TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kirumira yeeyanjudde ku kkooti ya Poliisi nga bwe yalagiddwa okukola buli lunaku

Kirumira yeeyanjudde ku kkooti ya Poliisi nga bwe yalagiddwa okukola buli lunaku

By Ponsiano Nsimbi

Added 23rd February 2018

MUHAMMED Kirumira yeeyanjudde ku kitebe kya poliisi ekikwasisa empisa ekya Police Standard Unit (PSU) e Bukoto, ng’atuukiriza akamu ku bukukwakkulizo obwamulagiddwa bwe yabadde ayimbulwa eggulo ku Lwokuna.

Conduct 703x422

Kirumira mu mmotoka ya Omara mwe baamutwalidde okuva e Naggulu.

Kirumira yatuuse e Bukoto ku ssaawa 4:20 ez’oku makya olunaku lw’eggulo,  wadde nga yabadde alina okutuukawo ku ssaawa 3. Yajidde mu mmotoka ekika kya Corona 100  ng’ali mu ngoye eza bulijjo.

Bwe yatuuse yayingidde butereevu mu ofiisi z’akulira ekitongole kya PSU gye yamaze essaawa nnamba n’oluvannyuma n’afuluma ku ssaawa 5:20.

Kirumira eyabadde alabika nga mukakkamu yagaanyi okwogera n’abaamawulire nga bakama be bwe baamulagidde.

Ku Lwokuna Kirumira yayimbuddwa okuva mu kkomera nga ACP Sam Omala ye yamweyimiridde.

Mu kuyimbulwa yaweereddwa obukwakkulizo obwenjawulo omuli; okweyanjula ku kitebe kya PSU buli lunaku ku ssaawa 3 ez’oku makya, obbutaddamu kwogera na baamawulire, awamu n’obutakubira bajulizi ssimu ku musango guno.

Emisango egivunaanibwa Kirumira kuliko; okulya enguzi, okutulugunya abantu, n’obutassa mu bakama be kitiibwa omuli n’omuduumizi wa poliisi mu ggwanga Gen. Kale Kayihura.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dav1 220x290

Museveni beyakuzizza bambaziddwa...

Museveni beyakuzizza bambaziddwa ennyota zaabwe

Mum2 220x290

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku...

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku kakalu ka kkooti tewayise n'addakiika n'addamu okukwatibwa

Lab2 220x290

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa...

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa alaajanye

Kab2 220x290

Ssewungu akubirizza bannaddiini...

Ssewungu akubirizza bannaddiini okuvumirira empaka

Lwa2 220x290

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo