TOP

ISO eraze obubinja bwa bamafi a ababuza abantu

By Kizito Musoke

Added 28th February 2018

AKULIRA ekitongole ekikessi ekya ISO, Col. Frank Bagyenda Kaka, yaategeezezza nti waliwo obubinja bw’abantu bwe baayise ba mafi ya abalina enkola y’okubuzaawo abantu nga balina ekigendererwa ky’okubaggyako ssente.

Kaka1 703x422

Afande Kaka akulira ISO

Bya KIZITO MUSOKE  NE STUART YIGA 

AKULIRA ekitongole  ekikessi ekya ISO, Col.  Frank Bagyenda Kaka,  yaategeezezza nti waliwo  obubinja bw’abantu bwe  baayise ba mafi ya abalina  enkola y’okubuzaawo  abantu nga balina ekigendererwa  ky’okubaggyako  ssente.

  Yagambye y’ensonga  lwaki abamu bwe babuzaawo  omuntu basabirawo  ab’oluganda n’emikwano  ssente. 

Olw’okuba olumu  abawamba babeera  bamanyiganye ne be  bawambye kibaviirako  okuleka nga babasse nga  balina okutya nti singa gwe  bawambye bamuta kyandibeera  ekyangu okubalondoola  ne babakwata.

“Kyokka ebbanga lye  tumaze nga tuyingidde  mu muyiggo gw’okufuuza  ebibondo bya bamafi ya  tusobodde okusaanyaawo  abawera.

Tutegedde  enkola zaabwe awamu  n’entambula yaabwe era  tukakasa Bannayuganda nti  tewali ajja kutulemerera,”  Kaka bwe yagambye.

  Yayongeddeko nti ekimu  ku kiwaga bamafi ya bano  kwe kuba waliwo abanene  mu bitongole by’okwerinda  abababikkirira nga bakolagana  nabo.

  Yagambye nti ng’oggyeko  eky’okwagala ssente olumu  bayinza okuwamba omuntu  ng’ekigendererwa kya  kumutta.

Ayinza okuba  ng’alina kye yabakola oba  nga balina omuntu gwe  baagala okulumya mu ttemu  eryo. Abantu ab’ekika  kino bwe bawamba omuntu  tebatera kumulwisaawo.

  Embeera  y’okubuzibwawo etera  okubeeramu okutulugunya  omuli okukubwa oluusi  n’okulumwa enjala.

Kyangu,  singa awambiddwa asangibwa  ng’abadde n’ebirwadde,  okuyisibwa obubi n’atuuka  n’okuzirika.  Mu mbeera eno  olw’okuba abaamubuzaawo  babeera tebasobola  kumutwala mu ddwaaliro  olw’okutya, kyangu okusalawo  okumutta kibawonye  okusumbuukana naye. 

Kyokka mu kiseera kino  bakolaganira wamu era  singa ekitongole ekimu  kiba kiragayizza, ekirala  kiziba eddibu eryo embeera  n’etereera. 

“Ebyabalowooza nti balina  abanene tebakwatibwako  bali mu kusaaga kuba kati  omuzannyo gwaweddewo. 

Tetuyinza kutunula  ng’abantu ab’olubatu bamalawo  ensi. Tewali muntu  gwe tugenda kuttira ku liiso  ne bwanabeera ani” owa  ISO omulala bwe yategeezezza. 

Bangi ku bantu abatera  okuwamba abantu bakolagana  n’abantu abali ku  lusegere lw’omuntu gwe  baagala. Abantu basabiddwa  okubeera abeegendereza  mu bifo n’okugezaako  okubeerako be bemanyisa  ku ntambula zaabwe.

  Kyokka yagambye nti  waliwo abantu abakwatibwa  ebitongole ebikuuma  ddembe nga babanoonyerezaako  ku nsonga  ez’enjawulo era bwe bamala  babayimbula.

Mu nkola  y’ebitongole ebikuumaddembe  tebatera kwagala  kubuulira baamawulire kuba  kisobola okutaataaganya  obujulizi n’okubaguliza ku  bakyamu ababa tebannaba  kukwatibwa. 

 baabadde beetegereza amawulire ku ucongo ganga mu katono Abaabadde beetegereza amawulire ku Mucongo Nganga (mu katono).

 

EBIZZE BIBEERAWO OKUVA  SUSAN LWE YAWAMBIBWA 

  • February 25, ku Ssande  Magara yabadde avuga  mmotoka ng’ali Lubowa ku  lw’e Ntebe n’afuna essimu  abatemu ne bamugamba nti  bamulaba avuga era alabika  abazannyisa nti n’olwekyo  omuwala bagenda kumutta. 
  • February 15, 2018 ekitongole  kya poliisi ekifuuza  abazigu ab’omutawaana  ekya Fyling Squad kyayingidde  mu muyiggo  gw’okunoonya abaawambye  Magara. 
  • Enkeera nga February 8,  2018 baddamu okutiisatiisa  nti bwe batabawa ssente ze  basabye baali bagenda kutta  Susan Magara 
  • Mmande February  5, 2018, Susan Magara  eyali atuukirwako ssente  mu kkampuni ya Bwendero  Dairy Farm (BDF) yawambibwa  nga kiteeberezebwa  nti yali agenda ku mulimu.  Emmotoka ye baagisanga  yeesudde mmita 200 okuva  w’asula. 
  • Ku Lwokusatu nga  February 7, 2018 abaamuwamba  baakubira kitaawe,  John Magara, essimu nga bamutegeeza  nga bwe baagala  akakadde ka doola kalamba  mu za Uganda obuwumbi  busatu n’obukadde 600. 
  • Nga February 10,  2018 baalagidde famire  eggye poliisi mu nsonga za  Magara kuba bwe batakikola  bagenda kumutta. 
  • Febraury 24, 2018. Herbert  Muhangi, akulira Fyling  Squad yategeezezza nti  balina essuubi ly’okuzuula  Magara ng’akyali mulamu.  February 24, Susan  baamutemyeko engalo  na baweereza kitaawe  ekifaanyi nga bamulabula  nti bw’ataweereza ssente  baabadde bazzaako kumuweereza  kugulu. 
  • February 27, 2018 omulambo  gwa Susan gwazuuliddwa 

ABANTU ABALALA ABAZZE  BAWAMBIBWA NE BATTIBWA 

Taata wa Joan Namazzi  yabivaako: Nga March  2014, omuyizi wa St. Mark e  Namagoma, Joan Namazzi  17, yawambibwa ng’ava  okukyalira mukulu we e  Kyambogo ku yunivasite. 

Abaamuwamba baasaba  bazadde be obukadde bubiri  bamute, kyokka oluvannyuma  ne bamutta.

Poliisi yakwata Aloysious  Ssemanda, Asuman Muhereza  ne Saidi Ayinebyona ne  basindikibwa e Luzira nga  kigambibwa nti balina kye  bamanyi kuba baakwatibwa  n’essimu eyali ey’omugenzi. 

Godfrey Lwanga, taata  wa Namazzi yategeezezza  nti waliwo abaakwatibwa,  kyokka ye essuubi lyamuggwaamu  erizuula abatemu  kuba abakwate tewali bujulizi  bubalumiriza nti beetaba  mu ttemu. 

Yagambye nti  eky’okubakwata n’essimu  y’omugenzi tekimala kuba  omutemu asobola okugitunda  n’etambula okutuuka  mu mikono gy’abalala. 

Yeewunyizza engeri poliisi  gye yalemwa okulondoola  essimu eyabakubiranga  amasimu ng’ebasaba ssente  nga ne ku ssaawa y’okuziika  baali bakyabakubira nga bababuulira  byonna ebigenda  mu maaso mu kuziika. 

Embeera gye baasangamu  omulambo agamba nti  kyali kisobola okukozesa  ebinkumu ebyali bigukutteko  okugeraageranya  n’eby’abakwate, kyokka bino  byonna tebyakolebwa. 

Ab’Omucongo basattidde  Abooluganda n’emikwano  gy’omukazi omusuubuzi Nganga  Bicheche Bola, munnansi  wa Congo eggulo baasattidde  oluvannyuma lw’amawulire  g’okuzuulibwa kw’omulambo  gw’omukazi okumpi n’ekitoogo. 

Omulambo ogwazuuliddwa  e Kitiko-Birongo, okumpi  n’oluguudo olukyazimbibwa  olwa ‘Entebbe Southern Expressway’  gwaleetedde abantu  ba Nganga okusattira nga  balowooza nti yandiba nga ye  muntu waabwe.

“Bannange mutuyambe,  naffe omuntu waffe  yawambibwa,”bwatyo Nantaba  bwe yawuliddwa ng’alaajanira  abatuuze. 

ABATTA EKALUNGAR BALI MU KKOOTI 

Abantu omunaana abaakwatibwa  ku ttemu ly’eyali omubazi  w’ebitabo owa Case Hospital,  Francis Ekalungar baasimbibwa  mu kkooti e Kajjansi , omulamuzi  n’abasindika ku limanda  e Kigo okumala wiiki ssatu. 

Bano be baasunsulwa mu  kibinja ky’abantu abaasoba mu  20 abaasooka okukwatibwa  amagye okwali abakulembeze  ba Boda boda 2010 ekulirwa  Abdallah Kitatta. 

Huzairu Kiwalabye, muganda  wa Kitatta y’omu ku bavunaanibwa  okwenyigira mu ttemu  lya Ekalungar.

Bano omugenzi  baamuwamba ava okukola,  teyaddamu kulabikako okutuusa  lwe baazuula omulambo gwe e  Kajjansi mu bitundu by’e Ntebe  nga bagwokezza. 

Abalala abavunaanibwa ku  musango guno kuliko; Muzamiru  Mawa, Resty Goretti Nalunga,  Deo Yiga, Hamza Mulema, Vincent  Chandir , Kikandi Muhindo  munnansi wa Congo ne David  Bizimana naye owe Congo. 

ABAAWAMBA KAKAMA BAABASIBA  EMYAKA 100 BULI OMU 

Mu October wa 2012, omulamuzi  Faith Mwondha yasalira  Brian Sajjabi ne Mellon Nabaasa  emyaka 100 oluvannyuma  lw’okusingisibwa omusango  gw’okuwamba n’okutta Kham  Kakama eyali ow’omwaka  ogumu n’ekitundu mu 2010. 

Kakama baamuwamba okuva  mu maka ga bazadde be e  Bugoloobi.

Baabasaba babawe  ssente okumuyimbula, era  wadde baabasindikira obukadde  30 kyokka era baasanga  bamusse. 

Omulambo baagusanga  guvundira mu kasasiro eyali  asuuliddwa ku kkubo. Ye munaabwe  Gordon Tumusiime gwe  baali naye baamusiba emyaka  60 gyokka olw’okuba yakkiriza  omusango nga bukyali. 

MUNNANSI WA ERETRIA BAAMUTTA 

December 2016, munnansi wa  Eritrea, Daniel Weldo yawambibwa  omujaasi wa UPDF,  Capt. Hakim Mangeni ng’ali ne  Ben Lumu ne Rucy Katuramu. 

Baamubbako obukadde bubiri  eza Euro ne bamutta omulambo  ne gusuulibwa e Kenya.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabuzi1 220x290

Uganda ekubye Malawi 2-0 n'ewaga...

MU Mupiira, waliwo enjogera egamba nti tewali buwanguzi bubi, wabula waliwo bw’otuuka ekiseera ng’olina okutunuulira...

Gendako 220x290

Engeri okwanjula kwa Hamza gye...

Ebika bibiri eky’Endiga n’Ekyolugave Rema mw’azaalwa byali tebimanyiganye era nga tebasisinkanangako.

Bwama 220x290

Rema annyonnyodde by'ayiseemu ng'anoonya...

Rema yabattottolera obuzibu bwe yayitamu ng’anoonya ekika kye. Nti olumu Rema yasisinkana Ssenga we Nabatanzi ku...

Laga 220x290

Rema yasoose kukolebwako mikolo...

E Kyengera mu wiiki eddirira emikolo, Rema yasoose kukolebwako mikolo gya buwangwa okwanjula Hamza, Rema yali ne...

Buuza 220x290

Embaga ya Rema eriko ebibuuza

Kirumira yagasseeko nti ennaku z’omwezi baakuzitegeeza abantu mu kiseera ekituufu; n’annyonnyola nti enteekateeka...