TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Minisitule n’abazadde tebakkaanyizza ku by’okuggala amasomero

Minisitule n’abazadde tebakkaanyizza ku by’okuggala amasomero

By Henry Kasomoko Henry Kasomoko

Added 28th February 2018

Mu kikwekweto ekyakoled­dwa mu Kampala okulondoola omutindo gw’amasomero ga pulayimale, amasomero agaso­ba 50 gaggaddwa olw’obutaba na bisaanyizo minisutule bye yateekawo.

Closedschs1 703x422

Ebibiina by’essomero lya Golden Age Basic School e Bukasa eryaggaddwa.

Bya HENRY KASOMOKO NE REGINA NALUNGA

MINISITULE y’ebyenjigiriza eyongedde okuggala ama­somero agatalina bisaanyizo.

Mu kikwekweto ekyakoled­dwa mu Kampala okulondoola omutindo gw’amasomero ga pulayimale, amasomero agaso­ba 50 gaggaddwa olw’obutaba na bisaanyizo minisutule bye yateekawo.

Dr. Cleophus Mugenyi avunaanyizibwa ku mutindo gw’abasomesa mu minisitule y’ebyenjigiriza n’emizannyo ye yakulembeddemu ekikwekwe­to mu bitundu okuli; Kasokoso, Bukasa, Namataba n’ebitundu n’ebirala mu disitulikiti ya Wakiso.

Mu bimu ku bye baabadde basaba z’ebbaluwa ezika­kasa abasomesa ku mirimu, okubeera ne layisinsi, baatun­uulidde enzimba y’ebizimbe, obuyonjo, abasomesa bennyini n’ebirala.

Amasomero agaggaddwa kuliko; Bridge Academy, Do­minion P/s agasangibwa e Ka­sokoso. Amalala kuliko; Golden Age Basic School e Bukasa ne Uncle Byamungu Nursery and P/s e Namataba.

Gano abagakulira baalemed­dwa okulaga layisinsi ezibak­kiriza okukola.

Samson Ndyatabala akulira essomero lya Uncle Byamungu Nursery and P/s bwe baamubuuzizza ebbaluwa ezimukkiriza okusomesa nga tazirina ne bamubuuza engeri gy’asobola okusomesaamu abaana n’ategeeza nti, alina banne abalina ebbaluwa mu busomesa abamuyitiramu ku bikwatagana n’obusomesa era bano be baamuwa n’ekirowoozo okutandika es­somero erirye.

 r ugenyi ku ddyo ngali mu ofiisi ya heedimaasita wa ncle yamungu ursery and s e amataba u kkono ye amson dyatabala alikulira Dr. Mugenyi (ku ddyo) ng’ali mu ofiisi ya heedimaasita wa Uncle Byamungu Nursery and P/s e Namataba. Ku (kkono) ye Samson Ndyatabala alikulira.

 

Yategeezezza abakungu nti, essomero lino yaakalitandika era yabadde tannaba kumanya bulungi mateeka agafuga ama­somero era n’asaba abaabadde balambula bagamuyigirize.

 Mugenyi yalabudde aba­zadde abeemulugunya ku bikwekweto ku masomero n’ategeeza nti, essomero bwe liggalwa tewaba kyakwe­kwasa nti abazadde bafiirwa fiizi kubanga omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’ebyenjigiriza n’ebyemizannyo Alex Kakooza yateeka eki­rango mu mawulire ng’alabula bazadde obutatwala baana baabwe mu masomero agatatu­ukanye na mutindo. Yayonged­deko nti, yabakubiriza okubuu­za layisinsi nga tebannatandika kuwandiisa baana baabwe.

Yalabudde abakulu b’amasomero agaggaddwa obutanyomoola kiragiro kya minisitule n’ategeeza nti, singa wanaabaawo akwatibwa ng’agguddewo essomero nga takkiriziddwa waakusimbibwa mu mbuga z’amateeka avu­naanibwe.

Amasomero amalala agag­gaddwa kuliko; amasomero ga Bridge School ettabi ly’e Lugazi, Kyengera, Nabazizza, Mubende ne mu Arua. Ama­lala kuliko; Arise and Shine Eduction Centre e Kyengera n’amalala.

 bayizi ba lessed uture nga balagirwa okudda eka oluvannyuma lwokuggalwa Abayizi ba Blessed Future nga balagirwa okudda eka oluvannyuma lw’okuggalwa.

 

EKIKWEKWETO E NANSANA

Abazadde mu Munisi­paali y’e Nansana batabukidde ab’ebyenjigiriza nga bagamba nti, ebikwekweto ebikolebwa bifiiriza abayizi.

Embeera eno ewalirizza akulira ebyenjigiriza Margaret Nantege ne Robert Kagwire ow’ebyobulamu mu Munisi­

 paali eno okwongera amaanyi mu bikwekweto ku masomero agali mu mbeera embi.

Nantege yategeezezza nti, baggadde amasomero agawera amalala ne bagalabula. Amasomero agaggaddwa kuliko; Blessed Fu­ture P/s, Nabweru - Kazinga, Jacinta Daycare Nursery & P/s Kazinga ne Royal Daycare. Gano gaasangiddwa nga tegalina bisulo, ebibiina bifunda, abayizi bagabaana ebibiina, tegalina mafumbiro malungi n’ebirala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssekamanya00webuse 220x290

Obutabanguko mu maka bwongedde...

Omusumba eyawummula, Mathias Ssekamaanya asabye abafumbo okufunaolunaku bakubaganye ebirowoozo ku ntambula y'amaka...

Kib2 220x290

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi...

Obadde okimanyi nti Kkiro 100 ez'emmwaanyi zikuwa obukadde 4 bw'ozikamulamu butto ? Soma emboozi y'omukenkufu

Mesachssemakulanemukyalawe 220x290

Mesach njagala mbaga

Sarah Nakkaayi mukyala w'omuyimbi Mesach Ssemakula (Golden Papa) ateze bba akamasu. Amusuddeko akabaga k'amazaalibwa...

Dit2 220x290

Noah Kiyimba asabye abakulembeze...

Noah Kiyimba asabye abakulembeze b'e Butambala okkolera awamu

Ta 220x290

Bannansi beesiga bakulembeze ba...

POLOF. Julius Kizza okuva mu yunivasite e Makerere agambye nti bannansi okumanyisibwa ebifa mu gavumenti tekubeera...