TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Poliisi ezudde ebirala ku baawambye Susan Magara ne bamutta

Poliisi ezudde ebirala ku baawambye Susan Magara ne bamutta

By Musasi wa Bukedde

Added 3rd March 2018

Poliisi yazudde nti, abatemu olwawamba Susan, essimu ze zonna baazireka mu mmotoka, laptop nayo baagireka n’ebintu ebirala poliisi kwe yali eyinza okutandikira okubalondoola baabireka.

Magarra 703x422

Susan Magara

EBIRALA POLIISI BY'EZUDDE

Poliisi yazudde nti, abatemu olwawamba Susan, essimu ze zonna baazireka mu mmotoka, laptop nayo baagireka n’ebintu ebirala poliisi kwe yali eyinza okutandikira okubalondoola baabireka.

Omukungu wa poliisi omu ali mu kitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango ataayagadde kumwatuukriza mannya yategeezezza nti, olw’okuba abaawamba omuwala tebaabadde babbi ba bulijjo, baakimanya nti singa batwala essimu ye oba ekintu kyonna poliisi ky’esobola okusinziirako okubalondoola, yandibakutte mangu nga misoni yaabwe tebannagituukiriza.

Ensonda okuva e Naggulu awaatereddwa ekifo essimu ez'obwereere ezaatekeddwaawo abantu abasobola okuwa poliisi amawulire ku musajja ali mu katambi eyabadde ayogerezeganya ne John Magara kitaawe wa Susan ng’amulagirira ekiveera omuli engalo za muwala we, zaategeezezza nti, abantu bangi abaakubye okuva poliisi lwe yazitaddewo ku Lwokusatu.

Eddoboozi n’ebigambo omusajja bye yakozesezza by'alaze nti alina akakwate n’ab’eggwanga lya Hema e Congo kyokka ng’amaze ekiseera mu Bunyoro era ebigambo bye bitabiikiriza Oluhema mu Lunyoro.

Kiteeberezebwa nti ono yapangisiddwa bupangisibwa okukola ‘misoni’ eno kubanga wazze wabeerawo ebibinja by’abamenyi b’amateeka abapangisibwa okuva e Congo naddala okumpi n’ensalo okukola misoni ez’obutemu mu Uganda.

John Magara abadde n’enteekateeka ey’amaanyi ey’okussaawo ekyuma kya sukaali e Hoima era nga Susan y’abadde ku mwanjo mu nteekateeka zonna, era wano nawo ab’ebyokwerinda batunuddewo si kulwa ng’abaamusse balana akakwate ku by’ekyuma kya sukaali.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lim1 220x290

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako...

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako omujaasi omutwe ne gubula

Wez1 220x290

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza...

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza eri abantu be Buikwe

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi