TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Katikkiro w'empologoma avumiridde abavvoola eby'obuwangwa

Katikkiro w'empologoma avumiridde abavvoola eby'obuwangwa

By Musasi wa Bukedde

Added 13th March 2018

Katikkiro w'empologoma avumiridde abavvoola eby'obuwangwa

Hip2 703x422

Katikkiro w'ekika ky'Empologoma Kireega Patrick Kisekka ng'ayogera mu lukiiko lw'ekika

KATIKKIRO w’ekika ky’Empologoma Kireega Patrick Ddungu Kisekka, avumiridde abantu abefuula eb’eddiini ennyo, ebintu by’obuwangwa ne batuuka okubiyita ebya Sitaani.

Bino Kireega yabyogeredde ku mukolo gw’okumanyagana ogwategekeddwa ab’ekibiina kya Baganda Nkerettanyi abazimba embiri za Kabaka, nga gw'abadde mu maka ga Hajji Sulaiman Mulimira agasangibwa e Mutundwe Kirinyabigo.

Yagambye nti abantu ennaku zino beefudde abamanyi ennyo eddiini nga tebakyayagala kwetaba ku mikolo gya byabuwangwa, kye yagambye nti kinafuya empagi okwesigamizibwa Obwakabaka.

Yategeezezza nti ebintu ng’okusaddaaka, okumanyagana n’okubeera n’ekika ebitabo ebitukuvu bibyogerako era tebibivumirira. Awo weyewunyirizza ababiyita ebya Sitaani engeri gye babitaputamu.

Wabula yatabukidde abantu abeerimbika okubeera abasawo ab’ekinnansi ne bakola ebikolobero omuli okutta abantu nga beekwasa nti basaddaaka n’agamba nti bano babeera batemu abeetaaga okukwatako n’omukono ogw’ekyuma.

Yasabye ab’ekibiina kya Baganda Nkerettanyi okwagazisa abaana abato emirimu gye bakola kisobozese okuzimba emiti emito eginabaddira mu bigere nga bavuddewo.

Ye Ssentebe wa Baganda Nkeretanyi Kalibbala Aliddeki yasabye bannakibiina okukuuma obumu beewale ebintu ebiyinza okubatematemamu okugeza eby’obufuzi. Yagasseeko nti eby’obufuzi bikyukakyuka naye abantu basigalawo.

Yabakubirizza okukola ennyo beegobeko obwavu beekolere ku bintu ebitono mu bulamu bwabwe baleme kulinda gavumenti mu buli kimu.

Yabasabye okujjumbiranga omulimu gw’okuyooyoota amasiro ne Muzibu azaala mpanga ogukolebwa buli lwakubiri era nga gwabakwasibwa Obwakabaka mu butongole.

Ye Hajji Mulimira yennyamidde olw’abavubuka okwesamba emirimu gya bulungibwansi nga beebuuza wa webafunira kye yagambye nti kyabulabe eri Buganda ey’enkya.

Omukolo guno gwetabiddwako n’abekibiina kya Kabakamwenyango abavuga pikipiki eziwerekera Kabaka. 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bobiwine1 220x290

Poliisi n'amagye bagumbuludde abawagizi...

Poliisi n'amagye bagumbuludde abawagizi ba Bobi Wine e Wampeewo, Luteete - Magere

Wano 220x290

Abali ku gw’okutta Magara beeyongeddeyo...

EBY’OKUTULUGUNYA Abasiraamu abagambibwa okutta Susan Magara bikyalanda. Ensonga bazongeddeyo mu kkooti enkulu y’eba...

Bobiwine 220x290

Babakutte n'emijoozi gy'abawagizi...

Eggulo abavubuka ba DP bakwatiddwa n’emijoozi egisoba mu 500 ne giyoolebwa okumpi ne ofiisi zaabwe nga kigambibwa...

Pala0 220x290

Boogedde ebikankana mu kuziika...

DR. David Mugimu eyafudde ng’alumiriza abaserikale okumunyagako obulindo bw’ensimbi, eggulo yaziikiddwa e Kagganda...

Occc 220x290

Abagagga 36 baggyiddwaako abaserikale...

ABAGAGGA mu bitundu bya Kampala, Wakiso, Mukono, n’awalala baggyidwaako abaserikale abaabaweebwa eyali akulira...