TOP

Kenzo avuddeyo ku laavu ye ne Rema eyuuga

By Josephat Sseguya

Added 13th March 2018

REMA Namakula yeekyaye n’atandika kkampeyini okukaka muyimbi munne era bba, Eddy Kenzo amwanjule oba si kyo, agenda kumuta atandike obulamu obupya.

Whatsappimage20180313at50943pm 703x422

REMA Namakula yeekyaye n’atandika kkampeyini okukaka muyimbi munne era bba, Eddy Kenzo amwanjule oba si kyo, agenda kumuta atandike obulamu obupya.

Okukakasa kino, Rema yatonzeewo ekibiina mwe yatadde mikwano gye n’abawagizi be nga bakozesa ekigambo ‘#makeitofficial’ ekitegeeza, Kenzo alina okwanjulwa mu bakadde akakase nti ye (Rema) ye mukazi omutuufu kuba akooye okumuleka mu bbanga.

Ku konsati ya Rema eya Banyabo eyabadde ku Serena Hotel ku Lwokutaano, Rema yagaanyi okwanjula Kenzo ng’abawagizi be bwe baamusabye ng’agamba nti ne Kenzo tamutwala nga mukyala we n’asalawo nti okuddamu okumwogerako nga bba, asooka kumwanjula.

Mu kadde kano, ekivvulu ekyabadde kiwedde wabula nga Rema akyayimba, Kenzo yafulumye abantu ne balowooza nti yeekandazze lwa butamwanjula.

Bukedde bwe yatuukiridde Kenzo ku ssimu ku nsonga ze ne Rema, twamubuuzizza ebibuuzo era bwati bwe yazzeemu;

Bukedde: Rema nga yalaajanye nnyo, lwaki tomukuba mbaga n’ekyo ne kiggwa?

Kenzo; Nze siwasiza bantu oba kusanyusa bantu. Bwe kuba kuwasa nja kikola nga Kenzo.

Bukedde: Wawulidde otya era olowooza lwaki Rema mu kwogera n’okusiima abantu ab’enjawulo teyakoonye ku linnya lyo.

Kenzo: Owaaye y’amanyi. Ndowooza bwe yayagadde okukikola.

Bukedde: Okusinziira ku mbeera eyabadde ku Serena, tukitwale nti temuli bumu?

Kenzo: Ebintu bya Rema saagala kubyogerako kiwanvu era nkusaba tubikomye awo.

Abantu baawagidde Rema nga bagamba nti wadde Kenzo ayimbira nnyo emitala wamayanja, abayimbi abalala bwe bagendayo batambula ne bakyala baabwe, lwaki owuwe amuleka waka.

Ne bw’akomawo, tabeera waka nga kigambibwa nti alina abawala abalala b’alaba omuli ne gwe yaakawandiika mu kibiina kye ekya ‘Big Talent’ gwe bayita Pia Pounds wabula bombi babyegaana.

Kenzo olumu asula ku situdiyo e Makindye ku Salaama Road, awaka e Seguku n’addayo nga bukya ate n’avaawo n’adda mu Kampala gy’asiiba ebiruma Rema.

Mu konsati za Bannyabo essatu, Rema zaakoze ku wiikendi (Ku Lwomukaaga yabadde Satelite Beach e Mukono, ku Ssande yabadde Freedom City), ennyimba ezisinga yaziyimbye alaajanira mukwano gwa Kenzo; Olwa Linda lwe yakola ne Chris Evans, Rema yayogeredde ddala nti Kenzo tabeera waka.

Oluyimba lwa Good Lyfe olwa Nakudaata yaluzzeemu n’aggumiza ebigambo; ‘Waliwo bye bakugamba beibe nze kye mmanyi ebikuzibye amaaso, ‘Tokyampulira….’(yakizzeemu esatu). Endala mwabaddemu; Akaliro, Ku kaliba, Oli wange n’endala.

Oluvannyuma Bukedde yatuukiridde Rema n’agamba nti akyanyweredde ku bye yayogedde, alinze Kenzo yeesootinge.

Bano balina omwana omu, Amaar Musuuza ow’emyaka esatu. Alina n’omulala, Maya Mirembe Musuuza, 7 gwe yazaala mu Tracy Nabatanzi.

Maama wa Kenzo, Hajati Hadijah Nabagereka gye buvuddeko naye yasaba mutabani we ayanjulwe Rema wabula yagaana.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Koudjis1 220x290

Abalunzi baakutendekebwa ennunda...

ABAKUGU mu kulabirira n’okuliisa enkoko n’embizzi bakunze abantu bonna abalunda n’abaagala okutandika okulunda...

Tiya1 220x290

Ttiyaggaasi anyoose mu kikwekweto...

POLIISI ekubye amasasi mu bbanga n’omukka ogubalagala okugugumbula abatuuze abaatabukidde aba UMEME nga bawakanya...

Rema1 220x290

Sebunya bwe yansaba laavu saamudaaza...

REMA Namakula attottodde laavu ye ne Dr. Hamza n’atangaaza ku byaliwo mu kwanjula bwe yakyusa ssenga ku ssaawa...

Sak1 220x290

Gavumenti ekakasizza enkolagana...

Gavumenti ekakasizza enkolagana yaayo n'ekitongole kya SASAKAWA okutumbula eby'obulimi

Kig13 220x290

Robert Ssekweyama alangiriddwa...

Robert Ssekweyama alangiriddwa ku butendesi bwa Kiraabu ya Doves