TOP

Iryn Namubiru ne Daxx Kartel bagudde mu bintu!

By Musasi wa Bukedde

Added 12th March 2018

ABAYIMBI Iryn Namubiru ne Daxx Kartel bagudde mu bintu!

Photogrid15197638898321080630 703x422

Namubiru ne Daxx Kartel

Bano bagenda South Africa kukuba baayo omuziki era nga w'osomera bino, baatandise dda okusiba engugu boolekere Sausi.

Pulomoota Twaha owa Icy Studios e South Africa y'atwala abayimbi bano okuyimba mu kivvulu ky'ategese ekiggulawo omwaka 2018 nga 24 omwezi guno ogwa March.

Ekivvulu kino eky'ekikungu kyakubeera mu bbaala ya Mabaleng mu kibuga Randburg.

Owoolugambo waffe bino olumugudde mu matu n'ayogerako Iryn Namubiru, n'amutegeeza nti abadde aludde okugendako e Sausi era n'asuubiza Bannayuganda okubalindirira kuba agenda kubakuba omuziki bamwasimule bugolo.

Ye Daxx Kartel, awoza kimu olunaku lutuuka ddi kuba gwe gugenda okuba omulundi gwe ogusooka okuyimbirako e South Africa.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Web 220x290

Nnaalongo akubye omwana wa muggya...

OMUKAZI atuze omwana wa muggya we n’amutta poliisi n’emutaasa ku batuuze nga baagala kumugajambula.

Kit2 220x290

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa...

Kitatta bamuggye e Makindye n'atwalibwa e Luzira

Hip2 220x290

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa...

Olunaku lw'okuyonja akamwa lukuziddwa e Kayunga

Gat2 220x290

Abagambibwa okutigomya Matugga...

Abagambibwa okutigomya Matugga Poliisi ebakutte

Gata 220x290

Atutte malaaya ku poliisi lwa kumumma...

OMUSAJJA atabuse ne malaaya gwe yaguze okwesanyusaamu n’amutwala ku poliisi oluvannyuma lw’okumulumiriza okumuwa...