TOP

Poliisi ebuliddwa obujulizi ku Kirumira

By Ponsiano Nsimbi

Added 2nd March 2018

KKOOTI ya poliisi ebuliddwa obujulizi ku muserikale waayo Mohamed Kirumira n’emwejjeereza emisango ebiri okuli ogw’okusiiwuuka empisa n’okuggalira aba takisi ate ng’abaggyeeko 20,000/-.

Wante1 703x422

Kirumira ng’ali mu kaguli.

Eggulo (Lwokuna) Kirumira yazzeeyo mu kkooti etuula ku kitebe kya poliisi e Naggulu, ssentebe wa kkooti n’abuuza oludda oluwaabi olwakuliddwa Catherine Tusemerirwe okwanja obujulizi ku Kirumira.

Tusemereirwe eyabadde asuubirwa okuwaayo obujulizi obuluma Kirumira yategeezezza kkooti nti aba takisi eby’omusango baabivaako ate n’omuvubuka omulala eyali alumiriza Kirumira okumubbako capati (Rolex) ye n’agitwala baamunoonyezza n’ababula.

Tusemereirwe bwe yabuliddwa obujulizi kwe kusaba kkooti ng’ayita mu ssentebe waayo Denis Odongopiny ne banne emisango egigobe.

Kirumira eyabadde omunyiivu mu kaguli mwe yabadde ayimiridde yatandise okufuna akamwenyumwenyu n’okunyeenya omutwe mu ngeri egamba nti mbanywezezza.

Ssentebe wa kkooti okusaba kwa Tusemereirwe yakukkirizza kyokka n’ategeeza nti eggulo bammemba ba kkooti abamu tebaabaddewo kuggyako Kirumira misango gino mu bujjuvu n’alagira baddemu okutuula ku Lwokubiri ya wiiki ejja nga Kkooti ejjudde bakimale.

Emisango ebiri egyamuggyiddwaako bw’ogigatta ku esatu egyasooka okumuggyibwako giba kati giweze etaano. Kati asigadde ng’attunka n’emisango esatu kw’egyo omunaana egyasooka okumuggulibwako.

Emisango esatu gy’asigazizza kuliko, okukozesa obubi ofiisi nga yaggya ku Meddie Nsubuga 10,000/- ne Badru Muwadda 85,000/-, Muhereza Mayanja 50,000/-, Bosco Kiriggwajjo 50,000/-, Steven Kaggwa 20,000/-, Muhereza Tumusime 40,000/-, Ramathan Kakooza 350,000/- ne Ibrahim Bukenya agamba nti yamubbako ‘Rolex’.

Oludda oluwaabi era lulumiriza Kirumira nti teyakozesa bulungi buyinza bwe ku bavubuka ababba obukadde 100 mu ofiisi y’omuduumizi wa poliisi. Bagamba nti abateeberezebwa okwenyigira mu bubbi buno yabakwata kyokka n’abayimbula nga tabaggyeeko sitatimenti.

Eggulo, Kirumira yaloopedde kkooti nti waliwo abantu abatambula nga bamulondoola nga bakozesa pikipiki buli w’agenda era n’asaba kkooti eragire akulira poliisi y’e Bulenga emuwe obukuumi obw’enjawulo kuba waliwo abayinza okumutuusaako obulabe.

Yagambye nti afuna amasimu agamutiisatiisa ku masimu agatalaga nnamba era abamu baamutegeeza nti yawa abaserikale b’amaggye amawulire g’okukwata eyali akulira aba bodaboda 2010 Kitatta n’omuserikalde Faisal Katende.

Yagambye nti mukazi we yalumbibwa ku nkulungo y’e Busenga ne bagezaako okumuggya ku pikipiki kwe yali nga bwe bamulumiriza nga bwe bajja okutta omwana gwe yalina mu lubuto mu kiseera ekyo.

Yasabye bamukyusizeemu alekere awo okweyanjula buli lunaku. Kyokka okusaba kwe ssentebe wa kkooti talina kyakwogeddeko.

Yategeezezza ssentebe wa kkooti Odongopiny nti yagguddewo n’omusango ku poliisi y’e Lungujja ku fayiro SD: 43/28/02/2018 ogukakasa obulabe bw’alimu.

Kkooti eddamu ku Lwokubiri nga March 6, 2018, okutuula.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.