TOP
  • Home
  • Amawulire
  • ‘Abaana bange 3 bafa batya omuliro kyokka poliisi n’esibamu nze...!’

‘Abaana bange 3 bafa batya omuliro kyokka poliisi n’esibamu nze...!’

By Musasi wa Bukedde

Added 25th February 2018

‘Abaana bange 3 bafa batya omuliro kyokka poliisi n’esibamu nze...!’

5rujytikuoilp 703x422

Nalwoga ku poliisi ne ofiisa wa Poliisi

CISSY Nalwoga n’okutuusa kati yeebuuza engeri poliisi gye yalemeddwa okunoonyereza ku nfa y’abaana be abasatu oluvannyuma lw’omuliro okubookya, kyokka ne basibamu ye! Kenny Kimbugwe 27, Rogers Juuko 29 ne Stephen Kayondo 26 be baafudde, nnyaabwe n’asibwa ku poliisi y’e Ntebe.

Nalwoga baamuggalidde ne mwannyina Moses Mayanja, (kojja w’abaana) Phionah Nakiwozi ne mutabani we gw’asigazza yekka Reagan Walugembe. Nalwoga gwe twasanze ku poliisi e Ntebe yannyonnyodde nti; “Nga February 6, 2018, abaana bansaba bagendeko ewa kojjaabwe.

Nga tebannasimbula, nayita omu ku bo ne munenya okwambala akawale akamutippye kyokka n’antegeeza nti baali basuubira okukuba endongo gye baali bagenda, ne mbeesonyiwa ne bagenda. Okuddamu okuwuliza ebibakwatako, nga bantegeeza nga bwe baggyiiridde mu muliro!” ABAANA BOOKEBWA OMULIRO Nga batuuse ewa kojjaabwe Moses Mayanja, Nalwoga agamba nti yafuna essimu ng’emutegeeza nti abaana be baddusiddwa mu ddwaaliro nga bali mu mbeera mbi. Yazambalira ku mugongo n’ayolekera e Nakawuka, mu ggombolola ya Ssisa.

Bwe yatuukayo ne bamutegeeza nti, waliwo akadomola ka walagi akaali kabwatukidde okumpi n’essigiri okwali kukaliririwwa ennyama, omuliro ne gwokya abaana be basatu! Amangu ago yagenda mu ddwaaliro e Kiruddu gye yasanga abaana be nga bapooca! “Nabatuukako nga bonna baleenya, amaziga ne gampitamu.” ABAANA BAFIIRA MU DDWAALIRO Nga bakunukkiriza okuweza wiiki mu ddwaaliro, Rogers Juuko ne Stephen Kayondo baafa. Baba baktatetenkanya entambula, neKenny Kimbugwe n’afa!

 iwanuka sewaya ngasobeddwa oluvannyuma lwabatuuze okugaana okumuwuliriza mu lukiiko Kiwanuka Ssewaya ng’asobeddwa oluvannyuma lw’abatuuze okugaana okumuwuliriza mu lukiiko.

 POLIISI EKWATA MAAMA MU KUZIIKA

Emirambo gyatwalibwa ku butaka e Nakaseke okuziikibwa. Baba bali mu kuziika, poliisi n’ekwata nnyaabwe wamu ne mwannyina Moses Mayanja (kojja w’abaana) eyali ayise abaana ewuwe okubasanyusaamu bamale bafunireyo obuzibu. Baakwata n’omuwala Phionah Nakiwozi ne Reagan Walugembe, omwana yekka eyasimattuka okwokebwa. Ate Joanita Bisirikirwa, aliira ku nsiko.

Abakwate baggulwako omusango gw’okulagajjalira obulamu bw’abagenzi ku fayiro nnamba CRB 182/2018.

POLIISI ENNYONNYODDE Akulira bambega ba poliisi e Ntebe, Daniel Batte yategeezezza nti basazeewo okuyimbula Nalwoga n’abalala okuggyako mwannyina Moses Mayanja.

Okusigaza Mayanja, poliisi eyagala ayongere okubatangaaza oba ddala ebintu ebigambibwa okuba ‘walagi’ bye byavaako omuliro okubumbujja oba byali bintu birala n’ekigendererwa ky’okusaanyaawo obulamu bw’abagenzi. Bwe yabadde akunyizibwa bambega ba Poliisi, Mayanja yayogedde ebitakwatagana. Yeeyise musawo akozesa eddagala ly’obutonde ate oluvannyuma n’agamba nti si musawo, wabula abudaabuda abantu nga yeeyambisa Bayibuli.

OLUKIIKO LUYIIKA Ku Lwokutaano, olukiiko olwabadde luyitiddwa ku Twins Valley Pub, e Nakawuka okugonjoola ensonga lwasasise. Kino kyavudde ku bamu ku batwala ekibiina ky’abasawo b’ekinnansi okwabadde Ssaabawandiisi Kiwanuka Ssewaya, atwala Kajjansi Town council Ismael Ssentamu Kkonkomebbi, Siraje Sekiziyivu, Makanga ow’omuluka gw’e Nakawuka, n’abalala okutandika okwerumaaluma mu kifo ky’okusala amagezi g’okulongoosa omulimu gwabwe bagugobemu abafere.

Embeera eno eyavuddemu n’okuwaanyisiganya ebisongovu, yawalirizza akulira Poliisi y’e Nakawuka, ASP Urban Harera, okuyingirawo n’ayimiriza olukiiko, abatuuze n’abalala abaalwetabyemu ne bavaawo nga beesooza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kap1 220x290

Abadde yefuula omusawo n'abba abalwadde...

Abadde yefuula omusawo n'abba abalwadde mu ddwaliro Poliisi emukutte

Jingo1 220x290

Embaga za ba ssereebu; Eya Rebecca...

BW’OBALABALAMU embaga za basereebu, eya Joel Isabirye ne Rebecca Jjingo yekyasinze okumenya likodi.

Mentees4webuse 220x290

Abawala abazaala nga tebanneetuuka...

Abazaala nga tebanneetuuka e Kamuli basomeseddwa emirimu eginaabayamba okulabirira abaana ababazaalamu be babalekera...

Blick002 220x290

Blick ayagala kuwangula mpaka z'e...

Blick agamba nti ssinga awangula empaka z'e Hoima, kyakutangaaza emikisa gye egy'okusitukira mu ngule y'eggwanga...

Rdcwemukonokuddyofredbamwinengakwasageorgentulumeekirabokyesaawaekyamuweereddwaokumwebazaolwemirimugyewebuse 220x290

Ab'e Mukono baanirizza CAO ne RDC...

Ekitebe kya disitulikiti y’e Mukono kyanirizza CAO omuggya ssentebe wa LC V n'amulabula obuteesembereza ba ng’ambo...