TOP

Omukululo gwa Kayihura gw'alese ogutasiimuuka

By Eria Luyimbazi

Added 14th March 2018

GEN. Kale Kayihura yeegatta ku poliisi okuva mu kitongole ekirwanyisa abakukusa amagendo ekiri wansi wa URA mu November 2005 ng'adda mu bigere bya Gen. Edward Katumba Wamala.

Bati1 703x422

Amayumba g'abaserikale Kayihura g'abadde azimba e Naggulu.

Nga yeegasse ku poliisi, aliko ebintu eby'enjawulo by'akoze ne bikyusa ekifaananyi kya poliisi mu myaka 12 gy'amaze nga ye muduumuzi waayo.

Mu 2005 Gen. Kayihura yasanga poliisi erina ebitongole okwali; ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango, ekivunaanyizibwa ku baserikale n’enzirukanya y’emirimu, ekivunanyizibwa ku bikwekweto n'ekivunaanyizibwa ku mirimu egy'enjawulo byokka.

Yasalawo okutondawo ebitongole ebirala okuli; ekirwanyisa obutujju, ekya poliisi y’Ensi Yonna (Interpol), ekivunaanyizibwa ku guno na guli (Special Duties) eky'ebyamateeka, ekikessi, ekinoonyereza ku bujulizi obw'enjawulo (Forensics), ekivunaanyizibwa ku mbeera z’abaserikale, ekigulira poliisi ebintu, ekitendeka abaserikale, ekivunaanyizibwa ku mafuta, ekivunaanyizibwa ku kuluhhamya ku byobufuzi n'ekya Kampala n’emiriraano.

Ebirala kuliko poliisi y'obutonde bw'ensi n'eky'ettaka.

Okulaba ng'ebitongole bino buddukanyizibwa bulungi Gen. Kayihura yakuza abaserikale abalina okubiddukanya ng'okukuza abaserikale abakulira ebitongole bino okwasooka kwaliwo mu 2017.

Abaserikale abaasooka okukuzibwa ne batuuka ku ddaala lya Assistant Inspector General of Police (AIGP) kwaliko; Okoth Ochola kati omuduumuzi wa poliisi, Geoffrey Bangirana avunaanyizibwa ku kugulira poliisi ebikozesebwa, Fredrick Kiyaga, Moses Balimwoyo n'abalala.

Gen. Kayihura asobodde okufunira poliisi ebikozesebwa omuli mmotoka ez’enjawulo omuli ezitambuza abaserikale, ezizikiza omuliro, ebimotoka ebikkakkanya obujagalalo n'emmotoka ennawunyi era buli akulira ekitongole mu poliisi atambulira mu mmotoka y’ekika kya Land Cruiser TX. Yayonger ne ku bungi bwa pikipiki okuva ku 161 okutuuka ku 7,636.

Yayamba poliisi y’oku mazzi okufuna amaato ag’omulembe agayamba mu kulawuna ennyanja n’okulwanyisa ababbi.

 en oses li lwe yatongoza ekifo we bagenda okwekenneenyeza obujulizi e aggulu Gen. Moses Ali lwe yatongoza ekifo we bagenda okwekenneenyeza obujulizi e Naggulu.

Kayihura era yalagira abaserikale okubeera mu bantu n'okubasomesa ku nkola y'okukuuma amateeka n'okusembeza poliisi okumpi nabo. Kino yakikola bwe yasuumusa ekitundu kya Kampala n’emiriraano n'akiwa omuduumuzi nga eyasooka yali Andrew Sorowen okusobola okukola ku nsonga z’abantu.

Yagunjaawo ekitongole ekikuuma abakungu (VIPPU) n'ekikuuma Pulezidenti (Police Presidential Guard) era yunifoomu yaabwe yanjawulo ku z'abalala.
Mu ngeri y'emu yagaziya ekitongole ekikwasisa abaserikale empisa n’okulwanyisa enguzi ekya PSU era abangi bavunaaniddwa.

Kayihura era asobodde okuzimba enkolagana wakati wa poliisi ya Uganda ne poliisi z’amawanga ag’enjawulo n’okuzimba omukago okugatta abaduumizi ba poliisi mu buvanjubwa bwa Africa ogwa 'East African Police Chiefs Corporation' nga yali aluubirira okulwanyisa obumenyi bw’amateeka obusala ensalo.

Emikago gino gyayambako okukwata abamenyi b’amateeka ng'abeenyigira mu kutega bbomu ezatta abantu e Lugogo ne Kabalagala mu 2010 era abamu baggyibwa Kenya ne Tanzania ne baleetebwa mu ggwana ne bavunaanibwa.

Okukolagana obulungi n’amawanga ag'enjawulo kyayamba okukomyawo eyali akulira abayeekera ba ADF, Jamil Mukulu eyakwatibwa e Tanzania n'akomeze-bwawo era n'avunaanibwa emisango egy'enjawulo.

Pulezidenti Museveni w'amuggyidde ku buduumuzi bwa poliisi Gen. Kayihura y'abadde ssentebe w’omukago okugatta abaduumuzi b’omu buvanjuba bwa Africa era nga amyuka pulezidenti w’omukago okugatta abaduumzi ba poliisi mu Africa.

Okusobola okumanya ebiruma abantu Gen. Kayihura abadde tatuula mu ofiisi nga yeetuukira mu bitundu eby'enjawulo okusobola okumanya ebiriyo nga yasitukiramu n'atuuka e Kasese n’e Bundibugyo Abakonjo n'Abamba gye bali balwanagana nga bwe yatuukayo embeera yadda mu nteeko oluvannyuma lw’okuwa abaserikale ebintu bye balina okukola.

Gen. Kayihura era afubye okusikiriza abavubuka abayivu okwegatta ku poliisi era omuwendo gwabwe guzze gulinnya nga yasanga abaserikale 14,000 kati bali 43,452.

Mu kisanja kye Gen. Kayihura asobodde okuzimbira poliisi ekitebe e Naggulu n’okitandika ku pulojekiti ey’okuzimbira abaserikale ennyumba z'okusulamu 1,020 e Naggulu.

 kitebe kya poliisi kye yazimba e aggulu Ekitebe kya poliisi kye yazimba e Naggulu.

 

Era Kayihura ye yagoba abaserikale abalina amayinja okukomya okusula mu nkambi n'abalagira bafune we basula kiyambe abaserikale abawansi okufuna ennyumba.

Kayihura abaserikale abazzizzaayo mu kutendekebwa abamu ne bafuna ne diguli eyookubiri mu kukuuma emirembe eweebwa yunivasite y’ekibiina ky’Amawanga Amagatte mu ttendekero e Bwebajja n'abalala ne batwalibwa mu matendekero ag'enjawulo.

Afubye okulaba nga bajeti ya poliisi erinnya okuva ku buwumbi 86 okutuuka ku buwumbi 521 ekiyambye okukola ku bintu eby'enjawulo ebyali bizihhamye olw'ebbula lya ssente.

Okumanyisa abantu ebikwata ku poliisi yalonda aboogezi ba poliisi mu bitundu eby'enjawulo n’okuwa amawulire mu bwangu.

Kayihura abadde musaale mu kumalawo okwekalakaasa mu bitundu by’eggwanga eby'enjawulo naddala mu Kampala.

Yafuna ebimotoka ebifuuwa omukka ogubalagala n’amazzi agasiiwa. Poliisi yagisanga n'emmotoka zonna omugatte 273 kati ziri 1,515 okuva ku zikuba omukka ogubalagala ne bbaasi.

Yasanga poliisi terina nnyonyi abalekedde bbiri ate amaato gaali 20 kati gali 63. Poliisi teyalina ndogoyi kati ziwera 20 ate bupikipiki obw'emipiira esatu buli 104.

Yasikiriza abamu ku baali bakulira okwekalakaasa mu Kampala n'abazza ku ludda lwe nga bano baamuyamba okumubuulira enteekateeka ezikolebwa era buli lwe wabaddewo abaagala okwekalakaaasa nga poliisi ebagumbulula nga bukyali.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

A1 220x290

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral...

Ekyabadde mu ntujjo ya ‘Floral & Cocktail Party’ e Munyonyo ebyana gye byalagidde emisono n’emibiri nga bwe balya...

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...

Kuba 220x290

Eyagaba abalongo bange yantamya...

NZE Charles Adwor, mbeera Mukono. Nasisinkana munnange mu 2014 nga nkyabeera e Jinja. Ebiseera ebyo nalina omulimu...

Melon1 220x290

Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu...

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye...