TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nnatwala omusango ku poliisi omuserikale n’anneefuulira n'anfunyisa olubuto

Nnatwala omusango ku poliisi omuserikale n’anneefuulira n'anfunyisa olubuto

By Musasi wa Bukedde

Added 26th February 2018

NZE Namugenyi nnalya ki okubonaabona bwenti? Baze yali tampa buyambi bwa mwana ne nsalawo okumuloopa ku poliisi e Busega.

Kuuma1 703x422

Namugenyi nga’alaga empapula ze. mu katono ye Tumwesigye.

NZE Namugenyi nnalya ki okubonaabona bwenti? Baze yali tampa buyambi bwa mwana ne nsalawo okumuloopa ku poliisi e Busega.

Kyokka ofiisa gwe bampa okukola ku nsonga zange n’anneefuulira n’ankaka omukwano kati ndi lubuto. Ofiisa bwe yamanya nga ndi lubuto n’alabika ng’annanyamba.

Yantwala mu kazigo mu nkambi ya poliisi e Nateete. Oluvannyuma yakolagana ne banne ne bangobawo ate ye baamukyusa kati ali Mbarara.

Namugenyi (amannya amalala galekeddwa) abeera Busega. Ku poliisi y’e Busega gye yasanga omuserikale Moses Tumwesigye n’awawaabira bba John Ssemakula obutamuwa buyambi bwa mwana.

Agamba: Tumwesigye yansaasira. Era bwe yamanya nti sirina we nsula n’anfunira akazigo mu balakisi ya poliisi e Nateete. Eno gye yannumba n’ankakaka omukwano. Okukakkana nga ndi lubuto.

Nnatwala ensonga mu bakulira poliisi y’e Busega kyokka ne batannyamba. Bwe nnamanya nga ndi lubuto ne mbuulira Tumwesigye, kyokka n’ampa emitwalo 10 nduggyemu.

Ekyo nnakigaana. Tumwesigye yakozesa banne ne bangoba mu balakisi. Sirina buyambi.

Nnina abazirakisa abansuza. Abasawo bandagidde okugenda mu scan (soma sikaani) kubanga omwana teyekyusa, wabula sirina wadde ekikumi. Tumwesigye nnamukubidde essimu kyokka n’ampeereza 6,000/- zokka ku “mobile money” Bukedde yayogedde ne Tumwesigye ku ssimu n’agamba:

Oyo omukyala mmumanyi yajja nga talina w’abeera ne mmuyamba ne mmufunira ku nnyumba z’abapoliisi. Ssaamukaka mukwano.

Twayagalana lwa bulungi ne twegatta emirundi egiwera. Si kyangu gwe bakase omukwano okufunirawo olubuto.

Namugenyi bwe yakitegeera nti afunye olubuto yaleeta ekiteeso tuluggyemu era nze nnamuwa emitwalo 13 aluggyemu afune n’enju ey’okupangisa. Kati nkolera Mbarara kyokka Namugenyi muwa obuyambi.

Nnaakamuweereza 6,000/- ku ssimu. Ffe abaserikale tufuna obusente butono bwe ntetenkanya okuyamba Namugenyi.

Omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano, Luke Owoyesigire yategeezezza nti teri ali waggulu w’amateeka era bwe kiba nga Tumwesigye yakaka Namugenyi omukwano alina okuvunaanibwa.

OMUSAWO AYOGEDDE

Mary Kayaga, omusawo ku Mwera Ortho care clinic e Busega: Omwaka oguwedde Namugenyi waliwo omuserikale wa Poliisi eyamuleeta n’amutulekera ng’ali bubi.

Bwe yadda engulu n’atubuulira engeri omuserikale gye yamukwata n’amufunyisa olubuto. Yatuwa ennamba ye ne twogerako naye.

Ekirungi olubuto yalukkiriza nti lulwe naye teyasasula ssente. Eddwaaliro lyasalawo kuyamba buyambi Namugenyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mag1 220x290

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi...

Omubaka wa Igara West Rafael Magyezi eyaleeta ekiteeso ky'okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti aweereddwa obwa...

Bra1 220x290

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka...

Biibino bye wasubiddwa mu mpaka z'emisono

Ritahpenny1 220x290

Akabaga k’amazaalibwa ga Ritah...

Ritah Penny bamukoledde akabaga k'amazaalibwa akamucamudde.

Lytobosswife4 220x290

Mukyala wa Lyto Boss asulirira...

Omuyimbi Lyto Boss yeesunga 'ssukaali' mukyala we asulirira kuzaala

Hazard333 220x290

Hazard asuubizza aba Chelsea

Hazard agamba nti bw'aliba avudde mu Real Madrid, ayinza okuddayo mu Chelsea.