Bya Benjamin Ssebaggala
EBYA Hajji Ali Kasule Mugagga, abadde akulira lya Kibuli SS byongedde okulanda Minisitule y’Ebyenjigiriza bw’emukozeeko lipoota ng’esemba poliisi emunoonyerezeeko ku bigambibwa nti abadde akabassanya abayizi.
Ensonda mu minisitule y’ebyenjigiriza zaategeezezza nti akakiiko akassibwawo ku nsonga za Mugagga nga kakulirwa kamisona avunaanyizibwa ku masomero ga siniya, Sam Kuloba kaazudde nga waliwo ebyetaagisa poliisi okutunulamu ne kasalawo, poliisi enoonyereze ku misango gy’agambibwa okuzza.
Olw’embeera eno, omwezi oguwedde omuwandiisi w’enkalakkalira mu minisitule y’ebyenjigiriza Alex Kakooza yawandiikidde Mugagga n’amulagira ave mu ofiisi addeko ebbali basobole okunoonyereza ku bimwogerwako.
Minisitule yataddewo akakiiko akakulirwa Kuloba kanoonyereze ku nsonga eno. Kuloba yategeezezza Bukedde nti okunoonyereza kukyagenda mu maaso, wabula ku nkomerero ya wiiki eno bageda kulaga kye batuuseeko.
Minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza ebisookerwako Rosemary Seninde yategeezezza nti awali omukka tewabula muliro.
Bwe kiba nti waliwo ebyogerwa ku Hajji Mugagga, okunoonyereza kulina okukolebwa poliisi y’eba ezuula ekituufu oba alina omusango gwe yazza.
Yagambye nti ye nga minisita takola mirimu ng’omuntu ssekinnoomu wabula omuwandiisi wa minisitule ow’enkalakkalira y’alina okuwa ekiddako ku nsonga zino.
Hajji Mugagga yategeezezza Bukedde ku ssimu nti ensonga ze okuba nga zikwasiddwa poliisi talina ky’akimanyiiko. Bwe twamubuuzizza ddi lw’addayo mu ofiisi okuweereza yategeezezza nti oluwummula lwe baamuwa lukyaliko.
Okuva nga January 24, 2018 obuvunaanyizibwa bw’okukulira essomero bwakwasibwa Hajati Mastulah Nambajjwe abadde omumyuka wa Hajji Mugagga.
Mugagga yawandiise ebbaluwa mu January n’ategeeza nti yabadde agenda mu luwummula lwa nnaku 36, n’awaayo ofiisi ye.
Gye buvuddeko Sheikh Nuhu Muzaata yafulumizza eddoboozi eryasaasaanye ku mikutu egy’enjawulo ng’agugumbula minisita Sseninde era n’amulagira ave ku nsonga z’essomero ly’e Kibuli nti ssomero lya Busiraamu nga n’enzikiriza endala bwe zirina amasomero gaazo nga tegoogerwako kibi.
“Twagala okubategeeza nti Hajji Mugagga bw’aba alina bye yakola bikwatibwe mu mateeka bwe kizuulibwa nti alina omusango avunaanibwe,” Muzaata bwe yaggumizza.
Sseninde yategeezezza nti tasobola kwanukula bantu bakulu naddala abakulu mu ddiini nga Sheikh Muzaata baawa ekitiibwa.
“Taata wange oyo mussaamu ekitiibwa siyinza kumwanukula, mbeera ng’amulabye mu kamwa,” bwe yaggumizza.
Naye ndowooza nti tewali muntu ayagala kusindika mwana ku ssomero afunireyo obuzibu.
Byonna ebyogerwa kukyali kuteebereza tewali amulumirizza nti alina omusango gwe yakola kyokka bwe bakyogerako, tukkirize okunoonyereza kukolebwe.
Ku nsonga eno omuntu yandibadde yeebuuza lwaki tebaayogera ku musomesa mulala olunwe ne balusonga ye yekka ”, bwe yeebuuzizza.