TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Eyali minisita Kabafunzaki obujulizi bwa vidiyo n’amaloboozi bumutabudde

Eyali minisita Kabafunzaki obujulizi bwa vidiyo n’amaloboozi bumutabudde

By Edward Luyimbazi

Added 28th February 2018

OMUGAGGA Hamid Mohammed nnannyini kkampuni ya AYA ne woteeri ya Pearl Of Africa atutte mu kkooti amaloboozi n’obutambi bwa vidiyo ebirumiriza eyali minisita omubeezi ow’abakozi Herbert Kabafunzaki nga bwe yamusaba enguzi ya bukadde butaano okusobola okuzibikira omusango gwe baali bamuvunaana (Mohammed) ogw’okukabasanya omukozi we.

Kabafunzaki1 703x422

Herbert Kabafunzaki ne looya we David Balondemu nga bava mu kkooti e Kololo eggulo

Bya EDWARD LUYIMBAAZI

OMUGAGGA Hamid Mohammed nnannyini kkampuni ya AYA ne woteeri ya Pearl Of Africa atutte mu kkooti amaloboozi n’obutambi bwa vidiyo ebirumiriza eyali minisita omubeezi ow’abakozi Herbert Kabafunzaki nga bwe yamusaba enguzi ya bukadde butaano okusobola okuzibikira omusango gwe baali bamuvunaana (Mohammed) ogw’okukabasanya omukozi we.

Obujulizi buno, Hamid yabututte mu Kkooti Enkulu erwanyisa obulyake n’obukenuzi e Kololo.

Akatambi akaalagiddwa mu kkooti kaabadde kalaga Kabafunzaki ng’ayogera ne Hamid mu kisenge ekimu mu woteeri ya Serena oluvannyuma n’aggyayo ebbaasa egambibwa okubaamu obukadde butaano wabula Kabafunzaki teyagikwata ng’omuyambi we Brian Mugabo gwe baazikwasa n’azissa mu nsawo.

Era akatambi kongera okulaga Hamid ng’ava mu kisenge kya woteeri mwe baasisinkana ne Kabafunzaki.

Omuwaabi wa Gavumenti Barbra Kawuma bwe yabuuzizza Mohammed ekyali mu bbaasa yategeezezza nti zaali ssente obukadde butaano bwe baali bategeeraganye ne Kabafunzaki okumuwa okusobola okuzibikira omusango ogw’okukabasanya omukozi we gwe baali bamuvunaana.

 amid uhammed avunaana abafunzaki Hamid Muhammed avunaana Kabafunzaki

 

Waliwo n’amaloboozi agaakwatibwa ge baazannye mu kkooti nga gaali wakati wa Kabafunzaki ne Mohammed bwe baali bategeeragana okumuwa obukadde butaano nga baalina kusisinkana mu woteeri ya Serena mu Kampala.

Mu maloboozi gano kigambibwa nti Kabafunzaki yasuubiza Mohammed okwogera n’omuwala eyali amuvunaana okumukabasanya omusango aguveeko era mbu yamusuubiza n’okutuuza olukiiko lwa bannamawulire mwe yali agenda okulongooseza erinnya lye eryali lyonoonese.

Wabula kkooti ebadde ekyagenda mu maaso n’okuwulira obujulizi bwa Mohammed omu ku bannamateeka abawolereza Kabafunzaki ne banne Jude Byamukama n’ategeeza Omulamuzi Margaret Tibulya awulira omusango guno ng’omu ku bavunaanibwa Bruce Lubowa bw’atasobola kweyongerayo na kuwulira musango kuba mulwadde.

Omulamuzi Tibulya yakkiriziganyizza, n’okusaba kwa Byamukama nayongerayo okuwulira omusango guno okutuusa nga March 21, 2018. Wabula obwedda Mohammed awa obujulizi bw’amaloboozi ne vidiyo nga Kabafunzaki anyenya mutwe.

Mu April w’omwaka oguwedde Kabafunzaki n’omuyambi we Brian Mugabo ne Bruce Lubowa baakwatibwa okuva mu woteeri ya Serena nga kigambibwa nti baggya obukadde butaano ku Hamid Mohammed okusobola okuzibira omusango gw’okukabasanya omu ku bakozi be.

Kabafunzaki baamuyimiriza ku mulimu olw’okumulumirizza okulya enguzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Load 220x290

Aba LDU bakubye babiri amasasi...

ABASIRIKALE ba LDU bazzeemu okukuba abantu babiri amasasi ng’entabwe evudde ku bbiina ly’abantu abaabadde baagala...

Mushroomscanbeeatenfreshwebuse 220x290

Lya obutiko okuzimba obwerinzi...

Ensonga 4 lwaki olina okulya obutiko

Gugu 220x290

Museveni tayagala kuggya musolo...

PULEZIDENTI Museveni ategeezezza nti tawagira kya gavumenti okubinika amasomero n’amatendekero ag’ebyenjigiriza...

Ssentebesserwangaomubakawantenjerusouthfredbasekerdcmwanamoizanabakunguabalalangabatemaevvuunikeawagendaokuzimbibwaessomerowebuse 220x290

Gavumenti yaakuzimbira ab'e Kayunga...

Ab'e Kayunga bagenda kuzimbirwa essomero lya siniya lya bbiriyooni bbiri nga n'evvuunike lyaggwa okutemebwa

Abantungabalingizamuddirisaokulabaomulambogwakantonoekifsaulwokulira 220x290

Asse mukazi we naye ye yeetuga...

Omusajja atemyetemye mukazi we n'amutta n'amulesa ebbujje ery'emyezi musanvu