TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kayihura by’akoze n’ebimulemye mu kisanja kye: Obumenye bw'amateeka bumulemye okumegga

Kayihura by’akoze n’ebimulemye mu kisanja kye: Obumenye bw'amateeka bumulemye okumegga

By Ahmed Mukiibi

Added 6th March 2018

PULEZIDENTI Museveni bwe yalonda Kale Kayihura ku ky’omuduumizi wa poliisi mu December 2005, eddimu eddene lye yalina kwali kugogogola poliisi ng’atandikira Gen. Edward Katumba Wamala we yali akomye.

Balabe 703x422

Kayihura ng’alambuza omumyuka wa Katikkiro asooka, Moses Ali ekisulo by’aberikale gye buvuddeko.

Kayihura yali asuubirwa okussa essira ku kulwanyisa obuli bw’enguzi, obwassemugayaavu, ‘endali mu byobufuzi’ aba poliisi ze baalina n’okutereeza poliisi yonna okutwaliza awamu ng’omulimu yagutandika n’amaanyi era tewali kubuusabuusa, emyaka 13 Kayihura gy’abadde mu kifo kino aliko omukululo gw’alese.

Pulezidenti Museveni ne Kayihura gubadde gubasaza mu kabu era y’ensonga lwaki azze amwongera ekisanja (kontulakita) buli luvannyuma lw’emyaka esatu wadde nga lipoota y’omulamuzi Julia Ssebutinde yasemba abaduumizi ba poliisi baweereze nga ebisanja bibiri byokka.

Kontulakita ya Kayihura esembyeyo Museveni yagimuwadde ku ntandikwa ya May 2017 mu kiseera lwe byabadde biyiting'aana nti obuganzi bwe embuga bukendedde olw’ebitagenda bulungi mu poliisi naddala obuzzi bw’emisango obwali bweyongedde.

Olwo, waali waakayita kumpi emyezi ebiri ng’eyali omwogezi wa poliisi Andrew Felix Kaweesi atemuddwa mu ntemula eyaleka Bannayuganda nga banyeenya emitwe beebuuza ebibuuzo naddala:

Ani yamusse? Lwaki yamusse? Obuvumu obumutta emisana ttuku yabuggye wa? era abantu ne batandika okusonga ennwe mu banene mu bitongole by’ebyokwerinda.

Museveni bwe yagenda e Kulambiro mu maka ga Kaweesi okusaasira aba famire ye, yasinziira eno n’ayatulira Kayihura nti poliisi gy’akulembera yasenserwa abazzi b’emisango n’amulagira egigogole oba ssi ekyo ye (Museveni) ajja kugimugogolera.

Okugoba Kayihura kaabadde kabonero akalaga nti omwaka mulamba Kayihura gw’abadde alina okugogola poliisi tagukozesezza olwo Museveni kwe kuyingizaawo ttiimu empya ekole omulimu ogwo.

OBUMENYI BW’AMATEEKA BUMULEMYE OKUMEGGA

Abantu bangi baayanirizza amawulire g’okugobwa kwa Kayihura era mu bano nga mulimu ne bofiisa ba poliisi n’abakungu mu bitongole ebyokwerinda, abaatadde obubaka ku mikutu egy’empuliziganya nga bagamba nti Museveni yalwawo okumugoba.

Abamu ku ba poliisi bazze bakolokota Kayihura nga bamulumiriza okusiga obusosoze n’enkola ya mwana w’ani mu ngeri gy’abadde alonda n’okugaba ebifo mu poliisi ng’ebifo n’emirimu emisava egiwa abantu ba mu kitundu kimu.

Kino ne Mohammad Kirumira mu kwemulugunya kwe ng’alangirira okulekulira kwe mu poliisi, yakikoonako. Kayihura era bakimutaddeko nti abadde yassaawo oluwonko ne boofiisa abakulira ebitongole ebyenjawulo nga bangi takwatagana nabo.

W’aviiridde mu kifo kino, nga kyogerwa nti talima kambugu n’akulira ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango mu poliisi Grace Akullo nti era afubye enfunda nnyingi okumuggyawo ateekewo omuntu omulala wabula Pulezidenti n’abigaana.

Mu ngeri ey’okunafuya Akullo n’ekitongole ky’atwala, Kayihura abadde yatondawo ebitongole ne ofiisi ez’enjawulo nga zikola emirimu gye gimu ekireseewo obukuubagano.

Okugeza ng’ekitongole ekya Special Investigations Department ( SID) ng’ekola emirimu gye gimu n’ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, Special Operations Unit ekyali kikulira Nixon Agasirwe nga kikola omulimu gwe gumu ne Flying Squad, ekitongole ekikessi ekyali wansi w’ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango nga bino bizze bikuubagana mu nkola y’emirimu.

Kayihura abadde n’enkola ey’okubuusa abaserikale amadaala mu kifo ky’okubayisa mu mitendera gattako n’okugaba ofiisi ez’enjawulo nga tagoberedde bumanyirivu n’obutendeke ng’agoberera kimu buwulize.

Ofiisa eyasabye amannya ge okusirikirwa yagambye Kayihura aliko abaserikale b’abadde asembeza nga bawulize gy’ali ate b’abadde atwala nga “bakipingamiizi” abadde abatuulako n’okubafeebya.

Kayihura era yaggyawo ekitongole ekyali kikola ku by’obukessi ekyali kimanyiddwa nga Special Branch nga kino bangi bakimuteekako nti kye kivuddeko ebikolwa eby’ettemu omufiiridde abantu abawera okweyongera kuba tewali basobola kukola bukessi bwakikugu naddala nga babukola ku ba poliisi n’enkozesa yaabwe ey’emmundu.

Kayihura nga yaakeegatta ku poliisi, yasooka n’agoba abaserikale abaali mu kitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango n’asindikayo ababe, era kino kyavaako abawaabi b’emisango okulaga obutali bumativu nga bagamba nti engeri y’okunoonyereza ku misango yali ebulamu obukugu n’obumanyirivu.

Mu baggyibwa mu kitongole ekyo kwaliko ne Denis Odongpiny akulira kkooti ya poliisi.

Kayihura era bamunenya obuteesiga bimugambibwa baserikale naddala ab’amadaala aga waggulu kyokka ne yeesiga abantu abatali baserikale nga Abdallah Kitatta ne ba Crime Preventer nga bano babadde bamuloopera abaserikale ababalemesa n’okumuwa amawulire amafu.

Kayihura alemeddwa okukola ku kwemulugunya kw’abaserikale abamu kwe babadde balina nga kino kyawa abantu nga Muhammad Kirumira ekyanya okuvaayo n’ayanika okwemulugumya kwe mu lujjudde.

Era abadde anenyezebwa okuyingiza abantu abatali baserikale mu poliisi omuli n’abaali ababbi n’abamenyi b’amateeka n’abawa obuvunaanyizibwa obw’amaanyi ne bakina ku boofiisa abaayingira poliisi nga bayita mu mitendera emituufu nga mu bano kuliko Nixon Agasirwe eyali ‘Informer’ kyokka n’akomekkereza ng’amuyingiza poliisi n’okumuwa amayinja ng’amagye ga UPDF we gamukwatidde.

Agasirwe ali ku daala lya Senior Superintendent of Police era nga kati avunaanibwa mu kkooti y’amaggye.

Ebirala ebiremye Kayihura bwe buzzi bw’emisango obweyongedde ennyo naddala ettemu, obubbi bw’emmotoka n’emize emirala nga kino kivudde ku mmundu ez’ejjenjeero eziri mu bantu, ng’ezimu ku mmundu ezikozesebwa obubi za poliisi.

Ng’oggyeeko okulemwa okulwanyisa ab’emmundu; waliwo n’obumenyi bw’amateeka obulala okuli obw’ebijambiya, okusobya ku bakazi n’okubatta, ekibbattaka ebivuddeko n’okutwalira amateeka mu ngalo okweyongera.

ALWANYISIZZA ABEEKALAKAASI

Kayihura abadde alinnye ku nfeeta okwekalakaasa okwali kukudde ejjembe n’okusannyalaza Kampala naddala okutegekebwa bannabyafuzi nga Walk To Work.

Abamu ku beekalakaasi, Kayuhira abadde yabazza mu kyama n’ayogeraganya nabo n’abaggya mu kwekalakaasa ng’abamu yabayamba n’okutandikawo pulojekiti ez’okwe-kulaakulanya.

Kayihura era akoze ku kuzzaayo abaserikale okutendekebwa okufuna obukodyo obw’enjawulo bw’atandise amatendekero ag’enjawulo omuli ery’e Bwebajja, ettendekero ery’abalwanyisa obutujju erisangibwa e Yumbe okwongereza kwago agaliwo okuli ery’e Kibuli ne Kabalye mu Masindi.

Mu kaweefube w’okusobola okulongoosa ekifananyi kya poliisi wamu n’okusaasaanya amawulire Kayihura yagaziya ofiisi y’omwogezi wa poliisi bwe yasalawo buli kitundu kibeera n’omwogezi waakyo okusobola okuwewula ku mwogezi omukulu atuula ku kitebe kya poliisi.

Kayihura era mu kiseera ky’abadde mu poliisi asobodde okuzimbira poliisi ekitebe kyayo e Naguru nga mu kusooka poliisi yali etuula Kibuli n’evaayo nepangisa ku Parliamentary Avenue okutuusa lwe yasenguka era n’okuyamba ebitongole eby’enjawulo okufuna ofiisi zaabyo bireme kupangisa.

Kayihura asikirizza abavubuka okwegatta ku poliisi naddala abalina obuyigirize mu bintu eby’enjawulo nga mu bano mulimu abasawo, bayinginiya, abasomesa kuba emabegako baali batono mu poliisi wabula nga kati bawerako wamu n’abakyala.

Wabula byonna by’abadde atuuseeko byasaanikirwa akakuubagano ke ne Lt. Gen. Henry Tumukunde ate wakati mu kakuubagano, obumenyi bw’amateeka ne bweyongera okukkakkana nga Pulezidenti ekifo akimuggyeeko.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit114 220x290

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba...

Gavumenti etandikidde Bwaise okugaba emmere

Fud1 220x290

Omugagga Ham awaddeyo obukadde...

Omugagga Ham awaddeyo obukadde 100 okudduukirira abali obubi olw'embeera ya Corona Virus

Denisonyango1703422 220x290

Coronavirus atta - Onyango

KAPITEENI wa Cranes, Denis Onyango, akubirizza Bannayuganda okwongera okwegendereza ssennyiga omukambwe 'COVID-19',...

Nakanwagigwebaalumyekoomumwa1 220x290

Emmere etabudde omukozi wa KCCA...

OMUKOZI wa KCCA alumyeko muliraanwa we omumwa ng’amulanga okutuma omwana okubba emmere ye, naye abatuuze bamukkakkanyeko...

Hell 220x290

Gav't etaddewo kampeyini ya ‘TONSEMBERERA’...

Gavumenti etaddewo kampeyini etuumiddwa “TONSEMBERERA” mw’eneeyita okutangira okusaasaana kwa ssennyiga wa coronavirus....