TOP
  • Home
  • Buganda
  • Mubeere kyakulabirako eri abantu - Ssebwana

Mubeere kyakulabirako eri abantu - Ssebwana

By Musasi wa Bukedde

Added 4th March 2018

OMWAMI wa Kabaka atwala essaza ly’e Busiro Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza asabye abaami ba Kabaka mu Busiro okubeera eky’okulabirako eri abantu ba Kabaka, mu nneeyisa n’enkola y’emirimu.

Ssebwana 703x422

Ssebwana Charles Kisiriiza ng'ayogerako eri abakulembeze b'Obwakabaka okuva e Busiro.

Bya LAWRENCE KIZITO

OMWAMI wa Kabaka atwala essaza ly’e Busiro Ssebwana Charles Kiberu Kisiriiza asabye abaami ba Kabaka mu Busiro okubeera eky’okulabirako eri abantu ba Kabaka, mu nneeyisa n’enkola y’emirimu.

Ssebwana okwogera bino yasinzidde mu musomo ogukwata ku musujja gw’ensiri ogwabadde ku mbuga y’e Ssaza e Ssentema nga gwabaddde gwabakulembeze b’Obwakabaka. Gwabaddewo ku lw’okusatu nga 28th/02/2018.

Ssebwana yategeezezza nti omukulembeze bwalagira abantu okubeera abayonjo mu maka naye ng’ewuwe ensiko yejjudde, abantu tebasobola kumuwuliriza.

Yagambye nti enkola zonna eziziyiza omusujja gw’ensiri zirina kusooka kuteekebwa mu nkola mu maka g’abakulembeze olwo n’abantu basobole okufuna eky’okulabirako.

Yajjukizza ba Ssemaka okugulira abantu b’omu maka gaabwe obutimba bw’ensiri naddala abo abaafikka nga gavumenti egaba obutimba obw’obwereere. Yagambye nti buno bubeera buvunanyizibwa bwa Ssemaka okulaba nga abantu be balamu awo Gavumenti n’ejja okumukwatirako.

Yasabye abantu okujjumbira okwekebeza omusaayi bamanye obulamu bwabwe we buyimiridde ate beekuume enddwadde enkambwe nga Siriimu zireme kubasanyaawo.

Ye Dokita Phiona Kalinda okuva mu kitongole ky’ebyobulamu e Mengo nga yeyabadde omusomesa omukulu, yagambye nti omusujja gw’ensiri gutta abantu bangi okusinga endwadde endala ezirowoozebwa okubeera ez’amaanyi.

Wano we yabasabidde okukozesa obulungi obutimba obwabaweebwa gavumenti eya wakati n’okukuuma obuyonjo mu maka gaabwe basobole okwewala ensiri ezireeta omusujja.

Yasabye abaami okufaayo ku bulamu bwabakyala baabwe nga bali mbuto kubanga omusujja gubayisa bubi olw’obutafaali obulwanyisa enddwadde okubeera obutono mu musaayi.

Yanyonyodde nti omusujja guno gukosa n’omwana ali mu lubuto ate nga guyinza okuleetera omwana ne nyina bombi okufiirwa obulamu bwabwe.

Abakulembeze b’Obwakabaka mu Ssaza ly’e Busiro baatumiddwa okwongera okunyikiza obubaka bw’okulwanyisa omusujja gw’ensiri mu bantu, n’okulondoola okulaba nga abantu bakozesa obutimba bw’ensiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kib11 220x290

Ba Kansala ku district e Kiboga...

Ba Kansala ku district e Kiboga bakubye ebituli mu budget ya District

Capture 220x290

Emitimbagano gya Vision Group gyakuvaako...

Emitimbagano gya Vision Group okuli ogwa bukedde.co.ug ne newvision.co.ug gyakuggalawo ku wiikendi eno okutandika...

Br3 220x290

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya...

Ensonga za Brian White ez'okkabasanya abaali abakozi be zisajjuse

Kit1 220x290

Engeri akasaawe k'e Mulago gye...

Engeri akasaawe k'e Mulago gye kaalera Jimmy Kirunda

Jit1 220x290

Afiiridde mu kibanda kya firimu...

Afiiridde mu kibanda kya firimu e Mukono