TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kayihura nga tannagobwa yasoose kukola nkyukakyuka 53 mu boofiisa

Kayihura nga tannagobwa yasoose kukola nkyukakyuka 53 mu boofiisa

By Musasi wa Bukedde

Added 5th March 2018

OMUDUUMIZI wa poliisi ya Kampala East, Siraje Bakaleke anoonyerezebwako ku by’okweyambisa obubi ofiisi ye, akyusiddwa mu nkyukakyuka ezaalangiriddwa IGP , Gen Kale Kayihura nga tannagobwa.

Wano 703x422

Gen. Kale Kayihura

Mu nkyukakyuka zino ezaalangiriddwa ku lwomukaaga, Kayihura yakyusizza boofiisa ba poliisi 53 ab’amadaala aga waggulu, abamu n’abagonnomolako agafo ate abalala n’abakuba ku katebe.

Bakaleke aggyiddwa mu kifo eky’obuduumizi obwa Kampala East, Kayihura n’amusindika mu kitongole ekirung'amya ebyobufuzi mu poliisi, ekikulirwa Asan Kasingye ng’agenda kusomesa ebyobufuzi mu poliisi.

Enkyukakyuka zino, Bakaleke zimusanze anoonyerezebwako ku bigambibwa nti, yenyigira mu kubba ssente akawumbi kamu n’obukadde 400 ku bannansi ba South Korea abaali bazze mu Uganda okusuubula zzaabu kyokka ne bagezaako okubatikka ku nnyonyi okubazzaayo ewaabwe wabula ne beekubira enduulu era abamu ku baserikale abeenyigira mu bubbi buno abamu ne bakwatibwa.

Bakaleke, yagguddwaako fayiro bbiri ng’emu ya kweyisa ng’ekitagasa n’amenya amateeka agafuga poliisi ng’eno ekolwako ekitongole kya poliisi ekikwasisa empisa ekya Professional Standards Unit (PSU) ate endala ye y’omusango gw’obubbi eyabadde ekolebwako Flying Squad kati yakwasiddwa poliisi y’e Ntebe.

Abaserikale abaasooka okukwatibwa okuliko; Patrick Ochen, Kenneth Zirintuusa, George Kayongo ne Isaac Munerezo abaalumiriza mu sitatimenti ze baakoze mu Flying Squad nti, byonna bye baakola, baali babikolera ku biragiro bya Bakaleke.

Enkyukakyuka zino wadde Bakaleke zirabika ng’ezimulese nga bamussizza wansi, abatunuulizi b’ebyokwerinda bategeezezza nti ziraga nti, Kayihura amuvuddemu kubanga emisango egimunoonyerezebwako gyandibadde gimuleka bubi nnyo okusingako ku ky’okumutwala ewa Kasingye.

KAYIHURA ATONZEEWO POLIISI ENZIBIZI

Mu nkyukakyuka zino, Kayihura atonzeewo ekitongole ekipya mu poliisi ky’atuumye Police Reserve Task Force, ekigenda okukola nga poliisi enzibizi era n’alonda AIGP Ahmed Wafuba okukiduumira.

Ekitongole kino kyefaananyirizaako eky’amagye ekyatondebwawo okubeeramu abajaasi abalindiridde okuyitibwa okubaako emirimu gye bakola ssinga waliwo obwetaavu nga ne mu poliisi kiteereddwaawo okubeeramu abaserikale abalindiridde okuziba eddibu oba okukola emirimu egy’enjawulo ssinga waliwo obwetaavu.

AIGP Ahmed Wafuba eyali akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku mafuta n’amusindika mu ofiisi ye okutuusa lwe yamulonze okukulira poliisi enzibizi.

Wafuba agenda kumyukibwa SCP Henry Tukanyirwa ng’ono abadde amyuka akulira ekitongole ekinoonyereza mu poliisi (Research anda Planning) ate Steven Tanui abadde omumyuka w’akulira ekitongole ekikkakanya bujagalalo (Field force Unit) atwaliddwa okukulira ebikwekweto.

Mu balala abakyusiddwa kuliko SCP Christopher Kasalawo alondeddwa okuduumira poliisi ekakkanya obujagalalalo (FFP) ,SCP Richard Edyegu ne Anne Tusiime baggyiddwa mu kitongole ekivunaanyizibwa ku kugulira poliisi ebikozesebwa ne basindikibwa mu ofiisi ya Gen Kayihura okukola emirimu egy’enjawulo, Christine Nanding abadde akulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku ttaka atwaliddwa okumyuka akulira ekitongole ky’ebyamateeka mu poliisi, Henry Mugumya eyali akulira Special Investigations Unit (SID) e Kireka n’alondebwa okukulira ekitongole ekivunaanyizibwa ku ttaka.

Fadil Kaali yalondeddwa okumyuka akukira ekitongole kya poliisi ekivunaanizibwa ku mafuta, SCP James Acaye y’amyuka akulira ekitongole ekinoonyereza mu poliisi, CP Bazil Mugisha y’amyuka akulira ekitongole ekigulira poliisi ebikozesebwa, Simon Peter Kuteesa yatwaliddwa mu kitongole ky’ebyamateeka.

CP Fred Enanga eyali omwogezi wa poliisi n’omumyuka we, Polly Namaye batwaliddwa mu kitongole ekirung'amya ebyobufuzi mu poliisi nga y’avunaanyizibwa ku byamawulire n’okukuba ebitabo.

Bano baakoma okwogerera poliisi oluvannyuma lwa Gen. Kayihura okuyita omugenzi Andrew Felix Kaweesi ne basigala nga tebakyali ofiisi mwe bakolera. Dennis Namuwoza yaggyiddwa e Kigezi nga kati y’aduumira poliisi mu Kampala South.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab12 220x290

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e...

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e Mityna kuzzeemu kigoye wezinge

Gwe1 220x290

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo...

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe

Omwala2webuse 220x290

Ab'e Kansanga beeraliikirivu olw'omwala...

Abatuuze e Kansanga mu Makindye beeraliikirivu olw'omwala ogwasalamu ekkubo gwe bagamba nti gwandigwaamu abaana...

Babaka1 220x290

Sipiika tuyambe naffe baagala kututta...

ABABAKA ba Palamenti musanvu baddukidde ewa Sipiika nga balaajana nti waliwo ababalondoola abaagala okubatta nga...