TOP
  • Home
  • Buganda
  • Okuyooyoota Twekobe kwa kuwemmenta obuwumbi 3

Okuyooyoota Twekobe kwa kuwemmenta obuwumbi 3

By Dickson Kulumba

Added 11th March 2018

OBUWUMBI busatu bwe bugenda okukozesebwa okuteeka buli kalonda ow’omulembe mu Twekobe, ng’eno y’enju enkulu mu Lubiri e Mmengo.

Twekobe 703x422

Twekobe

Embalirira eno yakoleddwa olukiiko olwateekebwawo Obwakabaka okukola omulimu guno. Olukiiko luno oluyitibwa ‘TWEKOBE EJJUDDE’ lukulemberwa, Godfrey Kirumira.

Oluvannyuma lw’ensisinkano ya bammemba eyasoose mu Lubiri e Mmengo ku Lwokuna, Kirumira yategeezezza nti, oluvannyuma lw’embalirira okuggwa, abantu ba Kabaka bangi abaavuddeyo edda okwetema buli omu okuwaayo omutemwa wakati mu kwagala.

“Emirimu twagitandise dda nga n’embalirira yawedde ng’ebintu ebyetaagisa okuteeka Twekobe (Enju ya Kabaka) bya kumalawo ensimbi ezisoba mu buwumbi busatu n’omusobyo.

Ekirala ekirungi nti bannaffe abagenda okuleeta ssente zino beyamye dda nga ffe tulindiddwa okuzibaggyako.

Twebaza Ssabasajja Kabaka waffe olw’okusiima okutukwasa obuvunanyizibwa buno saako n’okusaba abantu bonna okutuwa obuwagizi w’ekinaabeera kyetaagisiriza,” Kirumira bwe yategeezezza.

Mu lukiiko lwabwe luno, olwatudde mu kisenge ekiteesezebwamu beewadde ekkatala ly’okumaliriza omulimu ku lwa June 30,2018 okuva ku nsalessale eyabaweebwa Katikkiro Charles Peter Mayiga bweyali atongoza olukiiko luno nga March 2,2018 ow’okumaliriza omulimu nga July 24, 2018.

Obuvunaanyizibwa bw’olukiiko luno kwe kulaba nga Twekobe eteekebwamu ebintu eby’omulembe okuli ebibajje, amafumbiro, ebiyigo, tekinologiya okuli kkamera ne yintaneeti, okuddamu okutereeza ebisenge n’ebirala.

Omulimu guno gulondoolwa buteerevu Nnaabagereka Slyvia Nagginda okulaba ng’omulimu gukolebwa ku mutindo.

Oluvannyuma lw’olukiiko, baalambudde Twekobe yenna nga bakulembeddwaamu omukugu mu by’okuwunda munda mu mayumba, Ivan Bwambaale okulaba omulimu oguboolekedde bwe gwenkana ssaako n’okuwa ku magezi okusinziira ku byakubiddwa mu dizayini.

Abalala ababadde mu lukiiko luno kwabaddeko; John Bagambe (omumyuka wa ssentebe), Robert Sewava (omuwandiisi), Minisita w’enkuluze Amb. William Matovu, eyaliko Pulezidenti wa FUFA Lawrence Mulindwa, John Kiyimba Freeman, Ssaalongo Wilson Mukiibi Muzzanganda n’abalala bangi abali ku lukiiko olunoonya ensimbi zino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Masese11 220x290

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde...

Abagoba b'amato e Ssese nabo batadde wansi ebikola

Mabikengaanyonyolaabakampuniyacceccabakolaoluguudolwabusegampigi 220x290

Kkampuni y'Abachina esenze ebirime...

ABAKOLA oluguudo lwa Busega – Mpigi basenze ebirime by'omutuuze n'alaajanira UNRA okumuliyirira.

China1 220x290

Abachina abaakwatiddwa babagguddeko...

POLIISI yakwongera emisango emirala ku Bachina abaatwaliddwa mu kkooti ku Lwokutaano ne basindikibwa e Luzira....

Kangaliyapoliisingaesazeekoekigokyempigiewabaddemmisa 220x290

Poliisi eggalidde Faaza lwa kujeemera...

POLIISI esazeeko Faaza Kiibi ng'akulembeddemu mmisa mu Klezia y'ekigo ky'e Mpigi n'emukwata n'atwalibwa ku poliisi...

Kab18 220x290

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo...

Kabaka ayimirizza abakozi b’e Mmengo