TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abayizi bakubiriziddwa okweyisa obulungi naddala mu budde bw'ekisiibo

Abayizi bakubiriziddwa okweyisa obulungi naddala mu budde bw'ekisiibo

By Musasi wa Bukedde

Added 21st February 2018

Abayizi bakubiriziddwa okweyisa obulungi naddala mu budde bw'ekisiibo

Kub1 703x422

Bya Regina Nalunga

ABAYIZI bakubiriziddwa okukomya okwenyigira mu bintu ebimenya amateeka naddala mu budde buno obw'ekisiibo . Okulabula kuno kukoleddwa Fr Micheal Kamulegeya okuva mu Ssaza lye Masaka ng’ono muyizi ku Yunivasite e Makerere.

Asinzidde ku ssomero lya Caltec Academy Makerere mukuyimba mmisa  eggulawo omwaka, okwebaza katonda olw’a bayizi kuyita ebigezo bya S4  n’okubulira abayizi engeri y’okweyiisa mu  nnaku z’ekisiibo.

Agambye nti ennaku z’ekisiibo  balina okuzitambuliza ku mpagi satu; Okwebonereza,  okwegayirira n’okudduukirira abali mu bwetaavu naddala abakadde, bamulekwa,bannamwaddu n’abasibe mu makomera.

Akubirizza  abayizi okweza obuggya nga bakyusa enneeyisa kino kibasobozese okwenyumiriza mu nnaku z’ekisiibo.

Agambye nti  ennaku za kalema nkulu nnyo mu noono y’eddiini y’obukatoliki era abasaanye okukitwala nga kyamugaso era n’abasaba okwekuuma nga batuukuvu okutuusa ekisiibo lwe kirigwako .

Avumiridde  emikuttu migatta bantu okuli yintanenti, whatsapp, facebook n’ebirala n’agamba nti gikoze ky’amaanyi okwonoona abayizi. Yasabye  abasomesa okwongeramu amaanyi mukulungamya abayizi  n’obutabawa nnyo ddembe  lisukkiridde.

Akubirizza abayizi okujjukira bulijjo omulamwa ogwabaleeta ku ssomero n’okugondera ebiragiro bya basomesa bwabwe baleme okugwa mu nsobi ezeewalika.

Br John Paul Tamale omukulu w’essomero lino Agambye nti okwagazisa abayizi eddini ky’ekimu ku byabayambye okukola obulungi mu bigezo by’omwaka oguwedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190718192802 220x290

Okwogera kwa Pulezidenti Museveni...

Okwogera kwa Pulezidenti Musevebni eri eggwanga. Tuli mu maka g'Obwapulezidenti e Nakasero

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...

Teekawo1 220x290

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu...

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri...

Club 220x290

Vipers bagitutte mu kkooti lwa...

KIRAABU ya Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero kaayo (logo) nga tebasasudde yakakola. Era eyabawawaabidde...