TOP

Eyali amyuka Kayihura alaze ekisudde mukamaawe

By Musasi wa Bukedde

Added 7th March 2018

EYALI omumyuka wa Gen. Kayihura, Mw. Julius Odwe ayogedde ekisudde eyali mukamaawe n’agamba nti kulwa nnyo mu ofiisi.

Paul1 703x422

Gen Kayihura ng’atambula n’abantu okuli; Abdallah Kitatta (ku ddyo), Gear Box (ku kkono) omugenzi Afande Kaweesi (emabega) bwe yali ava e mbuya okumwambaza ennyota z’okumukuza okutuuka ku ddaala lya Genero.

Odwe yajjukizza nti lipoota y’omulamuzi Ssebutinde ku poliisi, yawa amagezi omuduumizi wa poliisi mu Uganda amalenga ekiseera kya bisanja bibiri mu ofiisi awummule.

Yeewuunya nti pulezidenti Museveni alinga eyalinda poliisi emale okuvunda eggwewo alyoke asitukiremu okuggyawo Kayihura.

Agamba nti okuzza poliisi engulu kyetaaga emyaka nga 10 esobole okuddamu okufuna ekifaananyi kyayo ekituufu.

Siyinza kuwa magezi ku kirina kukolebwa mu kiseera kino kubanga baalonze dda abantu abalina okudda mu bifo ebyo, kye tulina okukola kwe kubawaayo emyezi mukaaga basengeke bye balina okukola olwo tulyoke tumanye ekkubo lye bakutte oba ttuufu oba kyamu.

Abantu abamu mu poliisi basaana kuddamu kutendekebwa, oyinza okusanga nga wazzeewo okumerukamu obubinja ne bukola ebitatuukana na mirimu gya poliisi.

Abaduumizi ba poliisi abaasooka, bajja babalonda nga baweererezza mu kitongole okumala ekiseera ekiwanvu era nkoze nabo ekiseera kye mmaze nga mpeereza.

Okuggyako Gen. Edward Katumba Wamala ne Gen. Kale Kayihura be bagg ya mu magye okujja okuduumira poliisi.

Katumba Wamala yali amanyi bulungi eby’obukulembeze n’enkwata y’abaserikale ng’ebirala kisoboka okumwanguyira okubitegeera.

Kayihura yajja mu poliisi nga nze mumyuka we era emirundi mingi twawabulagananga ne tutambuza emirimu. namuyambako nnyo okumanya entambuza y’emirimu mu poliisi.

Bwe naw ummula era ku bintu bingi yajjanga anneebuuzaako ne muwabula nga mu kuteekateeka ebijaguzo bya poliisi, okukola ebikwekweto n’entambuza y’emirimu ey’enjawulo ebimu tetuyinza kubyogera mu mawulire.

Ekiseera kyatuuka nga takyebuuzaako, bw’otunula ku byaliwo mu kittabantu e Nansana n’e Ntebe awo yasirika era gye yawunzikira mwalabayo.

Abaduumizi ba poliisi abamusooka ekibi tebaafuna mukisa kukola bbanga ddene, oyinza okusanga nga tosobola kubageraageranya ne Kayihura.

Abamu baakola emyaka ebiri ne baggyibwawo. Poliisi yeetaaga okukwasibwa omuntu alina obumanyiriv u mu ntambuza y’emirimu gyayo.

Bw’ebeera nga tekola bulungi mirimu g yayo ffenna tunenyezebwa kubanga tulina okukolera awamu nayo.

Nze sirina nsobi gye ndaba Tumukunde gye yakoze, ebintu abadde abikola bulungi era mmumanyi bulungi musajja mukozi twakola naye okumala ekiseera.

ABAKUGU MU BY’OKWERINDA KYE BAGAMBA:

Charles Rwomushana:

Ebikolebwa munda mu kitongole ky’ebyokwerinda byoleka kiki omulabe ali wabweru by’akola.

Ekizibu ky’omulabe wa Uganda, yazimbira munda mu bitongole by’ebyokwerinda nga pulezidenti bwe yayogera ku lumbe lwa Kaweesi.

Okoth Ochola abadde mumyuka wa Kayihura, bw’abeera nga musajja mukozi lwaki abadde takola nga mumyuka.

Nze siraba pulezidenti ky’akyusizza kubanga ono abaddewo ng’asirise ng’emitawaana gigenda mu maaso.

Omumyuka wa Ochola, Sabiiti Muzeeyi yasoma bya kukuuma pulezidenti n’okulwanyisa omulabe mu lutalo.

Tamanyi bya nsengeka ya poliisi nti DPC oba OC CID! Emiranga gigenda kweyongera mwenyweze kubanga ebikolebwa biva munda, gwe baleese ng’omumyuka y’abadde aduumira miritale poliisi, kiki ekibadde kimugaana okukwata abakola ebikyamu.

Atemula abantu alabika yazimba munda, tekisoboka kubeera nti abantu babadde bafa kubanga Kayihura ayomba ne Tumukunde.

Fred Egesa:

Okukola enky ukakyuka zino kitegeeza nti kati omukulembeze w’eggwanga ategedde nti bano babadde bamulemesa.

Omukulembeze abeera ku bulamu bw’abantu kyokka bano babadde mu kulwanagana n’okusiba abantu, webaviira mu kkomera nga bakyaye gavumenti.

Abasajja bano batendeke bulungi era ne ssente babadde bazibawa okukola emirimu naye abaserikale bali mu mbeera mbi.

Buli omuserikale lw’abeera mu mbeera embi ng’ate alina emmundu kimuviirako okusala amagezi n’atandika okweyiyiiza amakubo mw’aggya ebyetaago.

Ebyokwerinda bisaana biveemu katemba, tosobola kugoba muserikale n’omwambulira mu lujjudde, okumuwewula mu bantu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab12 220x290

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e...

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e Mityna kuzzeemu kigoye wezinge

Gwe1 220x290

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo...

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Nkumba2jpgweb 220x290

Abadde ayingira mu ofiisi z'ebizimba...

Allan Nkumba omutuuze w'e Kabowa mu Sserwadda zooni ye yakwatiddwa poliisi ya CPS ku Lwokusatu oluvannyuma lw’okugenda...

Sjpgweb 220x290

Eyanfunira omulimu mufiirako

Nze Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi...

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe