TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kabaka alonze olukiiko olw'okuddaabiriza Twekobe

Kabaka alonze olukiiko olw'okuddaabiriza Twekobe

By Dickson Kulumba

Added 5th March 2018

Kabaka alonze olukiiko olw'okuddaabiriza Twekobe

Dub5 703x422

Katokkiro ng'ali n'abamu ku bakungu abalondeddwa okukulembera akakiiko ak'okuddaabiriza Twekobe

KABAKA ayungudde basajja be enkwatangabo okukulemberamu omulimu gw’okuyooyoota Twekobe okugituusa ku mulembe gw’ensi yonna bagimukwase nga July 24,2018 terunayita okusobola okukoleramu emikolo gy’ebijaguzo by’emyaka 25 bukya atuuzibwa ku Nnamulondo.

Abalondeddwakuliko Godfrey Kirumira akulira ekibiina ky’Abagagga Kwagalana mu Kampala ng’amyukibwa John Bagambe,Munnamateeka Masembe Kanyerezi ye Muwanika ate  Omukungu Robert Ssewava ye Muwandiisi ssaako ne Bammemba abalala bawera 50. 

Ng’atongoza olukiiko luno olwatuumiddwa “TWEKOBE EJJUDDE”,Katikkiro Charles Peter Mayiga yategezezza nti Obuganda buli mu kusomoozebwa kubanga Olubiri lwa Buganda olutongole weeruli kyokka Kabaka tasobola kululamuliramu wadde Nnabagereka okugerekeramu Obuganda bwatyo n'asaba olukiiko olutereddwawo okulaba nga lutandikira ku kulaba nga Twekobe etekebwamu buli kalonda anagiteeka ku mutindo.

“Tugenda kujaguza emyaka 25 nga Kabaka ali ku Nnamulondo bwetutyo ne tukiraba nga kyetaagisa Ssabasajja afune Twekobe ejjudde ng’erimu ebibajje si mu ofiisi mwokka wabula mu nju eno yonna akoleremu emirimu gye gy'ateekeddwa okukola nga Kabaka wa Buganda.

Olubiri lw’e Mmengo lwe Lubiri olutongole era Olukulu n’olwekyo ffe abaweereza kituwa ekifaananyi ekibi nti Kabaka alamula Obuganda naye Olubiri lwe tasobola kululamuliramu ate ne Nnabagereka talina wagerekera,” Mayiga bweyategezezza ng'annyonnyola obukulu bw’okuyooyoota Twekobe.

Olukiiko luno luli wansi w’Olukiiko olunene olutegeka amatikkira ga Kabaka ag’emyaka 25 era nga terunalondebwa, Eggwanika lya Buganda libadde likola omulimu gw’okuddabiriza Twekobe nga wetwogerera ensimbi eziwera 800 okutereza ebintu eby’enjawulo naddala ofiisi ya Kabaka n’ekisenge omusisinkanirwa abantu nga byatereddwa ku mutindo.

Kati obuvunanyizibwa obwolekedde olukiiko luno kwe kulaba nga buli kisenge ekiri mu Twekobe nga kirimu ebibajje n’ebiwunde,effumbiro ery’omulembe n’ebirala ng’omulimu gwonna gusuubirwa okumalawo ensimbi ezisukka akawumbi kalamba.

Twekobe y’enju enkulu mu Lubiri lwa Kabaka era ng’eno eriwo yaddira Obwakabaka mu 1997 era ne wabeerawo okugirongoosa okwamaanyi mu 1999 mu kiseera ky’embaga ya Kabaka kati omulimu omulala ku maka gano kuzzeemu mu 2016.

“Mu bubaka bwe obukomekereza Omwaka Kabaka yatulagira tuteeke essira ku kkulakulanya Olubiri. Bwetumaliriza Twekobe nga tubeera tugenda mu maaso ne Kaweefube w’okuddaabiriza Olubiri tuve ku bigambo by’abantu, nze sitambulira ku bigambo by’abantu wabula nkola kituufu,” Mayiga bweyayogedde.

Mu kukkiriza obuvunanyizibwa, ku lwa banne, Kirumira yategeezezza nti bagenda kubutuukiriza bakole Twekobe ebeere nga g’emaka ag’ennono agasinga ekitiibwa ku lukalu lw’Omuddugavu.

Kabaka Mutebi II yatuuzibwa ku Nnamulondo ya Bajjajjabe nga July 31,1993 era ebijjaguzo by’omwaka guno bigenda kubeera mu Lubiri e Mmengo ng’olukiiko olukulu lukulirwa Dr. Twaha Kaawaase,Omumyuka ow’okubiri owa Katikkiro wa Buganda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abr1 220x290

Empaka za ASFAs bazongeddemu ebirungo...

Basereebu beesunga kuwangula ngule mu mpaka z'emisono eza Abryanz Style and Fashion Awards (ASFAs)

Siba 220x290

Leero mu mboozi z'omukenkufu, tukulaze...

EMMWAANYI kyabugagga era bajjajjaffe baazitunda ne bakolamu ebintu eby’enjawulo omwali okusomesa abaana, okugulanga...

Kusasiraserenandijjo32 220x290

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira...

Ekyabade mu kivvulu kya Kusaasira ku Serena: Museveni ayanukudde Mayinja ku by'oluyimba lwa 'Ebintu bizzeemu'

Cf67bb0a32be4b27bedf0076e8e46208 220x290

Bazannye ffirimu ku ngeri abavubuka...

Ekitongole kya Reach a hand nga kiri wamu n'Omunigeria kafulu mu kuzannya ffirimu Emmanuel Ikubese basabuukuludde...

Teekamu 220x290

Eyanzigya mu ssomero yeegaanye...

NKIZUDDE kati nti eyannimbalimba n’annemesa emisomo yali ayagala kunkozesa nga tanjagala bya ddala.