TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ochola olubadde okutuula mu ntebe n'akyusa basajja ba Kayihura: Ababadde ku katebe babawadde ebifo ebisava

Ochola olubadde okutuula mu ntebe n'akyusa basajja ba Kayihura: Ababadde ku katebe babawadde ebifo ebisava

By Eria Luyimbazi

Added 7th March 2018

OMUDUUMIZI wa poliisi omupya Martin Okoth Ochola olutudde mu ntebe n’akolerawo enkyukakyuka mu bamu ku basajja Gen. Kale Kayihura be yali yateeka mu bifo n’abaako ne baggya ku katebe n’abatuma emirimu.

Ochola 703x422

Gen. Kayihura ng’aliko by’alaga Okoth Ochola eyamuddidde mu bigere bwe baali ku kitebe kya poliisi e Naggulu mu 2017.

Mu nkyukakyuka ze yakoze ezaateereddwaako omukono gwa Haji. Moses Balimwoyo dayirekita w’ekitongole ekivunaanyizibwa ku mbeera z’abaserikale mu poliisi, Ochola yakyusizza abaserikale 88 abali wakati w’eddaala lya Senior Superintendent of Police (SSP) ne Assistant Superintendent of Police (ASP).

Mu baserikale abaakyusiddwa, mulimu abamu ku basajja ba Kayihura emmundu emmenye b’abadde yeesiga mu mirimu egitali gimu. Ochola abakutte n’abakasuka mu bitundu eby’enjawulo.

Abamu babadde bamaze emyaka egisoba mu etaano ku poliisi ze babadde bakolerako.

Mu baserikale abaakyusiddwa mulimu; SP Bernard Mugerwa gwe yasindise okuduumira poliisi y’e Butalejja.

Ono abadde DPC w’e Kabalagala okuva mu 2013 yamusikizza Edrisa Kyeyune. Mugerwa ye yaddira Francis Chemusto mu bigere oluvannyuma lwa Kayihura okulagira Chemusto akwatibwe ku misango gy’omuserikale w’ekitongole ekikuumi eky’obwannannyini okukuba mukama we essasi.

Okuva olwo, Mugerwa y’abadde omuduumizi wa poliisi y’e Kabalagala era nga Kayihura abadde amwesiga mu bintu bingi. Abaduumizi ba poliisi endala okuli CPS, Katwe, Old Kampala, Kawempe, Jinja Road, Kira Road n’endala bazze bakyusibwa wabula nga Mugerwa amurekawo.

Ensonda mu poliisi zaategeezezza nti, Mugerwa abadde takyusibwa si lwa kuba muserikale akola obulungi wabula olw’obugonvu n’obuwulize eri mukama we.

Omulala eyakyusiddwa, ye SP Godfrey Kahebwa, Kahebwa ye yali omuduumizi wa poliisi ya Kampala South mu kalulu ka 2016.

Yakwatibwa n’aggulwako emisango gy’okuduumira abaakuba abawagizi ba Dr. Kizza Besigye emiggo mu kkooti ewozesa abaserikale ba poliisi abasiiwuuse empisa.

Basooka ne bamukuba akatebe wabula oluvannyuma n’asindikibwa mu kutendekebwa e Bwebajja. Ono kkooti yali ewabudde nti asalibweko amayinja adde ku ddaala lya ASP okuva ku SP wabula tekyakolebwa.

Mu Kampala, yali mu kifo kya muduumizi wa poliisi ya Kampala South etwala Katwe ne CPS wabula Ochola yamusindise mu kifo kya muduumizi wa poliisi y’e Soroti.

Ye eyali omwogezi wa poliisi ya Kampala n’emiriraano, Patrick Onyango, amuzzizza mu kifo kino oluvannyuma lw’omwaka mulamba ng’ali ku katebe.

Geoffrey Ssebuyungo eyali yasindikibwa mu kitongole kya KCCA okumyuka akulira ebikwekweto, oluvudde mu kutendekebwa naye asindikiddwa okuduumira poliisi y’e Bugiri.

Abalala mulimu; George Mpungu amusindise akulire okunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu Busoga East, Godfrey Ninsiima asindikiddwa kuduumira poliisi y’e Lamwo, Hashim Kasinga amusindise Butambala, Philimon Ameru Kayihura gwe yali yagoba e Bukomansimbi olw’ebijambiya aleeteddwa mu Kampala okukulira poliisi ya Old Kampala, Grace Nyangoma abadde aduumira poliisi ya Old Kampala atwaliddwa Pader ate Shifah Kiribwa abadde akola nga omuduumizi wa poliisi ya Kira Divizoni, akakasiddwa ku kifo kino.

Richard Mwijukye abadde akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku poliisi y’e Kajjansi, asindikiddwa mu kitongole kya poliisi ekinoonyereza ku baserikale abasiiwuuse empisa n’amusikiza Uthman Magezi.

John Mwaule abadde ku misomo asindikiddwa Rukiga, Hilary Mukiza abadde e Kajjansi amusindise Sheema. Enkyukakyuka zino, zitwaliddemu n’abaserikale ba poliisi y’ebidduka.

Dickens Tweheyo, atwaliddwa Kamuli, Edwin Ayebare atwaliddwa Ntoroko, Yolamu Tumwebaze atwaliddwa Kyegegwa, Norman Muhanguzi atwaliddwa Hima, Evas Ninsiima atwaliddwa Lwengo n’abalala.

Balimwoyo mu kiwandiiko kye yaweerezza abaduumizi ba poliisi z’ebitundu abaserikale gye basindikiddwa ne gye bavudde yategeezezza nti, enkyukakyuka zino za mbagirawo abaserikale abakyusiddwa balina okugenda mu bitundu gye basindikiddwa mu bwangu ddala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kiwa1 220x290

Mukyala w’omugagga Kiwanuka omukulu...

EBYA famire ya Mohan Kiwanuka byongedde okulanda mukyala mukulu bwavuddeyo n’ata akaka ku muggya we gwalumiriza...

Kenzomuzaata 220x290

Fr. Lokodo ayise Muzaata ku by’okujolonga...

MINISITA avunaanyizibwa ku empisa, Faaza Simon Lokodo, ayingidde mu by’omuyimbi Eddy Kenzo ne Sheikh Nuhu Muzaata...

Muza1 220x290

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka...

Abawagizi ba Kenzo balumbye amaka ga Sheikh Muzaata ne bakola efujjo nga bee

Mwana1 220x290

Abafumbo bakwatiddwa lwa kutulugunya...

Poliisi ekutte abafumbo n'ebaggalira lwa kutulugunya mwana.

Mutungo2jpgrgb 220x290

Agambibwa okukuba omuserikale akwatiddwa...

Timothy Lubega 27, ow'e Mutungo akwatiddwa poliisi y’e Mutungo ng'eyambibwako aba LC1 mu kitundu kino. Lubega okukwatibwa...