TOP
  • Home
  • Agawano
  • Ettaka ly’enkambi y’amagye lirakidde abanene

Ettaka ly’enkambi y’amagye lirakidde abanene

By Musasi wa Bukedde

Added 11th March 2018

EBY’OKUKUMPANYA ettaka ly’enkambi y’amagye byongedde okulanda, eyagoba ddiiru okufera Gavumenti ssente 3,800,000,000/- bwe yalonkomye abanene be yakolagana nabo.

Pata 703x422

Joram Mugume (ku kkono) akulira akakiiko k’ettaka mu magye.

Yakozesa kkampuni ya Buwule and Mayiga Advocates okubaga ebiwandiiko n’eyali minisita Daudi Migereko.

Joseph Mary Ssemwogerere akulira East Mengo Growers Cooperative Union Limited, yatuuyanidde mu kakiiko akabuuliriza ku mivuyo gy’ettaka nga bamutadde ku kisenge annyonnyole abaali mu lukwe lw’okufera Gavumenti.

Yasoose okujja mu kakiiko ku Lwokusatu, baamubuuzizza ebibuuzo ng’ategeeza nti yabadde abyerabidde.

Baamulagidde akomewo ku Lwokutaano, munnamateeka John Bosco Suuza bwe yamubuuzizza ebiwandiiko bye baamutuma ng’ayanjala ngalo, omulamuzi Catherine Bamugemereire n’alagira abaselikale batwale Ssemwogerere ku ofiisi ze e Nateete baleete ebiwandiiko byonna.

Ettaka erirakidde abakulu liriko mayiro 36 ku bulooka 997 poloti 2 ne 3 e Ngoma, Nakaseke mu Bulemeezi. Kuno kwe kutudde enkambi y’amagye ey’e Kaweweta.

Ettaka lyali lya East Mengo Growers Cooperative Union Limited wabula amagye ne galitwala mu lutalo.

Gavumenti bwe yatereera ne basaba okuliyirirwa, omusango baagutwala mu kkooti era abamu ku bannamateeka abaali mu musango mu myaka gya 1993 baali ba Buwule and Mayiga Advocates.

Oluvannyuma bakkaanya ne bafuluma kkooti ensonga ne bazimalira ebweru Gavumenti n’esasula obukadde 400.

Ssemwogerere olwakomyewo n’asaba akakiiko bamuggye mu lujjudde badde mu kisenge awatali baamawulire abategeeze bye yabadde asirikidde.

Akakiiko kaagenze mu maaso ensonga ne baziwulira mu lujjudde. Obuzibu obwali ku ttaka lino kwe kubeera nti Gavumenti yalisasula ate mu 2015 ne wabeerawo abagezigezi abaabuzaawo ekyapa ne bakolayo ekipya olwo ne basaba gavumenti eddemu okulisasula 3,800,000,000/- Ssemwogerere bwe baamutadde ku kisenge n’ategeeza nti yakakibwa okuyingira mu ddiiru kubanga batuula mu nkiiko eziwera nga yalimu n’abantu ab’enjawulo okwali Migereko era aba East Mengo baakikiirirwa Munnamateeka Francis Buwule.

Yabadde akyeremye okwogera ebirala ne bamulaga ebiteeso ebyava mu nkiiko ez’enjawulo ze yajja yeetabamu. Wano yategeezezza nti okufulumya ekyapa ekipya waliwo omukyala eyamukubira essimu n’amulagira okugenda mu minisitule y’ebyettaka anoneyo ekyapa wabula olwatuukayo n’amuwaliriza ateekeko omukono era adduke mangu akitwalire Buwule.

DDIIRU EYIIKA:

Abagezigezi bwe baakizudde mu 2014 nti ettaka lino Gavumenti yabadde terikyusanga kuliggya mu mannya ga East Mengo, kwe kufuna ekyapa eky’enjawulo “Special title” wabula kino Ssemwogerere yeegaanyi okukigobako n’ategeeza nti munnamateeka yamuyitanga kussaako mukono ku biwandiiko.

Akulira olukiiko lw’ebyettaka mu UPDF Lt. Gen. Joram Mugume, bwe yajja mu kakiiko n’ategeeza nti minisitule y’ebyokwerinda bwe yakitegeera nga baagala kuddamu kuguza Gavumenti ettaka lino n’enoonya ebiwandiiko.

Ekyabeewuunyisa nti abaaliwo mu kubasasula omulundi ogwasooka era beebamu be baali bakomyewo babasasule omulundi ogw’okubiri.

Suuza yaleese obujulizi obulaga nti pulezidenti Museveni yassaawo akakiiko akaali kakulemberwa ssentebe wa Uganda Land Commission (ULC), Baguma Isoke okunoonyereza ku nsonga z’ettaka lye Kaweweta n’ekyapa ng’ayagala basaleko ekitundu kikozesebwe mu by’obusuubuzi.

Mu kakiiko mwalimu minisitule y’ebyokwerinda, ey’ebyensimbi, aba East Mengo abaakiikirirwa Ssemwogerere ne looya Francis Buwule ne minisitule endala ng’ezimu ku mitingi ezaatuula, nga March 20, 2015, Ssemwogerere ne looya Buwule baategeeza akakiiko nti Gavumenti tebasasulanga ssente era tebalina kiwandiiko kyonna kikakasa nga bwe baali batunzizza Gavumenti ettaka lyabwe.

Kyokka ebiwandiiko akakiiko bye kaazudde biraga nti Ssemwogerere nga March 22, 2000 yawandiikira omuwandiisi ow’enkalakkalira mu minisitule y’ebyokwerinda ng’akakasa nti baabasasula obukadde 400 era yali awaayo kyapa.

Ebiwandiiko ebirala, nga July 22, 2015 Ssemwogerere yategeeza olukiiko nti tebasasulwanga.

Yagenze okulaba nga takyalina ky’akweka: “Ow’ekitiibwa amazima mnali mmanyi nti ettaka twaliguza Gavumenti naye nnali sisobola kwogera kubanga bakama bange baali bamaze okusalawo nti ensonga erina kuba bwetyo era mu nkiiko zonna nnali nsirise,” Ssemwogerere bwe yannyonnyodde.

Omulamuzi yamutegeezezza nti bagenda kumuwa olunaku obujulizi obulala babuwulire mu kyama kyokka yamulabudde nti alina okutegeeza akakiiko abaali bamukozesa abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA