TOP

Giigino misango gy'ettemu egiremye Kayihura

By Musasi wa Bukedde

Added 10th March 2018

EMISANGO egy’okutta abantu egiroopeddwa ku poliisi mu myaka ena gisoba mu 4,500 kyokka eginoonyerezeddwaako abatemu ne batwalibwa mu kkooti tegisukkaa 70.

Yona 703x422

Gen. Kale Kayihura, eyagobeddwa ku buduumizi bwa Poliisi mu ggwanga

Okukitegeera obulungi, ku buli bantu 100 abattiddwa mu myaka ena, emisango ebiri gyokka, poliisi gy’esobodde okunoonyerezaako ne gigguka abatemu ne bavunaanibwa mu kkooti.

Emisango egisigadde gyonna 98 ku 100 gifiiridde mu ngalo za poliisi. Eno y’emu ku likodi embi, Gen. Kale Kayihura gy’alese mu poliisi mu myaka 13 gy’abadde ku ntikko ya poliisi nga IGP era agenze okuggyibwa mu kifo ekyo ng’abahhanda z’abantu abatemuddwa bamukiikidde ensingo olw’omusaayi gw’abantu baabwe abatalina musango ogwayiibwa abatemu ne batakwatibwa.

Omukungu wa poliisi Felix Ndyomugyenyi amyuka akulira embeera z’abakozi mu poiisi yategeezezza gye buvuddeko nti, wakyaliwo obunafu ku ludda lwa poliisi okunoonyereza, okukwata n’okutwala mu kkooti abatemu abatta abantu.

Lipoota za poliisi ku buzzi bw'emisango ez'omwaka (2012, 2013, 2014 ne 2015), Ndyomugyenyi ze yasinziirako okwogera bino n’alaga nti, mu 2012, abantu 1,011 be battibwa emisango ne giroopebwa ku poliisi kyokka emisango 17 gyokka gye gyanoonyeyerezebwako abatemu ne batwalibwa mu kkooti.

Mu 2013, Ndyomugenyi agamba nti, ku bantu 1,034 abattibwa, emisango 19 gyokka gye gyanoonyerezebwako n abagambibwa okutta abantu ne basimbibwa mu kkooti.

Yagasseeko nti mu 2014, abantu abattibwa baali 943 kyokka poliisi yanooneyereza ku misango 19 gyokka abatemu ne basimbibwa mu kkooti ate mu 2015 emisango 15 gyokka egy’obutemu gye gyanoonyerezebwako ku bantu 1,068 abattibwa emisango ne giroopebwa ku poliisi.

Ndyomugyenyi yategeezza nti obunafu we businze okuva ye poliisi obutabeera na bakugu abatendeke obulungi mu kunoonyereza ku buzzi bw’emisango era okusomooza kuno Kayihura w’aviiridde ku bwa IGP nga kye kimu ku bimubobbya omutwe.

EMISANGO EMINENE EGIMUREMYE

Ettemu ly’abakyala mu Wakiso: Abakazi 23 be battibwa e Ntebe ne Nansana mu Wakiso mu myezi esatu gyokka wakati wa July ne September 2017 ensisi n’ebuutikira abantu ab’omu bitundu ebyo okutuusa Pulezidenti lwe yeesitula nga September 26 2017 n’atuuka mu bifo eby'enjawulo abakazi gye baali battiddwa n’awera okufaafaagana n’abatemu era ettemu teryaddamu.

Mu kiseera ekyo abantu 44 be baakwatibwa nga bagambibwa okwenyigira mu ttemu eryo, wabula 22 be baatwalibwa mu kkooti ne bavunaanibwa kyokka Kayihura atuuse kuva ku bwa IGP nga tewali muntu yenna kkooti gw'esingisizza musango olw’obujulizi bwa polisii okubeera obunafu ekiitegeeza nti bannannyini bantu 23 abattibwa bayinza obutafuna bwenkanya mu misango gino.

Ani yatta Kaweesi?

Ku Lwomukaaga oluddirira luno nga March 17, lwe guwera omwaka bukya AIGP Felix Kaweesi atemulwa mu ntiisa n’omukuumi we Kenneth Erau ne ddereeva we Godfrey Mambewa e Kulambiro.

Wadde abantu abasoba mu 40 omwali n’abaana abato 12 ng’asembayo obuto wa myaka ebiri baakwatibwa ne balagibwa bannamawulire ng’abantu abateeberezebwa okutta Kaweesi omwaka gugenda kuwera nga tewali kya ssimba kyatuukiddwaako mu kunoonyereza n’okuvunaana abatta Kaweesi.

Wabula ekibaddewo kwe kugugulana wakati w’ebitongole ebikuumaddembe naddala poliisi, ISO ne CMi kw’ani avunaanyizibwa ku kunoonyereza mu musango gwa Kaweesi era Kayihura atuuse kuvaako Bannayuganda bakyabuuza ani yatta Kaweesi?

Bamaseeka abattibwa:

Bamaseeka 12 be battiddwa wakati wa 2012 ne 2016 okuli; Sheikh Abdul Karim Ssentamu eyatemulwa nga April 20, 2012 ku Muzikiti ogw'oku William Street, Haji Abubakari Abbas Kiweewa (Kigejogejo eyatemulwa nga June 22, 2012 e Kisaasi, Sheikh Yunus Abubakari Mudungu.

Yali Imam w'Omuzikiti gw'Abatabbuliiki ogwa Masjid Umar e Bugiri eyatemulwa nga November 1, 2012, Sheikh Muhammad Maganda eyatemulwa mu August 2012.

Abalala kuliko; Sheikh Abdu Jowali Sentunga (September 2012), Sheikh Dactoor Abdu Kadir Muwaya (December 2014), Sheikh Mustafa Bahiga (December 27, 2014), Sheikh Muhammad Mawazi Ssebuggwaawo (January 6, 2015), Sheikh Abdul Rashid Wafula (May 21, 2015), Sheikh Ibrahin Hassan Kirya (20 June, 2015) n’abalala.

Abantu 32 be baasooka okukwatibwa poliisi ne bavunaanibwa okutta Bamaseeka kyokka 17 ne baggyibwako emisango nga kati mu kiseera kino 14 okuli n’akulira Abatabbuliiki Sheikh Mohammad Kamoga be bawerennemba n’emisango kyokka obujulizi obwakaleetebwa mu kkooti tebuwa ssuubi nti emisango ginaabakka mu vvi.

Okutemulwa kw’omugagga ow’omu Kikuubo Wilberforce Noah Wamala: Emyaka giweze mukaaga bukya omugagga w’omu Kikuubo, Wilberforce Noah Wamala attibwa n’omukozi we Shadiq Mugerwa mu ntiisa nga February 3, 2012 Omusango guno gwavulugibwa okuviira ddala ku ntandikwa nti n’abamu ku bantu abagambibwa okwenygira mu ttemu eryo okuli omusiizi wa langi Hassim Ssali yakwatibwa oluvannyuma lw’omwaka mulambo kyokka bwe yatuusibwa ku poliisi e Bukasa n’atemulwa mu September 2013.

N’okutuusa leero fayiro y’omusango ogwo temanyiddwaako mayitire era abatta Wamala balya butaala.

Ani yayokya abaana b’e Buddo: Kayihura atuuse kuva ku bwa IGP nga Bannayuganda tebafunanga lipoota entongole eya poliisi ku byava mu kunoonyereza ku muliro ogwa April 14, 2008 ogwakwata essomero lya Buddo Junior School ne guleka nga gusse abaana 19.

Okunoonyereza okwakolebwa mu disitulikiti y’e Wakiso kwazuula nti, omuliro ogwayokya abaana ab’e Buddo gwakoleezebwa mu bugenderevu abantu abaalina ebigendererwa byabwe kyokka n’okutuusa kati tewali muntu yenna yatwalibwa mu kkooti kuvunaanibwa ku ttemu lino.

Omusango gwa Kanyamunyu:

Omusango ogw’okutemulwa kw’omusajja Kenneth Aken eyakubwa amasasi e Lugogo mu November 2016 gukyagenda mu maaso mu kkooti nga guvunaanibwa abantu basatu; Mathew Kanyamunyu, Joseph Kanyamunyu ne muganzi wa Mathew Cynthia Munwangari.

Mu kiseera kino abawawaabirwa bonsatule bali bweru wa kkomera oluvannyuma lw’okukkirizibwa okweyimirirwa wabula engeri ey’akasoobo omusango gye gutambula, waliwo okutya nti aba famire ya Aken bayinza obutafuna kulamulwa mu bwenkanya.

Eby’e Kasese: Abantu abasoba mu 100 battibwa e Kasese mu December 2017 ng’amagye ga UPDF ne poliisi balumbye olubiri lw’Omusinga wa Rwenzururu Charles Mumbere okukwata abakuumi be abaali beekukumyeyo oluvannyuma lw’okukola obulumbaganyi ku nkambi z’amagye ne poliisi.

N’okutuusa kati poliisi tevangayo kunnyonnyola mu bujjuvu kiki ekyaliwo wadde waliwo abantu abaatwalibwa mu kkooti okuli n’omukuelembeze ow’ennono, naye abantu b’omu kitundu ekyo balumiriza nti waliwo ebitavaayo bulungi ebyetaaga okunoonyerezebwako poliisi.

Abatemu abeebijambiya:

Abantu babiri abaali baakwatibwa poliisi ku bigambibwa nti, baali mu kibinja ky’abatemu abeebijambiya abaatigomya Bannyuganda e Masaka, Sembabule, Mpigi n’awalala mu 2017 abaatolose.

Musa Galiwango ne Muhammad Kiddawalime baatolokedde ku kkooti e Masaka wiiki ewedde nga kati essuubi ery’okuvunaana abeenyigira mu ttemu ery’abeebijambiya kyenkana liweddewo era abantu abattirwa abantu baabwe boolekedde obutafuna kulamulwa kutuufu.

Enfa y’Abazungu etankanibwa: Abazungu mukaaga abaafiiridde mu Uganda mu mwezi gwa Februay 2018 ne baleetawo akasattiro mu bitongole ebyokwerinda olw’engeri etankanibwa gye baafuddemu.

Abafudde ye; Has Jurgen Vallant 62, Eric Yvomr 54, Nordlarder Axel Andreas 41, Trasvuori Tuomas Juha Petteri 42, Montie Guy Waston 61 ne Rita Charlotte 76 nga baafiiridde mu wooteeri ez’enjawulo wakati wa February 5 ne 15, 2018.

Abeebyokwerinda bakyasobeddwa ekivuddeko Abazungu abo okufa era waliwo okugugulana mu bitongole ebyokwerinda naddala ekya ISO ne poliisi ku nfa y’Abazungu abo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Davidssekandingalagaengeriamatookegegyegayonooneddwaenkubawebuse 220x290

Ab'e Mukono beeraliikiridde enjala...

Abatuuze b'e Nassaka mu Mukono beeraliikiridde olw'enkuba eboonoonedde ebirime

Whatsappimage20191021at1439041 220x290

Zani Lady C awera kudda mu nsiike...

Zani Lady C omuyimbi ate nga muzannyi wa ffirimu akomyewo n'akayimba okuddamu okuvugannya mu nsiike y'okuyimba....

Kkobewebuse 220x290

Mwewale okufiira ku mirimu gy’okukozesebwa...

Abamalirizza emisomo bakubiriziddwa obuteesiba ku mirimu gya misaala emigereke bwe baba baagala okwewala ekkomera...

Joseph8webuse 220x290

Bwe mukoledde ebibuuzo mu kizimbe...

Fr. Joseph Ssebayigga asabidde abayizi ba St. Joseph Girls Primary School e Nsambya aba P7 ng'aggulawo ekizimbe...

Vipers 220x290

Vipers yeeweredde BUL

Mu nsisinkana etaano ezisembyeyo,Vipers ewanguddemu emipiira ena (4) so nga BUL gumu.