TOP

Omuyimbi Disun Future akubye ku matu

By Martin Ndijjo

Added 13th March 2018

EMBEERA y’omuyimbi Disun Future egenze erongooka oluvannyuma lw’okufuna obujjanjabi.

Disun 703x422

Omusawo ng’ateeka eccupa y’amazzi etabuddwamu eddagala ku Disun

EMBEERA y’omuyimbi Disun Future egenze erongooka oluvannyuma lw’okufuna obujjanjabi. 

Disun Future omuyimbi wa Raggae ng’amannya ge amatuufu ye Emmanuel Disun Mubiru bamuddusizza mu ddwaaliro lya Ibii e Wandegeya ku Ssande ekiro gye yaweereddwa ekitanda ng’ali mu mbeera mbi oluvannyuma lw’ekirwadde ekimaze ebbanga nga kimumazeeko ebirembe okumutabukira naziirika.

Omu ku basawo abamujjanjaba yategezezza nti Disun yabadde asinga kukaba bulumi mu lubuto nga n’okutambula tasobola.

Yagasseko nti ekimu ku bizuuliddwa, Disun atawanyizibwa ekirwadde kya alusa nga kino kiva ku butalya mmere oba obutalira mu budde ne situleesi.

Wano kwe kubuulirira abayimbi n’abantu abalala abalina omuze guno okufaayo era bakitwale ng’ensonga enkulu okulya mu budde.

We twamutukiddeko ku Mmande akawungezi nga akubye ku matu, asuubirwa okusibulwa ekiseera kyonna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sit2 220x290

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza...

Omugagga akubye omutemu n’amusuuza emmundu

Sev2 220x290

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga...

Museveni atabukidde Katikkiro Mayiga ku by'emmwaanyi

Det2 220x290

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku...

Teddy afulumizza ekiwandiiko ku bya bba Bugingo

Kop2 220x290

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo...

Owa bodaboda gwe baakuba ennyondo alojja

Lap2 220x290

Eyatuga owa bodaboda asonze ku...

Eyatuga owa bodaboda asonze ku munene gw’akolera