TOP
  • Home
  • Busoga
  • Namuganza asekeredde ababaka be Busoga abaamugobye

Namuganza asekeredde ababaka be Busoga abaamugobye

By Kizito Musoke

Added 12th March 2018

MINISITA omubeezi owe by’ettaka, Persis Namuganza asekeredde ababaka ba Palamenti abava e Busoga abaamugobye mu kabondo ka ‘Busoga Parliamentary Caucus’ n’agamba nti baayagadde kumanyika mu bantu nti bulijjo gye bali.

Namuganza 703x422

Minisita omubeezi ow'ebyettaka, Persis Namuganza

Yagambye nti kyewuunyisa okuba ng’ababaka  b'e Busoga olukiiko lwe basoose okutuuza baatudde kumugoba wadde nga balina ebizibu bingi ebinyiga ekitundu kyabwe.

“ Busoga kimanyiddwa ng’ekitundu ekijuddemu envunza ezisibuka e Kamuli, ffe kitundu ekisinga okubeeramu obwavu, kyokka bino baabibuusizza amaaso obudde ne babumalira ku nze,” Namuganza bwe yagambye.

Eby’okumugoba yabiyise katemba kuba ye tabeerangako mmemba wa kibiina kyabwe kuba yakizuula nga tebalina mulamwa kwe batambulira.

Yaweze nga bwe watali muntu ayinza kumutangira kugenda Busoga n’agamba nti abaamugobye baayagadde kumanyisa nsi nti bulijjo waliyo kye bayita Busoga Parliamentary Caucus.

Namuganza okuvaayo kiddiridde ababaka abava e Busoga okulangirira ku Lwokutaano nga bwe baamugobye era ne bamulabula obutageza kulinnya kigere Busoga okuggyako ng'akozesezza nnyonyi erina okumutuusa e Bukono gy'akiikirira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bug1 220x290

Paasita Bugembe naye endiga ze...

Paasita Bugembe naye endiga ze tazisuuliridde

Kag1 220x290

Ekizibu kya corona kisaza abantu...

Ekizibu kya corona kisaza abantu entotto

Kit1 220x290

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast...

Embeera ya Kenzo mu Ivory Coast ekanze abawagizi be

Acfc67552a0b422590ccdbe84492c45a 220x290

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda...

Minisita Ssempijja akubirizza Bannayuganda okulima

Kat18 220x290

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde...

Engeri Ssennyiga omukambwe gy’awadde abamu ‘essanyu’