TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Enkonge omuduumizi wa poliisi Ochola z’ayolekedde

Enkonge omuduumizi wa poliisi Ochola z’ayolekedde

By Musasi wa Bukedde

Added 7th March 2018

OKUMALA ebbanga ddene ekifaananyi kya poliisi kigenze ky’onooneka mu bantu olw’entalo mu baserikale n’emize emirala ng’okwekobaana n’ababbi n’ebikolwa by’obumenyi bw’amateeka ebirala.

Ochola 703x422

Kino kitegeeza nti, omuduumizi wa poliisi omupya Okoth Ochola n’omumyuka we Brig. Sabiiti Muzeyi, boolekedde olusozi gambalaga okuzza emitima gy’abantu n’okulongoosa ekifaananyi kya poliisi, nga ne Pulezidenti Museveni abadde yavaayo dda n’asoomooza Kayihura atereeze ekitongole kino bw’abadde akikulembera.

Ebimu ku bizibu poliisi by’etubiddemu, bizzeewo mu myaka13, Kayihura gy’amaze ng’omuduumizi wa poliisi.

Abaserikale abamu nga Mohamad Kirumira baawalirizibwa okuvaayo ne balumiriza nga poliisi bw’erimu obubbi n’emize emirala egiremye abakulira ekitongole kino okugirwanyisa.

Mu 2014, ACP Herbert Rheno Karugaba nga yaakawummula emirimu gya polisi, yawandiikira Kayihura ebbaluwa ng’amulaga engeri gy’attattanyeemu poliisi nga yayogera ku bintu bingi kyokka Kayihura teyabitwala nga nsonga nga bisigalidde Ochola ne Sabiti okulaba nga babikolako.

AKAKUUBAGANO N’EBITONGOLE EBIRALA

Akakuubagano wakati wa Gen. Kayihura ne Lt. Gen. Henry Tumukunde kabadde kasusse. Ababiri bano, kibadde kifuuse kirwadde ekikwata ng’osemberedde akirina.

Bubadde buvudde ku njovu ebbiri nga bukutte n’abaserikale be batwala.

Mu October w’omwaka oguwedde baserikale ba Flying Squad abaali bakulembeddwa Herbert Muhangi kaabulako katono bakubagane amasasi n’abajaasi b’ekitongole ky’amagye ekikessi eky’omunda (ISO) mu maka g’omukazi Christine Mbabazi Muhoza gwe balumiriza nti, amanyi ku kutemulwa kw’eyali omwogezi wa poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi.

Kino, kyawaliriza poliisi okuyingira mu nsonga zino n’esindika abajaasi okutawulula olutalo olwali e Lungujja mu Munisipaali y’e Lubaga.

Pulezidenti azze abalabula okukomya entalo n’okunyoomagana nga buli omu ayissamu munne amaaso.

Ochola, alina okulwana okuzzaawo emirembe wakati wa poliisi n’ebitongole ekya CMI ne ISO n’okubuulira abaserikale be nti ebitongole ebirala tebirina buzibu wabula balina kukolaganira wamu okukuuma emirembe.

Kayihura yalabula abaserikale ba poliisi obutaddamu kwogera n’abajaasi ekintu Ochola ky’alina okulwanyisa kuba abantu babasuubira okussa ekimu nga abooluganda.

POLIISI YA BYABUFUZI

Karugaba mu bbaluwa ye yategeeza nti, okuva Kayihura lwe yafuuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, poliisi yagifuula ya byabufuzi ekintu ekyali kitabangawo mu byafaayo bya poliisi ya Uganda.

Obunafu mu kubuuliriza ku buzzi bw’emisango bubadde kususse nga kino kyeragira ku ttemu erizze ligwawo, abatemu ne batazuulibwa.

Abaduumizi ba poliisi abapya balina okufuba okuggyawo obukundi bw’ebyobufuzi obubadde bwerimbika mu kukuuma eddembe nga bukolagana ne poliisi kyokka ne buva ku mulamwa ne butandika okutulugunya abantu okukyayisa poliisi.

OKUTENDEKA N’OKUKUKUZA ABASIRIKALE BA POLIISI

Karugaba yagamba nti okukuzibwa mu poliisi kwava ku mulamwa ng’omuntu okulinnyisibwa eddaala ateekwa kupanga bupanzi mu kifo ky’okulinnyisibwa okusinziira ku busobozi bwe.

Mu bintu ebizze bifaafaagana mu poliisi, mulimu n’omutindo gw’abaserikale abava mu ttendekero lya poliisi e Kabalye be yagamba nti bafuluma ba kibogwe.

Kino ne Kayihura yakikakkasizza bwe yabadde asiibula abaserikale abaabadde mu kutendekebwa e Bwebajja gyebuvuddeko bwe yagambye nti omutindo gw’abanoonyereza ku buzzi bw’emisango gubulamu nga beetaaga okuddamu okutendekebwa.

Karugaba mu bbaluwa ye eyafulumira mu lupapula luno nga May 29, 2014, agamba nti, yalaba ekifaananyi ky’omuserikale ali ku ddaala lya ASP ng’akuba saluti akozesa omukono gwa kkono kwe yasinziira okugamba nti abaserikale bafuluma nga tebalina kye bayize.

Agattako nti, omuserikale akukuzibwa okuva ku ddaala erisookerwako erya Contatable n’afuna mayinja olw’okubanga kaada mulungi ekitali kituufu, ensonga eno, Kayihura we bamugobedde ebadde ekuze era Ochola alina okubaako ky’agikolera.

OBUBBI MU POLIISI

Obuli bw’enguzi, obubbi omuli okubbisa emmundu, eryanyi, n’engeri endala zonna, kizibu kinene mu kitongole kya poliisi.

Abaserikale bangi, abakwatiddwa okuva 2017 lwe yatandika okutuuka kati ku misango gy’obubbi.

Mulimu abaali bavunaanyizibwa ku kukuuma bizibiti n’okulwanyisa okukusa ebiragalalalagala ku kisaawe ky’ennyonyi e Ntebe ababba kkiro z’enjaga ezisoba mu 80.

Poliisi yabakwata ne basimbibwa mu kkooti e Ntebe wabula ne bayimbulwa ku kakalu ka kkooti.

Abalala kuliko; abaserikale ba poliisi y’e Katwe be balumiriza okubba ssente ezisoba mu kawumbi ku bannansi ba South Korea abaali bazze mu Uganda okusuubula zaabu.

ABANTU ABAAYINGIZIBWA MU POLIISI MU BUMENYI BW’AMATEEKA

Poliisi erimu abantu abataafuna kutendekebwa kwonna ng’abamu balina n’amayinja. Mu bano, mulimu Nixon Agasirwe Karuhanga ali ku ddaala lya SSP, mu kiseera kino ali mu kaduukulu k’amagye e Makindye, eyabadde dayirekita wa ICT mu poliisi Amos Ngabirano abadde ku ddaala lya AIGP.

Abantu nga bano bangi mu poliisi abaayita ku lubalaza okuyingira poliisi. Bano, Kayihura ye yabayingiza oluvannyuma lw’okumusanyusa, abamu baali babbi abamanyiddwa ne beefuula abeenenyezza ne bafuna omukisa okuyingira poliisi bagiyambeko mu kulwanyisa obumenyi bw’amateeka.

EMPISA MU POLIISI

Emisango mingi egy’abaserikale abasiiwuuse empisa egiri mu kkooti ya poliisi ekwasisa empisa egimu giwulirwa, emirala gyaggwa ate emirala gyayimirira.

Mu giri mu kkooti, mulimu ogwa Mohammad Kirumira eyali DPC w’e Buyende, ASP Steven Mugarura n’abalala.

Mu 2016, eyali omuduumizi wa PSU, Fortunate Habyara, yasinziira mu lukiiko lwa bannamawulire ku kitebe kya poliisi e Ntebe n’ategeeza nti, abaserikale 100 baali banoonyerezebwako ku misango omuli okuyamba abamenyi b’amateeka, obubbi, n’agamba nti abamu baali mu buduukulu ate abalala baali badduka.

Abamu baazika emmundu mu babbi ate abalala bennyini be bazikozesa okubba ate abalala bakola ebintu ebitasaanidde mu yunifoomu ya poliisi omuli’ n’okuvuga bodaboda. Bino, Karugaba yabiteeka mu bbaluwa ye ng’annyonnyola Kayihura.

Yamutegeeza nti, poliisi yalina ne yunifoomu nnyingi ezitasaanidde nga n’abantu abamu babuzaabuzibwa bwe balaba yunifoomu ez’enjawulo poliisi z’eyambala nga balowooza Uganda etuuzizza lukiiko lwa poliisi y’amawanga ag’emiriraano.

EKITONGOLE KYA TULAFIKI

Ekitongole ekivunaanyizbwa ku bidduka, Karugaba agamba nti kyafuuka kikozi kya ssente ezitamanyiddwa gye ziraga.

Agamba nti, abaserikale bakwata emmotoka ne bodaboda ne bajjuza empya za poliisi nga balinda bannyinizo bazikime babaggyeko enguzi.

Karugaba agamba nti, ebbanga ly’amaze ng’atambula mu mawanga ag’omuliraano, abaserikale ba Uganda be bakyasinze okuba abakambwe n’agamba nti olumu yalaba owa tulafiki ng’asamba emmotoka y’omuntu.

ABABANJA POLIISI

Kayihura poliisi agirese etubidde mu mabanja amazibu, abantu ababadde bawa poliisi emmere baavuddeyo wiiki ewedde ne bategeeza nti babanja ssenter ezisoba mu buwumbi 30 ez’emmere gye babadde bawa poliisi.

Ku ssaawa eno, poliisi emmere erina ntono era Kayihura bwe yabadde e Kigo mu lukiiko lwa poliisi yategeeza nti balina amabanja agasoba mu buwumbi 100.

Ebbanja lyalese, Ochola ne Sabiti balina okulisasula kuba si lya Kayihura lya poliisi. Laba ne P7

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengalogo 220x290

Ssenga nsobola okuloga omulenzi...

Mpulira bagamba osobola okuloga omusajja n’akwagala. Ggwe olina ku ddagala ssenga.

Ssengalogo 220x290

Mukazi wange alabika yayenda n’azaala...

Nnina abakyala babiri, mukyala muto ali mu kyalo naye kati omukyala oyo alabika ayenda era yazaala omwana mulenzi....

Ssengalogo 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Nneegatta oluvannyuma ne ngenda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto naye kati mmaze emyezi...

Baabano babbulooka b’e Mulago abateeka...

BAKAYUNGIRIZI abaali bamanyiddwa ennyo mu kutunda ettaka kyewuunyisa nti kati baatuuka dda ne mu malwaliro!

Minisita 220x290

Kkamera ziyambye okulaga abatemu...

KKAMERA za poliisi ez’oku nguudo n’ezobwannannyini, y’emu ku nteekateeka za Pulezidenti Museveni ekkumi ze yateekawo...