimu n’amutegeeza nti agenda kukwata Kamagu.

Bwe yamubuuzizza omusango gwe yabadde azzizza yamuzzeemu nti ensonga yabadde teyeetaaga kugyogerera ku ssimu.

Abantu ab'enjawulo baavumiridde ekikolwa kino ne bategeeza nti ebitongole ebikuumaddembe bwe binaagenda mu maaso n’okukwata abaamawulire, abantu bajja kubulwa ababalwanirira nga banyigirizibwa.

Ono ye munnamawulire owookubiri okuwambibwa mu bbanga lya wiiki emu ng’eyasooka yali munnamawulire Charles Etukuri owa New Vision.

Abaserikale abaamuwamba baamuggya ku ofiisi gy'akolera mu Industrial Area mu Kampala.

Bannamateeka abaakulembeddwaamu Asuman Basalirwa baagenze ku poliisi ye Wandegeya okuzuula omusango ogwakwasizza Kamagu.

Poliisi yasoose kugaana muntu yenna okwogera ne Kamagu, kyokka oluvannyuma yakkirizza bannamateeka okumusisinkana.

Basalirwa yategeezezza bannamawulire oluvannyuma nti Kamagu yabagambye nti baabadde tebalina musango gwe baamuguddeko.

Kyokka kyategeezeddwa nti poliisi oluvannyuma yazzeeyo ku Top Radio mu kaweefube w’okunoonya obujulizi obulumika Kamagu ku misango egitannamanyika.

Robert Sempala, akulira ekibiina kya Humam Rights for Journalists in Uganda yategeezezza nti bannamawulire kituufu tebali waggulu wa mateeka, naye poliisi bw'eba ebalinako emisango eba erina okuyita mu mitendera emituufu okusinga okubatwala mu ngeri esasamaza n’okubatiisatiisa.

Emmanuel Sserunjogi, meeya w'e Kawempe ng’ali ku poliisi ye Wandegeya, yategeezezza nti poliisi eyitirizza okutyoboola eddembe ly’abaamawulire mu ggwanga nga yeerabidde ensonga ezisinga zeetoloolera ku bannamawulire.

Yagasseeko nti okukwata munnamawulire ng’ayogedde ku nsonga etali ntuufu tekyetaagisa kukozesa lyanyi , n’okubalumba ku mirimu gye bakolera, kuba basobola okumuyita ne yeetwala ku poliisi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kanta 220x290

‘Muntaase ku baana bange abanzibako...

OMUKADDE ow’emyaka 93 atabuse n’abaana be ng’abalumiriza okubeera mu kkobaane erimugoba ku ttaka lye balyeddize....

Bonnyjpgweb 220x290

Abadde ayanula engoye z'abatuuze...

Bonny Tamale omutuuze w'oku Kalerwe Kiggundu Zooni y'asimattuse okuttibwa abatuuze b'e Bwaise oluvannyuma lw’okumusanga...

Agende 220x290

Kkooti egobye egimu ku misango...

KKOOTI y’e Nakawa egobye omusango gw’obuyeekera ogwali gwaggulwa ku basajja 14 abagam- bibwa nti beenyigira mu...

Kola 220x290

Boofiisa ba poliisi Muhangi ne...

EYALI akulira ekitongole kya Flying Squad, Herbert Muhangi abadde amaze emyaka ebiri mu kkomera ng’avunaanibwa...

Na 220x290

‘Mukebere nnamba z’essimu okuzuula...

AKAKIIKO akavunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu ggwanga aka Uganda Communication Commission (UCC) kalagidde abakozesa...