TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Ddiiru ya Kayihura n'omujaasi ku bya Kaweesi yiino

Ddiiru ya Kayihura n'omujaasi ku bya Kaweesi yiino

By Musasi wa Bukedde

Added 12th March 2018

Munnamateeka Ladislaus Rwakafuuzi bwe yatuukiriddwa yategeezezza Bukedde nti omusango baaguggyayo mu kkooti ne batuula (Rwakafuzi), Musisi ne Kayihura era Kayihura n’asasula ssente, ensonga ne bazimalira ebweru wa kkooti n’omusango ne guggalwawo mu June 2017. Kyokka Rwakafuzi yagaanyi okwogera omuwendo gwa ssente Kayihura ze yasasula Musisi. Ensonda zaategeezezza nti Kayihura yasasula Musisi ne looya obukadde 200.

Kale2703422 703x422

Kayihura ne Kaweesi

OMUJAASI wa UPDF eyakwatibwa ku by’okutta Felix Kaweesi ayogedde ku ddiiru y’okumusasula ssente eyakolebwa wakati we, Gen Kale Kayihura ne munnamateeka w’omu Kampala.

Maj. Godfrey Musisi Galabuzi eyaliko mbega mu kitongole ekikettera munda mu ggwanga ekya ISO y’omu ku bantu abaasooka okukwatibwa nga Kaweesi yaakatemulwa nga March 17, 2017 n’aggalirwa e Nalufenya okumala wiiki bbiri.

Ku Lwomukaaga lwa wiiki eno lwe guwera omwaka mulamba bukya Kaweesi atemulwa n’omukuumi we Kenneth Erau ne ddereeva Geoffrey Mambewa okumpi n’amaka ge e Kulambiro.

Aba famire ya Kaweesi bategese okusaba okw’okumujjukira mu maka g’omugenzi e Kitwekyanjovu e Lwengo ku Lwomukaaga.

Maj. Galabuzi yakwatibwa nga March 23, 2017 ne mukyala we Grace Nankya n’abakozi be okwali Benarld Friday, Stuart Ainebyona ne George William Kimbugwe eyali omupangisa we ne baggalirwa e Nalufenya ku misango gy’okutta Kaweesi.

Wabula bwe yayimbulwa, Musisi yafuna munnamateeka Ladislaus Rwakafuzi n’awawaabira Kayihura olwa poliisi okumutulugunya nga bamukaka alumirize abadde minisita w’obutebenkevu Lt. Gen. Henry Tumukunde nti ye yamutuma (Musisi) okutta Kaweesi.

Musisi nga mutuuze w'e Namugongo - Bulooli yatwala Kayihura mu kkooti oluvannyuma lw’okuyimbulwa e Nalufenya ng’agamba nti bwe yatuuka e Nalufenya abaserikale nga bakolera ku biragiro bya Kayihura, Nixon Agasirwe n’abalala ne bamulutugunya.

Agamba nti baamulagira akkirize eby’okutta Kaweesi era alumirize Tumukunde nti, yamusasula obukadde 50 okutemula Kaweesi. Kyokka bwe yagaana ne bongera okumutulugunya.

Munnamateeka Ladislaus Rwakafuuzi bwe yatuukiriddwa yategeezezza Bukedde nti omusango baaguggyayo mu kkooti ne batuula (Rwakafuzi), Musisi ne Kayihura era Kayihura n’asasula ssente, ensonga ne bazimalira ebweru wa kkooti n’omusango ne guggalwawo mu June 2017.

Kyokka Rwakafuzi yagaanyi okwogera omuwendo gwa ssente Kayihura ze yasasula Musisi.

Ensonda zaategeezezza nti Kayihura yasasula Musisi ne looya obukadde 200.

“Kayihura yasasula Musisi ne fayiro y’omusango ne tugiggalawo. Kyokka tekiraga buvunaanyizibwa okwogera ssente ezaasasulwa", Rwakafuuzi bwe yagambye.

 alabuzi weyaleetebwa mu kooti e akawa ngaggyiddwa e alufeenya Galabuzi Lweyaleetebwa mu kooti e Nakawa ng'aggyiddwa e Nalufeenya.

 

Kyokka Musisi yategeezezza Bukedde nti kituufu baasisinkana era bakkaanya ne Kayihura okuggya omusango mu kkooti. Kyokka ensonga tezaggwa kubanga yasaba obukadde 800 ate ng’oludda lwa Kayihura lwagala kusasula 100 zokka.

N’agattako nti omusango gwe yawawaabira Kayihura gukyaliyo mu kkooti kubanga tasasulwanga.

Yagambye nti ebigambo bya ssente kata bibatabule bwe byasasaanyizibwa omu ku bannyina gw’ataayogedde mannya ng’agamba nti, “nnafuna ssente okuva ewa Kayihura.”

“Enteeseganya Rwakafuuzi z’ayogerako, twazigendamu era nasaba bannamateeka ba Kahiyura obukadde 800 bo nga baagala kunsasula 100 ne mbigaana” Musisi bwe yategeezezza.

N’agattako nti ayogeraganya ne balooya ba Kayihura basse mu buwandiike obukwakkulizo obulala okuli okusazaamu omusango omujingirire gwe banteekako ogw’okutta omuntu; obutaddayo kunteekako misango mijingirire.

N’agamba nti obukadde 800 abaliramu n’endala ezirina okumuliyirirwa bwe yakwatibwa ku musango omulala n’aggalirwa ku Jinja Road ne ku CPS ne bamutulugunya n’atuuka ku kye yayise okuzirika emirundi esatu.

KAYIHURA MMUFIIRAKO - MAJ. MUSISI

Musisi yategeezezza Bukedde nti ye omusango taguggalangawo era gugenda mu maaso kuba anoonya bwenkanya kw'ebyo Kayihura by’azze amuyisaamu ku misango egitaliiyo ne kye yayise okumuwaliriza alumirize Tumukunde nti yali amusasudde obukadde 50 okutta Kaweesi ekitaali kituufu.

Yannyonnyodde nti bwe yali e Nalufenya, Kayihura yasooka n’amusindikira ekibinja ky'abasajja be okuli Abbey Kitagenda, Siraje Minaana ne Miramira abagambibwa okutulugunya Meeya w’e Kamwenge Geoffrey Byamukama ne bamubuulira nga Kayihura bw’amulagidde alumirize Tumukunde nti yali amuwadde obukadde 50 atemule Kaweesi wabula n’agaana.

Yannyonnyodde nti Kayihura oluvannyuma yeesitula ye kennyini n’agenda e Nalufenya n'amusisinkana maaso ku maaso ng’ayagala alumirize Tumukunde nti yamuwa ssente okutta Kaweesi n'agaana.

“Ogwo gwe murundi ogwasembayo okusisinkana Kayihura maaso ku maaso”, bwe yagambye.

Ayongerako nti yatandika obuteesiga Rwakafuuzi bwe yamusendasenda akkirize ssente ye Musisi z’alaba nti zibulako, yasalawo okufuna looya omulala, George Muhangi okuva mu kkampuni ya bannamateeka aba Kafeero and Co. Advocates, mu kiseera kino ali mu musango guno.

Yagambye nti okuwoza okwasooka kwaliwo mu December 2017 ne January w’omwaka guno ku Tweed Towers mu maaso g’omulamuzi Margaret Oumo era nga yabawa olwa March 15, 2018 okutuula balabe oba bakkaanya, bwe balemwa omusango gugenda mu maaso.

Muka Musisi, Grace Nankya eyasangiddwa mu maka gaabwe e Namugongo yategeezezza nti, emisango gye baawawaabira Kayihura gikyaliwo era gigenda mu maaso. Era baggulawo n’omusango omulala mu kibiina ky’eddembe ly'obuntu nagwo gukyaliwo.

“Bwe baali batukwata okututwala e Nalufenya waliwo ebintu byaffe poliisi bye yatwala okuli ebyapa bisatu ne laptop ssatu”, Nankya bwe yagambye.

Ebirara ebyatwalibwa kuliko amasimu mwenda nga kuliko ezange nnya ze nnali nkozesa ku Mobile money.

Eza Musisi essimu ssatu n’ez'abaana. Baatwala ebiwandiiko engoye, engatto n’ebirala nga byatwalibwa Johnson Olal Dale eyakulembera okutukwata.

Bukedde teyasobodde kwogera ne Kayihura wadde balooya be ku nsonga eno.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Oo112 220x290

Gav't eyisizza ekiteeso ky'okukuza...

OLUKIIKO lwa baminisita luyisizza ekiteeso ky’okukuza ebibuga mwenda mu ggwanga okuva ku ddaala lya munisipaali...

Vanilla1 220x290

Gav't etadde amateeka amakakali...

GAVUMENTI ereese amateeka amapya ku kulima n’okutunda Vanilla agagenda okuyamba okukuuma omutindo gw’ekirime kino...

1280pxparliamentofuganda 220x290

Palamenti etadde gav't ku nninga...

AKAKIIKO ka palamenti akalondoola ebisuubizo bya gavumenti katadde gavumenti ku nninga olw’okulemererwa okutuukiriza...

Capture 220x290

Omukazi alina ettutumu ng’oli wa...

Nneetaaga mukyala ow’obuvunaanyizibwa, alina ettutumu, ow’ebbeeyi omusawo, omubaka wa palamenti, looya n'abalala....

Unity 220x290

Njagala eyeetegese okuwasa

Nneetaaga omwami okuva ku myaka 40 n’okweyongerayo, atya Katonda, alina empisa nga mwetegefu okukola obufumbo n'okwekebeza...