TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omujulizi aguddemu ekidumusi omusango ne guyimirira

Omujulizi aguddemu ekidumusi omusango ne guyimirira

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd February 2018

OMUJULIZI abadde azze okulumiriza Abasiraamu mu musango gw’obutujju n’okulya mu nsi olukwe alumbiddwa embiro kkooti n’etawulira bujulizi bwe.

Pala 703x422

Abasibe nga babazza mu kkomera e Luzira.

Omujulizi ono abadde waakuna mu musango guno naye amannya ge tegaatuddwa.

Ategeezezza omulamuzi wa Kkooti Enkulu Wilsona Masalu Musene nti, aguddemu embiro era munafu okuyimirira, okutuula n’okwogera n’asaba bamuweeyo ennaku ssatu asobole okufuna amaanyi.

Mu kifo ky’ennaku essatu z’asabye, Musene amuwadde wiiki nnamba alabe omusawo era omusango n’agwongerayo okutuusa ku Lwokuna lwa wiiki ejja n’abavunaanibwa bonna ne bazzibwayo mu kkomera e Luzira.

Abasiramu 19 bawerennemba n’emisango gy’obutujju n’okulya mu nsi olukwe ng’oludda oluwaabi lugamba nti lugenda kuleeta mu abajulizi 15 okubalumiriza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lib2 220x290

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka...

Ab'omukago gwa IPOD bateekateeka kutwala ssabawolereza wa Gavumenti mu kkooti

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte