TOP

Bakulu bange balinnyiridde ekiraamo kya kitaffe

By Musasi wa Bukedde

Added 25th February 2018

Bakulu bange balinnyiridde ekiraamo kya kitaffe

Dat1 703x422

MU 2007 ng’abaali balondeddwa okuddukanya ebintu bya kitaffe bavudde mu bulamu bw’ensi eno, ekika kyatuula ne tulondebwa nze Samson Wasswa Nalima ne bakulu bange Beatrice Nababi ne Bulasio Kibombo okuddukanya ebintu bya kitaffe. Mu buvunaanyizibwa obwatuweebwa mwe mwali okukuuma ekiraamo kya kitaffe Yokaana Nalima eyafa mu 1970 ekyali kitulagira obutatunda ku ttaka lye yaleka yiika 127 e Jjokolera mu Wakiso.

Eky’ennaku bakulu bange ekiraamo kya kitaffe baakiziimudde bwe bakkakkanye ku ttaka lino ne balitunda nga bwe bakinagguka nti omulembe gwa doticom tebakyakuuma ttaka lya bafu wazira buli omu okugabana n’agenda n’ekikye.

Kino kinkwasa ennaku n’ennyiike okulaba nga kitaffe bamulinnyirira engeri eno kuba batuuse n’okutunda ebiggya we yeeebase, olwo nga naffe tutuuse okufuuka emmomboze okwaffe. Kitaffe Yokaana Nalima yafa 1970 era nga wabaddengawo abasika abakuuma ettaka lyaffe ab’enjawulo okutuusa mu 2007 lwe lyatukwasibwa.

 ababialima gwalumirizza okutunda ettaka lya kitaabwe Nababi,Nalima gw’alumirizza okutunda ettaka lya kitaabwe.

Wabula mu kiseera kino bannyinaze n’abazzukulu batunze ebibanja ku ttaka lya taata banaatera okulimalawo eryali ku yiika 127 wasigadde yiika bbiri nga mwe muli n’ebiggya. Embeera eno etutadde ku bunkenke n’okweraliikirira kuba n’ebiggya awagalamidde bakadde baffe nawo batandise okulamuzaawo”. Kitaffe Yokaana Nalima yali mutaka e Jjokolera nga yaliko omukulembeze mu kika ky’Olugave nga yaweebwa ekitiibwa kya Mpinga.

Taata yawasa abakyala bana nga nze nzaalibwa omugenzi Gertrude Nalumansi Nalima naye eyeebase wano, bakulu bange we baagala okutunda. Bakadde baffe ne baganda baffe bonna baaziikibwa Jjokolera LC1 Wattuba ward Nangabo Town Council. Mu kiseera kino mwannyinaze Beatrice Nababi ne muganda wange Bulasio Kibombo balinnyiridde ekiraamo kya kitaffe Nalima bwe basazeewo okutunda ebibanja ku ttaka lya kitaffe nga tebalina buyinza kuba ebiwandiiko bibalagira kukuuma so si kutunda. Ekyewuunyisa kitaffe ng’akyali mulamu ffenna yatugabira ettaka mu bitundu ebyenjawulo gye yali yagula nga ndowooza mu kino yali alengedde wala ng’atya ensonga nga zino eziriwo kati.

Mu kutugabira buli omu ewuwe, yasalawo okusigaza wano we batunda kati ng’agamba nti buli alemererwa gy’ali waddembe okukomawo n’atuula awaka naye nga tatunze. Ebigambo bya kitaffe alabika yabyogeranga bakulu bange bamukongooza bigere anti tebabijjukidde nga batunda ettaka lino okulimalawo.

 alima alumirizza bakulu be okutunda ettaka lya kitaabwe Nalima alumirizza bakulu be okutunda ettaka lya kitaabwe.

 NZIRUKIRA MU MATEEKA

Bwe nalaba ng’ettaka lya ssebo liggwaawo kwe kuddukira mu LC. Bano baawandiikira bakulu bange nga babayimiriza okutunda wabula ebiwandiiko bino baabiziimuula. Baagenda mu maaso n’okutunda, LC bwe yabayita yalemererwa okugonjoola ensonga n’etusindika mu kkooti. Ensonga zino nazitwala mu baamateeka babeeko kye bakola okusobola okutaasa ettaka lya kitaffe era waliwo emisango egy’enjawulo egigenda mu maaso okuli ogwa HCCC NO 102 of 2008 nga guli mu Kkooti Enkulu evunaanyizibwa ku by’ettaka.

Omulala guli mu kkooti ya famire ku nnamba Misc.App .No 10 of 2012. Eky’ennaku ebintu mu kkooti tebitambula buli lwe tutuukayo ng’emisango gyongezebwayo tebatuwa budde kugiwuliriza! Eno tuleppuka n’emisango kyokka abavunaanibwa bo bagenda mu maaso na kutunda. Okuva mu 2012 tuleppuka kati nsobeddwa gyemba nzirukira kuba nneebuuza ddala abaaweebwa obuyinza bwe baba basatu ababiri ne batunda ddala abo baba batunze bituufu nga kubulako omukono!

Kye njagala balekere awo okutunda ettaka lya kitaffe kuba ekiraamo kikirambika bulungi nti tetulina kutunda, kyokka nga taata yaleka abagabidde ettaka mu bitundu eby’enjawulo erisukka mu yiika 20”.

 alima ngalaga ebiggya bya bakadde be ebyolekedde okutundibwa bakulu be Nalima ng’alaga ebiggya bya bakadde be ebyolekedde okutundibwa bakulu be.

‘KYE TUKOLA TEKIRINA BUZIBU’ Mukulu wa Nalima, Beatrice Nababi 90, olwatuukiriddwa yagambye nti, “Kituufu Nalima ky’ayogerako nti tutunda ebibanja ku ttaka lya kitaffe kuba kye tukola tekirina buzibu bwonna. Waliwo abantu abaali ku ttaka lya kitaffe nga balinako ebibanja ne bwe yali ng’akyaliwo era bwe baasasula ssente twabakkiriza okwegula mu ttaka. Ettaka kitaffe yafa n’alitulekera era omulembe ogwasooka mwalimu abakulembeze abaatuukiriza ekiraamo. Kuba taata yalaama nti tewaba atunda ku ttaka lino era n’abaali ku bibanja baali tebawa busuulu. Obukulembeze bwe bwakyuka, abeebibanja ne batandika okutunda n’omusika eyasooka okumusikira Bulasiyo Kibombo Nalima (atali ono aliwo) naye yali yeesaliddeko ekitundu ekikye kuba baali bamuwadde ekibanja. Ono olwafa kye yeegabirako n’akiwa abaana be.

Taata yasooka n’awa abaana be ebibanja okwali Bulasiyo Kibombo e Bikka Busiro, be yalekawo ng’abakuumi b’ettaka. Olwavaawo ensasula y’ekibanja n’ekyuka ne busuulu ne bamuvaako, abantu ne batandika okutunda ebibanja byaabwe. OMUKULU W’OLUGGYA KY’AGAMBA Patrick Mukiibi Katende agamba: Abooluganda abo eky’okutunda ebibanja ku ttaka baakola nsobi, ekyo kye bakola bamenya ebiragiro by’ekiraamo. Okutunda ebibanja ku ttaka bayita mu bumenyi bw’amateeka kuba baalondebwa kukuuma ttaka so si kutunda.

Bwe batunda tebeebuuza ku Nalima ng’ate y’omu ku baalondebwa okukuuma ettaka eryo. Baajingirira ebiwandiiko ne batandika okutunda ate nga ekiraamo kya kitaabwe kigamba ettaka teririna kutundibwa. Ate tebanditunze kuba kitaabwe yali tannafa abaana bonna baaweebwa ettaka ku bitundu eby’enjawulo yiika ezisukka mu 20.

Ekizibu ekiriwo abaana abamu baatunda ettaka lye baabagabira kyokka bwe baalaba liweddewo ne batandika okutunda ku ttaka ly’e Jjokolera lye batakkirizibwa kutundako okusinziira ku kiraamo. Ekisinga okukwasa ennaku batunze ebibanja ku yiika ekziwera 125 naye tewali kye bakozeemu kuba era tewali nkulaaku-lana yeeyongeddewo. Kye mbasaba batuule bateese ng’abooluganda ku yiika ebbiri ezisigaddewo bafune pulojekiti esobola okubayamba gye baba bakolerako nga ebayamba bonna.

Eno y’ensonga lwaki Nalima avuddeyo okuvumirira ekikolwa ky’okutunda kye bakola kuba ebibanja babimalawo. Balina okuteesa kuba bwe bataakikole ettaka bajja kulitunda liggweewo babulwe ne we banaaziika abaana baabwe n’abazzukulu kuba n’ebiggya babitunda.

 SSENTEBE W’E JJOKOLERA ANNYONNYODDE

Okusinziira ku biwandiiko bye nasanga mu woofi isi, Yokaana Nalima nga tannafa yagaba ettaka buli mwana we n’afuna mu bitundu eby’enjawulo. Wabula mu kiraamo yalagira ettaka ly’e Jjokolera tebalikwatako wabula buli mwana anaalemererwa abeerengako. Ettaka ly’e Jjokolera lyali ku yiika 127, abamu ku baana baatandika okutunda ebibanja kati wasigaddewo yiika bbiri zokka nga kwe kuli n’ebiggya. Amagezi ge mbawa ng’abooluganda batuule bateeseganye bagabane ekitundu ekisigaddewo balekewo we balina okuziikibwa. Bwe bataakole ekyo tebajja kukwataggana era bagenda kubeera mu nkaayana nga bwe bagenda mu kkooti okutuusa ettaka bwe linaggwawo.

MUNNAMATEEKA AWABUDDE David Kibirige munamateeka annyonnyola bwati: Ekiraamo ekituufu kirina okubeerako ennaku z’omwezi lwe kyawandikibwa era n’omukono gw’omuntu eyakiwadiika kkooti okukikkiriza. Abavunaanyizibwa ku ttaka abalondebwa bonna balina kusooka kukkirizigganya okubaako ne kye bakyusa mu kiraamo era bwe wabaawo ebikyusibwa ng’omu takkiriza biba bikyamu. Okusinziira ku mateeka agakwatagana ku Kiraamo abavunaanyizibwa tebalina buyinza kutunda ku ttaka wadde okugabana ng’omu takkiriziganyiza nabo era abo abaagula bonna, baagula mu bukyamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.