TOP
  • Home
  • Amawulire
  • ‘Mulamuzi, abaamawulire bandeetera ekidumusi’

‘Mulamuzi, abaamawulire bandeetera ekidumusi’

By Musasi wa Bukedde

Added 1st March 2018

BANNAMAWULIRE bagobeddwa mu musango oguvunaanibwa Abasiraamu okuli Sheikh Muluta Bukenya, muganda wa Sheikh Kamoga kisobozese omujulizi eyagwamu ekidumusi okuwa obujulizi.

Twala1 703x422

Sheikh Bukenya ate ku ddyo ye Sheikh Kamoga

Sheikh Bukenya avunaanibwa ne banne abalala 18 omusango gw’okulya mu nsi yaabwe olukwe.

Bano okugobwa mu kkooti, kiddiridde omujulizi ono okwekubira enduulu ew’omulamuzi wa kkooti enkulu Wilson Masalu Musene, awe obujulizi nga bannamawulire tebaliimu olw’ensonga nti bandiddamu okumuleetera okugwamu ekidumusi olw’okutya.

Kyokka bwe yamaze okuwa obujulizi, bannamateeka b’abawawaabirwa ne basab omulamuzi akkirize bannamawulire mu lutuula oluddako olusuubirwa okubaawo leero ku Lwokuna era omulamuzi n’akkiriza.

Omusango guddamu olwaleero ng’abajulizi abalala nabo bawa obujulizi bwabwe. Abavunaanibwa nga bonna bakuumibwa ku kkomera e Luzira ne Kigo kuliko Sheikh Muluta Bukenya, Hakim Kinene Muswaswa ne muganda we Amir Kinene.

Abalala kuliko; Aisha Nakasibante ng’ono mulamu wa Dr. Aggrey Kiyingi, Muzamiru Kasawuli, Arafat Serunjogi, Alex Okot, Joseph Oulanya, Charles Okidi, Pte. Arajab Mubajje, Isa Matanda, Hajji Abdul Byamukama, Asadu Semogerere, Solomon Kibirige, Waddwali Safiyi, Yusuf Sentamu, Mohammed Kaloddo, Ismail Sentongo ne Abong Nicholas.

Bano oludda oluwaabi lubalumiriza nti wakati w’omwaka 2014 ne 2015, baakola olukwe okuwunzika Gavumenti nga bayita wano mu ggwanga ne mu mawanga ag’ebweru.

Ye Kamoga baamusiba obulamu bwe bwonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bobiwine1 220x290

Poliisi n'amagye bagumbuludde abawagizi...

Poliisi n'amagye bagumbuludde abawagizi ba Bobi Wine e Wampeewo, Luteete - Magere

Wano 220x290

Abali ku gw’okutta Magara beeyongeddeyo...

EBY’OKUTULUGUNYA Abasiraamu abagambibwa okutta Susan Magara bikyalanda. Ensonga bazongeddeyo mu kkooti enkulu y’eba...

Bobiwine 220x290

Babakutte n'emijoozi gy'abawagizi...

Eggulo abavubuka ba DP bakwatiddwa n’emijoozi egisoba mu 500 ne giyoolebwa okumpi ne ofiisi zaabwe nga kigambibwa...

Pala0 220x290

Boogedde ebikankana mu kuziika...

DR. David Mugimu eyafudde ng’alumiriza abaserikale okumunyagako obulindo bw’ensimbi, eggulo yaziikiddwa e Kagganda...

Occc 220x290

Abagagga 36 baggyiddwaako abaserikale...

ABAGAGGA mu bitundu bya Kampala, Wakiso, Mukono, n’awalala baggyidwaako abaserikale abaabaweebwa eyali akulira...