TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Chagga alumiriza Bryan White okumutabula ne Weasel

Chagga alumiriza Bryan White okumutabula ne Weasel

By Musasi wa Bukedde

Added 14th March 2018

Chagga alumiriza Bryan White okumutabula ne Weasel ekivuddeko nnabe ali mu kibiina kya Goodlyfe.

Goodlyfeweasel 703x422

Weasel ku kkono ne Chagga ku ddyo

OLUVANNYUMA lw’omuyimbi  wa Goodlyfe, Weasel okutabuka n’agoba omu ku bamaneja b’ekibiina Chagga (Geoffrey Kyagambiddwa) ng’amulanga kumumalako emirembe n’okwagala okumutabula n’omugagga Bryan White,

Chagga avuddeyo nategezza nga nnabe ali mu kibiina bwavudde ku Bryan White okwefuga Weasel nga mutabani we tamuwa obudde  kukola emirimu gya kibiina  n’okuyimba ku bivvulu gye bamupangisizza.

Awadde eky’okulabirako ekya pulomota w’e Busia amanyiddwa nga Brian eyabaloopye ku poliisi n’okubasasuzza ssente  obukadde 4.5 zeyabawa gyebuvuddeko ku bukadde omukaaga bwe bamusaba Weasel okuyimba mu bivvulu bibiri ku Lwokusatu n’Olwokuna lwa wiiki ewedde e Busia ne Malaba ne batalabikako.

“Nga essaawa y’okugenda e Busia etuuse nanoonyeza Weasel nga talabikako. okuzuula ng’ali ne Bryan. Weasel yagambye alina by’amaliriza n’oluavnnyua tugende nazemu okumuwuuliriza nti Bryan amutwala wa pulezidenti Museveni amuwe ku ssente n'okwetegeekera omukolo gwe ogw'e Mbarara.”

Wabula eggulo Weasel yalangidde Chagga okuba n’omululu gwa ssente era nti alemeddwa okutegeera embeera ye ng’omuyimbi gy’ayitamu (akyakungubagira Moze) ye Chagga akola kimu kukwata ssente za bivvulu kubanga ayagala okufunako enjawuulo kati amukaka kuyimba.

Weasel era alabudde Chagga alekere awo okwogera ku Bryan White. agamba nti singa si Bryan amubeereddewo n’okumubudaabuda mu kiseera kino singa ali mu mbeera mbi kale tayinza kukiriza muntu kubatabula .

Mukwanukula ku nsonga zino, Chagga ategezezza nti Weasel ali mu bya kwekaza kubanga okuva Moze bwe yaffa abadde ayimba era ne ku Lwomukaaga yabadde ku mukolo gwa Bryan e Mbarara ng’ayimba.

“nze ndowooza Weasel amanye eky’okukola ave mu by’okwekaza. Omwezi oguwedde yayimbye ku kivvulu kya Ebonies ku Theater Labonita eyo nze yamututteyo? E Mbarara ewa Bryan nze namututteyo? Kati ayogeraki. Ate tewali ssente ze tukwata nga tamanyi n’omugabo gwe agufuna lwaki tang’amba tuzireke mu kifo ky’okulinda olunaku lw’okuyimba nagana okujja kubanga ali ne Bryan.”

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lionelmessifansmockcristianoronaldoafterargentinastarscoresagainsturuguay1206166 220x290

Messi n'era ayongedde okusiiwuuka...

Yateebedde Argentina ggoolo eyagiyambye okulemagana ne Uruguay (2-2) ku Mmande kyokka n’agugulana n’omuteebi wa...

Griezmannsad 220x290

Barcelona nzibu kuzannyiramu -...

Kyaddaaki Antoine Griezmann akkirizza nti Barcelona y’emu ku kiraabu ezisinga obuzibu okuzannyiramu omupiira.

Jose 220x290

Munnayuganda alidde obusumba e...

PAAPA alonze Munnayuganda Msgr Joseph Kizito okuba omusumba w’essaza lya Klezia ery’e Aliwal e South Afrika.

Abamukubasuubuzingabakunganyaembiddemukifokyamatookegebattikanga 220x290

Ekirwadde ekikwata ebitooke kitiisizza...

Ekirwadde kino kisensera ekikolo ky'ekitooke era kw’omanyira nti kikwatiddwa ekirwadde kino endagala zaakyo ziwotookerera...

Abamukubasentebengabalimulukiikoenakulabye1 220x290

Bassentebe ba LC1 ne 2 bakukkulumidde...

Stephen Nsereko ssentebe w’ekibiina ekigatta bassentebe b’ebyalo n’emiruka mu Kampala yategeezeza nti gavumeti...