TOP

Trump afuumidde Minisita w'ensonga z'ebweru

By Musasi wa Bukedde

Added 14th March 2018

PULEZIDENTI wa Amerika Donald Trump afuumudde Minisita ow’ensonga ezeebweru Rex Tillerson abadde yaakava ku bugenyi mu Afrika obwamutuusizza ne ku muliraano e Kenya.

Mediadcbrightspotcdncom 703x422

Minisita Rex Tillerson eyafuumuddwa

Trump yategeezezza bannamawulire eggulo nti, ekimugobezza Tillerson bwe butakakkaanya wakati waabwe ku nsonga nnyingi naddala ku bya North Korea, n’eby’endagaano ya Iran ku bya nukiriya Trump gy’ayagala okuyuzaayuza kyokka nga Tillerson takkiriza.

Amawulire ag’okugoba Tillerson, Trump yasoose kugassa ku mukutu gwe ogwa Twitter n’ategeeza nti, alonze akulira bambega ab’ekitongole ekikettera ebweru wa Amerika ekya CIA, Mike Pompeo okumuddira mu bigere ate Gina Haspel abeere dayirekita wa CIA omupya.

Bombi Pompeo ne Haspel balina kusooka kukakasibwa palamenti ya Amerika eya Senate balyoke batandike emirimu gyabwe mu butongole.

Trump agenze okugoba Tillerson nga yaakamala okulangirira nga bw’ateekateka okusisinkana omukulembeze wa North Korea Kim Jong un mu May omwaka guno era kigambibwa nti, Tillerson teyategedde ku bya Trump okukkiriza okutuula ne Kim Jong un bwe baludde nga baawakanyisiganya ebisongovu n’okuwera okulwanagana.

Tillerson okugobwa ku mulimu gwe yaakamalako omwaka gumu n’omwezi gumu, ayingidde mu byafaayo ng’omu ku baminisita ba Amerika ab’ensonga ezeebweru abatabugumizza kifo ekyo olw’obutakkaanya bw’abadde nabyo ne Trump.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kuba 220x290

Bamulumirizza okwokera mukazi we...

OFIISA wa poliisi ategeezezza kkooti y’omulamuzi Agnes Alum e Nakawa nga Mohammed Kateregga avunaanibwa omusango...

Pata 220x290

'Bawala bange bankuba ne bannyiga...

TAATA alumirizza bawala be okumukuba ne bamunyiga obusajja okukkakkana nga bamulaaye.

Ssengalogo1 220x290

Ayagala tuddemu omukwano

n’awasa omukyala omulala ne bazaala n’abaana. Naye kati yakomawo gyendi nti ayagala kumpasa era ampangisize ennyumba...

Hab2 220x290

Abadde yeyita owa URA n'afera abantu...

Abadde yeyita owa URA n'afera abantu bamugombyemu obwala

Mutaka 220x290

Omutaka w’e Salaama eyalaama okumuziika...

MUSAJJAMUKULU awuniikirizza mukyala we, abaana n’abooluganda bwe babaggyiddeyo ekiraamo okukibasomera nga yalaama...