TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bp. Ssekamaanya yennyamidde ku ttemu erikudde ejjembe mu ggwanga

Bp. Ssekamaanya yennyamidde ku ttemu erikudde ejjembe mu ggwanga

By Vivien Nakitende

Added 12th March 2018

Bp. eyawummula, Mathias Ssekamaanya avumiridde ebikolwa by'ettemu ebigenda mu maaso mu ggwanga naddala ebyokuwamba n'okutta abantu.

Ndeebaabakrsitubaatonyeembizzi 703x422

Agambye  nti abavubuka abamu ebikolwa bino babikoppa kumitimbagano gya yintanenti nga bikolebwa mu nsi endala, n'abasaba okwekenneenya bye basomako ssi kukoppa buli kimu.

Akubirizza abakristu okwezza obuggya mu buli mbeera zaabwe mu kiseera kino eky'ekisiibo balyoke baggyeyo amakulu gaakyo.

Abyogeredde ku kigo kya St. Joseph Centenary Parish mu Ndeeba gye yabadde omutambizi omukulu, bwebaabadde bakuza olunaku lw'ekifo kino, olw'omutuukirivu Yozefu nga beebaza ne  Katonda olwemyaka 34 bukyanga Kleziya eno etandikibwawo.

Ayongedde okukubiriza abafumbo okusaba nabaana baabwe baasobole okukula neddiini kubanga abaana Bakoppa nnyo ebyo byebalaba bazadde baabwe bakola.

Ku mukolo guno omusumba Ssekamanya yagasse emigogo gy'abagole ena okuva mu kigo kino n'abakuutira okukuuma ebiragaano byabwe kubanga obufumbo bwa Kleziya tebubaamu kwawukana.

Abakristu okuva mu bisomesa eby'enjawulo ebikola ekigo kino baatonye ebirabo eby'enjawulo omubadde; embizzi, kimeeme z'embuzi, amagi, amatooke, evviini, wayini, wostiiya, sukaali, omuceere, nebirala.

Omukolo gwetabiddwaako bannaddiini ab'enjawulo okuva mu bitundu eby'enjawulo, kitambiro kya missa kyakulembeddwa omusumba Ssekamaanya ng'ayambibwako Fr. Francis X-Vier Kikomeko bwanamukulu w'ekifo n'abaweereza abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20181214at173512 220x290

SC Villa etimpudde Express FC n'ennyogoza...

SC Villa etimpudde Express FC n'ennyogoza abawagizi baayo mu kisaawe e Namboole omupiira gye guyindidde!

Mosesmakoyaniowakibogakuddyongattunkaneambrosenaturindaowantinda 220x290

Kiboga ewaga mu Big League

TTIIMU ya Kiboga FC eyaakesogga Big League eremedde ku Proline FC okugisuuza entikko y’ekibinja kya Rwenzori ekitaddewo...

Hib1 220x290

Omulamuzi atabukidde abakakiiko...

Omulamuzi atabukidde abakakiiko k'ebyettaka e Lwengo

Reb2 220x290

Maneja w’ebbaala ya Casablanca...

Maneja w’ebbaala ya Casablanca asindikiddwa ku limanda

Deb1 220x290

Abakola ebimansulo e Kyetora balabuddwa...

Abakola ebimansulo e Kyetora balabuddwa