TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Aba DP bali mu kakuyege w’okutereza obukulembeze

Aba DP bali mu kakuyege w’okutereza obukulembeze

By Musasi wa Bukedde

Added 24th February 2018

Aba DP bali mu kakuyege w’okutereza obukulembeze

Nub1 703x422

Mwesigwa

OLUTALO lw’okulwanira ebifo mu DP luleseewo ebbugumu mu kibiina abanene bwe bavuddeyo bavuganye nga bagamba nti bakooye okukolera ebyobufuzi ebweru w’ekibiina.

Ebifo ebiriko okuvuganya okw’ebbugumu kuliko; ekya Ssaabawandiisi w’ekibiina ekyalimu omugenzi Mathias Nsubuga, ekya ssentebe w’ekibiina ekyalimu Mohamed Kezaala eyaweebwa obwa ambasada mu Gavumenti, , eky’omuwanika ekyalimu omugenzi Issa Kikungwe ne ky’omumyuka w’akulira abakazi. Okulonda kwali kulangiriddwa kubaawo ku nkomerero y’omwezi guno (February) era omwogezi w’ekibiina ku ntandikwa y’omwaka guno yayimirira mu lukiiko lwa bannamawulire olutuula buli Lwakubiri ku City House n’ategeeza nti okulonda tekugenda kusukka mwezi guno.

Abaagala ebifo bwe baakitegeera ne batandikirawo kakuyege okulonda kubasange nga bamaze okufuna obuwagizi.

OLUTALO LWE LULIWA Wabaddewo ekibinja ky’abakulembeze ababadde baakoowa entalo za DP ne basalawo okwesonyiwa n’okugenda ku City House Pulezidenti Nobert Mao w’atuula.

Kigambibwa nti baagala wabeerewo okwegatta n’okuzza ekibiina ku ntikko nga bayingira mu bifo ebinene mu kibiina babikulembere. Ensonda mu kibiina kya SUUBI ne Truth and Justice Forum (TJ) ekikulemberwa Loodi Meeya Erias Lukwago zaagala bayingire bonna ekibiina bakikulembere.

Bangi basonze ku mubaka wa Palamenti Mathias Mpuuga ku kifo kya ssaabawandiisi ate abalala baagala Munnamateeka Medard Sseggona atwale eky’obuwanika. Wabula bonna tewali avuddeyo kwogera kifo ky’ayagala. Loodi meeya Erias Lukwago amateeka tegamukkiriza kwesimbawo ku kifo kyonna okuggyako ng’emyaka etaano giweddeko. Mu nteekateeka y’emu, ekiseera ky’okukyusa obukulembeze mu kibiina kyonna nga kituuse ebifo ebyo bikwatiddwa aba SUUBI ,baagala omubaka w’ekibuga Mukono Betty Nambooze Bakireke akwate eky’obwogezi bw’ekibiina n’ekifo kya munnamateeka wa DP nakyo kitwalibwe owa SUUBI.

Ate abamu ba DP ekifo kya ssentebe bakyagaliza omubaka wa Butambala Muwanga Kivumbi kuba aludde ng’alemedde ku nsonga y’obwerufu mu byobufuzi. Kyokka enkambi endala ey’abakulembeze abatuula ku kitebe kya DP nabo balina abantu baabwe be baagala mu bifo ebyo, ekibiina okusigala nga kikyabali mu ngalo Ekya Ssaabawandiisi bakyagalamu Gerald Siranda eyali omumyuka w’omugenzi Mathias Nsubuga era akirimu mu kiseera kino.

Ekya ssentebe bakyagalamu Dr. Mayambala Kiwanuka akibaddemu era eyali omumyuka wa Mohamed Kezaala. Eky’omuwanika bakyagalamu Mary Babirye Kabanda eyali omumyuka w’omugenzi Issa Kikungwe. Enkambi endala ya Dr. Lulume Bayiga. Bano baagala ku bifo bibiri atwaleko kimu.

Abamu bamwagaliza kya ssentebe wa kibiina kubanga singa adda ku bwassaabawandiisi bwe yakolako aba asse eddaala ate nga yavuganyaako ku kifo kya Pulezidenti mu kulonda okwali e Katomi.

Enkambi eyokuna eyagala kuzza Francis Bwengye ku bwassentebe ate abalala baagala looya Erias Nalukoola oba Hasibu Takuba. Ate enkambi endala omuli n’abavubuka ba UYD abatuula ku Johnson nabo beeyawuddemu. Abamu baagala Kenneth Paul Kakande ku bwassaabawandiisi, abalala ekifo bakyagalamu Dr. Lulume Bayiga ate abamu baagala omubaka Mathias Mpuuga. Enkambi endala eyagala kukomyawo eyali omubaka Micheal Mabikke mu DP ave mu kibiina kye ekya SDP.

Mu nkambi eno bagamba nti DP eyagala abantu baayo abaagenda bakomewo ekibiina kiddemu amaanyi n’ebbugumu. Ensonda zigamba nti waliwo tiimu y’abakulembeze gye basindise mu NRM okuperereza abamu ku banyigirizibwa bayingire mu kibiina kya DP era bagende babawe ebifo.

Abakulembeze ku NEC bwe baalabye nti omuliro n’olutalo lw’okulwanira ebifo lweyongedde nga n’abamu batandise okwagala okutabuka wadde abantu baabwe be baagala bo bakyasirise ne batuula ku Frola Hotel e Wakiso nga February 9, 2018. Omwogezi wa Pulezidenti w’ekibiina Fred Mwesigwa yategeeza nti wadde waliwo obwetaavu bw’okujjuza ebifo ebyo naye ekibiina kirina amateeka n’obuwaayiro obutannaba kutereezebwa

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit2 220x290

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza...

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza emmundu

Sev2 220x290

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga...

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga ku by'emmwaanyi

Det2 220x290

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku...

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku bya bba Bugingo

Kop2 220x290

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo...

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo alojja

Lap2 220x290

Eyatuga owa bodaboda asonze ku...

Eyatuga owa bodaboda asonze ku munene gw’akolera