TOP

Bammye Poliisi emmere lwa bbanja lya buwumbi 36

By Kizito Musoke

Added 1st March 2018

ABAKULEMBEZE ab’enjawulo boogedde ku mabanja ga Poliisi agagituusizza okusalwako amasannyalaze, amazzi n’obutafuna mmere oluvannyuma lw’abasuubuzi ababadde bagibaguza okulekera awo olw’obutabasasula.

Poliisi 703x422

Ababanja poliisi nga bali mu lukiiko lwe baatuuzizza ku Lwokubiri.

Kiddiridde abasuubuzi ababadde baguza poliisi emmere okulangirira ku Lwokubiri nga bwe batagenda kuddamu kugibaguza okutuusa nga bamaze okubasasula ssente eziwera obuwumbi 36.

Dalausi Katongole, omu ku baguza Poliisi emmere yategeezezza nti okuva mu 2015 tebasasulwanga ssente, era okuggyako nga basasuddwa tebagenda kuddamu kugabira poliisi mmere.

Yayongeddeko nti okuva ku ntandikwa ya Febraury babadde tebawa poliisi mmere era nga tebajja kuddamu okutuusa nga bamaze okusasulwa kuba ssente ze bakozesa bazeewola mu bammanerenda era nga n’ebintu byabwe ebikalu bye baasinga bitandise okulugenda.

Badru Kisitu yategeezezza nti ekimu ku bisinga okwewuunyisa abasuubuzi kwe kubeera nti wadde nga baguza ebitongole ebikuumaddembe ebiwerako emmere okuli amagye n’ekitongole ky’amakomera, kyokka tebamanyi lwaki poliisi y’etebasasula.

Muwanga Kivumbi (Butambala) yagambye nti lipooti z’alina ziraga nti poliisi ebanjibwa ssente eziwera obuwumbi 120. Ng’oggyeeko ababanja ez’emmere, enkambi nnyingi tezirina masannyalaze oluvannyuma lw’okusalibwako era n’amazzi.

Obuzibu yabutadde mu kubeera nga ssente nnyingi ziteekebwa mu bintu ebitalina kye biyamba muserikale ng’okuyiwa omusimbi omungi mu bantu nga Abdallah Kitatta owa Bodaboda 2010 awamu ne bakifeesi ebitalina kye biyamba ku mbeera y’abaserikale.

Judith Nabakooba (mukazi/ Mityana) era ssentebe w’akakiiko ka Palamenti akebyokwerinda yagambye nti ebitongole byonna biba n’amabanja era nga tasuubira nti ekya poliisi kya njawulo.

Mario Obiga Kania, minisita omubeezi ow’ensonga z’omunda yagambye nti kituufu poliisi erina amabanja, kyokka tegannatuuka mu mbeera yeeraliikiriza. Yagambye nti ensonga eno bagikolako, era essaawa yonna ejja kugonjoolwa.

POLIISI KY’EGAMBA

Omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Emilian Kayima bwe yatuukiriddwa yagambye nti ebbanja lya bantu bano balimanyi, kyokka mu kiseera kino tebalina ssente za kubasasula, kyokka nga bajja kusasulwa ekiseera kyonna.

“Ekirungi kya Gavumenti tebba era ne bano balina okugumiikiriza kuba tujja kubasasula nga ssente zifunise,” Kayima bwe yagambye.

Ku Mmande Gen.Kale Kayihura bwe yabadde aggulawo olukiiko lwa poliisi e Kigo yakikoonyeeko nga Poliisi bw’etubidde mu mabanja amayitirivu agateekwa okusasulwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Web2 220x290

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo...

Enkuba egoyezza ekkanisa e Lwengo

Reb1 220x290

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde...

Aba Bbanka enkulu bannyonnyodde lwaki ebimu ku biwandiiko bya Bbanka ezaatundibwa tebabirina

Lip2 220x290

Aba Takis bawuttudde omusirikale...

Aba Takis bawuttudde omusirikale

Mah 220x290

Basajjabalaba awadde ekiragiro...

Basajjabalaba awadde ekiragiro ku bizimbe ebyatwalibwa Muhangi Drake Lubega ne Mansoor Young ne bamwanukula

Po1 220x290

Abatemu bateeze omukazi ne bamutemaatema...

Abatemu bateeze omukazi ne bamutemaatema ne bamutta n'omwana