TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Kayihura akoze lipooti enkakali ng'awaayo ofiisi

Kayihura akoze lipooti enkakali ng'awaayo ofiisi

By Musasi wa Bukedde

Added 15th March 2018

GEN. Kale Kayihura akoze lipoota enkakali ng’awaayo ofiisi y’Omuduumizi wa poliisi mu ggwanga mw’alagidde by’akoze, ebimulemye n’okusoomoozebwa okwolekedde poliisi.

Kayi 703x422

Kahihura lwe yakuza Okoth Ochora amumyuke mu September wa 2011.

Kayihura aduumidde poliisi okuva mu 2005 okutuuka 2018, Pulezident Museveni we yamugobedde, yeewaanye nga bw’akoze omulimu ogw'ettendo mu kiseera ekyo kyokka era n’akkiriza nti, bingi bigaanidde ddala.

Mu bimulemye mwe muli ettemu ly’okutta abantu erimu nga likoleddwa misana ttuku, emisango egigaanyi okuggwa egisoba mu mitwalo 15, n’okulongoosa ekifaananyi kya poliisi mu bantu.

Mu kusoomoozebwa kw’alekedde poliisi mwe muli: okuwamba abantu abazigu ne basaba ab’enju zaabwe kantanyi wa ssente, okutunda abantu mu buddu, abavubuka nga bakifeesi abeekolamu ebibinja ebibba n’okutigomya Bannakibuga, ebbanja ly’abasuubuzi n’ebitongole eriri eyo mu buwumbi 125, obubbi obw’ekifere obulimu okukozesa kompyuta n’amasimu, n’obutafuna ssente zimala ezikola emirimu.

Mu alipoota Gen. Kayihura gy’akoze nga yalina okukwasa eyamudidde mu bigere IGP Martin Okoth Ochola ku Lwokuna agamba nti, we yeegattira ku poliisi mu 2005 ng'adda mu bigere bya Gen. Katumba Wamala yasanga erwana kulaba ng’efuuka ey’omulembe ekole emirimu mu mbeera ey’ekikugu n’okukyusa ekifaananyi kyayo wamu n’okukola emirimu ng’ekwataganye n’abantu.

EMBALIRIRA YA POLIISI

Gen. Kayihura yagambye nti mu bbanga ly’amaze nga ye muduumuzi wa poliisi embalirira ya poliisi esobodde okulinnya okuva ku buwumbi 84 n'obukadde 600 mu 2005/6 okutuuka ku buwumbi 540 ekiyambye poliisi okukola emirimu okusingako.

Era ku mulembe gwe, Gen. Kayihura asobodde okuzzaayo abaserikale mu kutendekebwa era nga ku bano 9,495 basobodde okuganyulwa mu nteekateeka eno .

Okutuuka ku kino okuva mu 2005 poliisi esobodde okwongera ku matendekero kwongera kwago okuli ery’e Kibuli n’ery'e Masindi agaaliwo.

Amatendekero gayongeddeko kuliko ery’e Bwebajja eritekenda abaduumuzi, ery’e Kabalye Masindi eritendeka abaserikale bonna, Ikafe erisangibwa e Yumbe eritendeka abakkakkanya obujagalalo.

Waliwo eriri e Olilim eritendeka abalwanyisa obutujju n’e Kikandwa poliisi gy’eteekateeka okuzimba yunivasite yaayo.

POLIISI OKWEZIMBIRA N’OKUFUNA EBIKOZESEBWA

KU mulembe gwa Kayihura poliisi esobodde okuzimba ebintu ebyenjawulo omuli eddwaaliro lya Kansa e Kololo, ekitebe kya poliisi e Naguru, amayumba g’abasirikale , ekkolero lya poliisi eritunga yunifoomu z’abasirikale okuzzaawo poliisi y’e Nateete n’ebitebe bya poliisi ebirala okwetoloola eggwanga.

Poliisi era esobodde okuwongera ku bidduka omuli mmotoka, pikipiki, obugaali, amaato, ennyonyi n’ebintu ebiralala .

OKUNYWEZA EMIKAGO NENKOLAGANA NE POLIISI Z’AMAWANGA AMALALA

Gen. Kayihura era asobodde okunyweza enkolagana ya poliisi ya Uganda n’amawanga agenjawulo ng’eyita mu poliisi y’ensi yonna , emikago egyenjawulo omuli ogugatta poliisi mu Africa ( AFRIPOL) nga yabadde omumyuka wa pulezidenti asooka , omukago gwa Kigali International Conference Declaration nga yabadde ssentebe wagwo, omukago ogugatta amawanga g’obuvanjubwa bwa Africa EAPCCO nga yabadde ssentebe wagwo.

Mu nkolagana zino poliisi esobodde okusindika abasirikale baayo okwetaba mu kukuuma emirembe n’obutebenkevu mu mawanga agalina ebizibu nga Sudan ne Somalia.

PULOJEKITI ZALEESE KU MEEZA

Gen Kayihura w’aviiridde ku buduumuzi bwa poliisi alese pulojekiti ezenjawulo ezigenda mu maaso ng’ezimu zibadde zinaatera okuggwa.

Ezimu ku pulojekiti zino kuliko okuzimba block 17 omusula abasirikale e Naggulu nga wagendedde alese gatuuse okusereka ,eddwaaliro lya Kookolo e Kololo nga lyakomererwa, Etterekero ly’emmundu ku poliisi e Naggalama , ekitebe ky’ekitongole ekigulira poliisi e Nammanve, ebitebe bya poliisi okuli e Kabale , Budaka, Kyenjojo , kantiini ya poliisi e Naggulu, okuzimba ekifo webakanikira enyonyi za poliisi e Jinja , okuteeka kamera kunguudo, okufuna ennyonyi endala esuubirwa mu mwezi gwa August, okugayiza ekkolero we batungira yunifoomu z’abasirikale.

Waliwo ne pulojekiti endala z’alese nga zeetaagisa okukolebwa- Enkonge Kayihura z’asanze mu ofiisi ko nga mu zino kuliko okuzimba ekitebe we banoonyereza ku bintu ebyenjawulo ( Regional Forensics Referral Center , Ekitebe kya poliisi ekyenkomeredde ng’ekwataganye n’ekitongole kya Justice Law and Order Sector (JLOS) Okubangula abasirikale abanoonyereza ku buzzi bw’emisango nga bayambibwako abakugu okuva mu FBI.

Okuzimba amayumba omutwalo gumu, ebitebe bya poliisi 6 n’okuzimba ekitongole kya poliisi ekizikiza omuliro mu Kampala , okuzimba yunivasite ya poliisi e Kikandwa mu Wakiso, n’okutandika okulima emmere ku ttaka lya poliisi e Olilim, Ikafe, Kanungu ne Mubende.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Untitled3 220x290

‘Gy’otega amaggwa...’

ABAAGEREESA nti gy’otega amaggwa gye bakuzza anti lutuukira bulungi ku ba KCCA bano abaagudde mu kinnya kyabwe....

Pala1 220x290

Omuwala afiiridde mu ssaluuni omulala...

Omuwala afudde mu ngeri erese ekitundu mu ntiisa sso ng’ate munne bwe baasuze mu muzigo gwe gumu addusiddwa mu...

Muhayiminanamuwayaowajkldolphinswakatingalwaniraomupiiraneroseakonkuddyonezainahlokamweriaba9317 220x290

Fayinolo ya liigi mu basketball...

Flavia Aketcho kapiteeni wa JKL ne Sarah Ageno owa UCU buli omu awera kulemesa munne kikopo.

Ju1 220x290

Laba ekyabadde ku Introduction...

Laba ekyabadde ku Introduction Shower ya Julie Angume n'erinnya eppya omwami we lye yamuwadde

Bobiwine4e1575702705296 220x290

Engule Bobi Wine gye yawangudde...

ENGULE Bobi Wine gye yafunye ey’omuntu asinze okulwanirira eddembe lyobuntu mu Afrika esuubirwa okumwongerako ku...