TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omukazi gwe baasazeekiso e Bweyogerere attottodde

Omukazi gwe baasazeekiso e Bweyogerere attottodde

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd March 2018

OMUKYALA Joselyn Agaba ababbi gwe baafumise ekiso e Bweyogerere attottodde engeri gye yasimattuse okuttibwa abasajja abaamulumbye ne bamukanda ssente, era annyonnyola bwati:

Wabyona1 703x422

Agaba mu ddwaaliro lya Ggwaatiro e Bweyogerere.

“Zaabadde ssaawa 8:30 ez’olweggulo ku Lwokuna, nga ndi mu dduuka lyange erisuubuza bbiya eririnaanye ne wooteeri ya Mamerito e Bweyogerere. Abasajja babiri bazze ne bayingira ng’omu ayambadde kikabuuti.

Eyabadde mu kabuuti yakibikkuddeko katono n’andaga emmundu era wano omutima we gwanzigwereddemu ne tandikirawo okubeegayirira baleme kunzite kundesa baana bange abato. Eyabadde n’emmundu yamboggoledde obutaddamu kubaako kye njogera.

Yambuuzizza oba nnimamu ku ssente era wano kwe kumukasukira mangu waleti yange bwe yagibikkudde n’asangamu ssente 180,000/- ne doola za Amerika 300.Oluvannyuma baggudde seefu ne baggyamu endala 500,000/-.

Baambuuzizza gye nnabadde ntadde ssente abapangisa ze baabadde bansasudde nabadde nkyananaagira okubaddamu ne bandabula nti baabadde bagenda kunzita. Amungu ago baasimbye amagulu n’emikono ne banneebasa wansi ng’olwo bamaze n’okunsiba ekigoye ku mumwa.

Nagenze okuwulira nga bansala obulago ne genzaako okukuba enduulu kyokka ng’eddoboozi terisobola kuyita mu bigoye bye baabadde bansibye ku mumwa. Navuddemu omusaayi mungi era mu kiseera kino abasajja baagezezzaako okufuluma badduke.

Mu kaseera kano, abantu abaabadde bajja ku dduuka baalabye abasajja abadduka ne babasimbako nga bwe bakuba endulu.

Abadduukirize banjoddeyodde okuntwala mu ddwaaliro we twasookedde oluvannyuma ne bannyogerayo e Mulago”, Agaba bw’alulojja.

EMMUNDU YAABWE BAAGIBBA KABALAGALA KU POLIISI

Emmundu gye baasuzizza abazigu abaasaze Joselyn Agaba baagibba ku poliisi ya Mbonye Police Post e Kabalagala nga baagiggya ku muserikale Dickens Kasozi gwe baaleka bafumise ekiso ku mutwe.

Abaserikale ba poliisi y’e Bweyogerere abaakulembeddwaamu kadeeti Hilder Kwarisiima baazinduukirizza ababbi bano babiri nga bakuuliita ne ssente.

 mmundu amasasi ebiso ssente amasimu ababbi bye baabadde nabyo Emmundu, amasasi, ebiso, ssente amasimu ababbi bye baabadde nabyo.

Bombi baakubiddwa amasasi agaabatiddewo. Poliisi yategeezezza nti, emmundu gye baabadde nayo kika kya SMG nnamba UGPOL 48009007 eyabbibwa ku poliisi ya Mbonye e Kabalagala nga September 16, 2016.

Shifah Kiriibwa, aduumira poliisi ya Kira Divizoni yakakasizza nti, emmundu eno ye yabbibwa e Kabalagala.

ABAALABYE ABAZIGU BOOGEDDE

Abbey Kizza, makanika mu galagi eri mu luggya lw’ekizimbe kya Wabyona Plaza awaabadde obulumbaganyi yagambye nti, baabadde bakola, abasajja babiri ne bafuluma edduuka lya Agaba ne babategeeza nti, mukama waabwe afunye obuzibu bagende bamuyambe.

Baagenze okulaba ekituuse ku mukama waabwe afunye obuzibu ne bamusanga ng’avaayo nga yeekutte mu bulago obwabadde butiriika omusaayi n’abategeeza nti abasajja abafulumye bamusaze obulago.

Mu kiseera ekyo abazigu baabadde tebannagenda wala era bwe baabawondedde ne bayingira mu nnyumba y’omutuuze omu.

Omukyala eyategeerekeseeko erya Jovia, eyayingiriddwa abazigu yagambye nti, yabadde ali ku lubalaza lw’ennyumba n’alaba abasajja babiri nga bayingira ennyumba ye, ekyamutabudde nga bakutte emmundu.

“Nasoose kulowooza nti, basirikale, kyokka bwe nayingidde munda ate bo ne baggalawo ne bandagira okusirika n’okukola buli kye bahhamba era ne ngonda.

Bandagidde okubawa engoye za baze ne nzibawa ne bakyusa wakati mu kundabula nga bwe basobola okuleka nga batusse.

Bandagidde hhende ku mulyango hhambe abatuuze abaabadde babawondera wabweru nti, mu nju tebaliimu. Kyokka bwe nafulumye nayogedde birala nti, ababbi bali mu nnyumba nga bawambye baze baze n’omwana.

Abatuuze bazze ku mulyango nga bwe babalabula nti, tebagenda kufuluma. Kino kyawalirizza abazigu okukuba amasasi mu luggi agaalumizza abatuuze basatu. John Yiga omutuuze wa Zooni ya Ntebetebe amasasi gaamuttiddewo.

Baze mu kavuvuhhano kano yabeesimattuddeko n’afuluma olwo omwana n’asigalayo munda n’ababbi”, Jovia bwe yategeezezza. Amasasi amangi agaabadde gafukumuka mu nnyumba gaawalirizza abatuuze okubuna emiwano nga beetegula ekibabu.

Albert Santos, omu ku balwanyisa obumenyi bw’amateeka e Bweyogerere yagambye nti, abazigu olwafulumye ennyumba baggukidde ku kisaawe ky’e Namboole awasimba bbaasi za Pioneer.

Wano we baawambidde emmotoka ne balagira ddereeva waayo abavuge. Baakutte ekkubo eridda ku Jokas, kyokka nga mu kiseera ekyo poliisi yabadde ebagoba n’abavuzi ba bodaboda.

Kyokka bwe baatuuse mu Kireku ne bawamba omuvuzi wa bodaboda ne bamulagira abavuge, kyokka ekibi nti, ekkubo lyabadde likoma kumpi ne bava ku bodaboda.

Baalowoozezza nti, tewakyali abagoba ne basisinkana abaserikale ba poliisi abaabadde batambulira ku pikipiki ne bawaanyisiganya amasasi.

Mu kannyoolagano kano abazigu abazigu bombi baakubiddwa amasasi agaabattiddewo. Emirambo gy’abazigu gyatwaliddwa mu ddwaaliro e Mulago nga tegyabaddeko kiwandiiko kyonna kiboogerako.

 kizimbe kya abyona laza omukyala kwakolera e weyogerere Ekizimbe kya Wabyona Plaza omukyala kw’akolera e Bweyogerere.

 

OMWAMI ABADDE N’OBUTAKKAANYA NE MUKYALA WE

Emyaka ebiri emabega, Agaba ne bba Joseph Garuhanga amanyiddwa nga Wabyona baafuna obutakkaanya era gye byaggweera nga baawukanye.

Garuhanga yawasa omukazi omulala kyokka mukyala we omukulu n’asigala mu kizimbe ky’e Bweyogerere nga y’akisoloozaamu ensimbi.

Joseph Garuhanga bba wa Agaba yagambye nti, yabadde mu kusaba mu klezia e Lubaga omukozi we yamukubiridde essimu nti mukyala we bamusaze obulago.

We yatuukidde nga bamututte mu ddwaaliro lya Ggwaatiro, kyokka yagambye nti kyamukoze bubi okuba nti abatemu baafudde nga tategedde kigendererwa kyabwe.

Famire ya Garuhanga balina ebyobugagga ebiwerako okuli; Kigandaazi Estate e Bweyogerere omuli amayumba agasukka 25, Ntebetebe Estate e Bweyogerere, Estate ku kidda mu Ggwaatiro, alunda embizzi e Mukono, Wabyona Plaza e Bweyogerere, Estate e Bunga ne ffaamu ey’amaanyi e Hoima.

POLIISI EWADDE EKIRAGIRO

Frank Mwesigwa omuduumizi wa poliisi mu Kampala n’emiriraano alagidde poliisi okukuba ku nnyama omuntu yenna gwe baba balwanyisa ng’alina emmundu, naddala bw’alabika ng’agezaako okubalwanyisa.

Yagambye nti abazigu ensangi zino basse abaserikale ne babatwalako emmundu nga kino kyaliwo e Kawempe mu February bwe baakuba abaserikale babiri ne babatwalako emmundu bbiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kakozaemmotokazeazilabiriraokusikirizabakasitomawebuse 220x290

Mmotoka enkadde mwe nkola ssente...

Wazir Kakooza alaga lwaki omuntu yeetaaga kuyiiya kyokka okukola ssente mu kifo ky'okunoonya emirimu.

Miss 220x290

Abavuganya mu mpaka za Miss Uganda...

Abawala 22 abavuganya mu mpaka za Miss Uganda battunse mu mpaka z'okwolesa talanta

Eyeclinicwebuse 220x290

Kw'olabira amaaso ageetaaga okujjanjabwa...

Kebeza amaaso go buli mwaka okutangira obuzibu okusajjuka ssinga gabeera malwadde

Img20190718132844webuse 220x290

Abakyala mukole ebiraamo okutangira...

Abakyala muve mu kwezza emabega mukole ebiraamo okuwonya abaana bammwe okubbibwa n'obutafuna mu ntuuyo zammwe

Bala3 220x290

Abaabadde ne Prince Omar ng'akwata...

OMUYIMBI amanyiddwa nga Prince Omar bwe yabadde akola vidiyo ye abaamuwerekeddeko baalidde emichomo gyennyama kw'ossa...