TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Bannayuganda mu Bungereza batongozza omulimu gw’okugula ekizimbe mwe banaasomeranga Mmisa

Bannayuganda mu Bungereza batongozza omulimu gw’okugula ekizimbe mwe banaasomeranga Mmisa

By Musasi wa Bukedde

Added 7th March 2018

BANNAYUGANDA abeegattira mu kibiina kya Uganda Croydon Catholic Community ekisangibwa e Croydon mu London, beekozeemu omulimu okugula ekizimbe mwe bannaddukanyiza emirimu n’okusomeranga Mmisa.

Manyi 703x422

Dr. Kibuuka (ku kkono), Bp. Ssemwogerere, Bp. Hendricks ne Mpiima ku mukolo.

Ssentebe w’ekibiina kino, Robert Mpiima Mugambe yayanjudde enteekateeka z’ekibiina omuli okugula ekizimbe ekyabwe mu kibuga London mwe banaakuhhaaniranga nga Abakristu ababeera e London.

Bino byategeezeddwa Bannayuganda abeetabye mu kujaguza olunaku lwa Kigungu olukuzibwa buli mwezi ogwokubiri buli mwaka okujjukirirako Abaminsaani abaakulemberwamu Mapeera ne Amans ne bajja mu Uganda okuleeta eddiini Enkatoliliki mu 1879 nga baatuukira ku mwalo e Kigungu (Entebe).

Omukolo gwatandise n’ekitambiro kya Mmisa era omugenyi omukulu ate nga ye yayimbye Mmisa yabadde, Omusumba Paul Ssemwogerere ow’Essaza ly’e Kasana- Luweero ng’ayambibwako omusumba w’ekitundu ekyo e Bungereza, Paul Hendricks.

Mu kubuulira kwe, Omusumba Ssemwogerere yeebazizza Bannayuganda bano okwegattira awamu okuggumiza eddiini n’abeebaza n’okumuyita wamu n’okubeera n’ekirowoozo eky’okufuna ekifo eky’enkalakkalira we banaasinziira okukola emirimu egitumbula Eklezia.

Omukolo era gwetabiddwaako n’omubaka wa Uganda omupya e Bungereza, Julius Peter Moto.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...