TOP

Eby'enkizo Kale Kayihura by'akoze

By Musasi wa Bukedde

Added 15th March 2018

Poliisi yagisanga erina ebitongole 5 aleseewo 18 nga bikulirwa abaserikale abali ku ddaala lya Assistant Inspector General of Police (AIGP)

Kalekyezi 703x422

Kayihura ye yatandika okugula ennyonyi za poliisi.

  1. Poliisi yagisanga erina ebitongole 5 aleseewo 18 nga bikulirwa abaserikale abali ku ddaala lya Assistant Inspector General of Police (AIGP).
  2. 2 Ebitongole ebikola emirimu egy’enjawulo naddala ebyetaagisa obukugu (Specialized and Command Units) bye yasanga nga biri bina byokka nga kati biri 19.
  3. 3 Ebitundu ebirina abaduumizi (Police Regions) ezaali 11 nga kati 28 wonna mu ggwanga.
  4. 4 Poliisi ezitwala disitulikiti ne Division ezaali 80 nga kati 142,
  5. 5 Police Station ezaali 101 nga kati ziri 1,676 ne poliisi z’oku byalo eziri 1,663. Kyokka kigambibwa nti yadibya n’okuggyawo ebitongole ebimu omuli n’ekikessi ekya bakigatto, (Special Branch) ekigambibwa nti kyali kikulu nnyo mu kulwanyisa bakafulu mu buzzi bw’emisango era nga y’ensonga lwaki poliisi eremeddwa emisango mingi.
  6. 6 Okwongera ku muwendo gw’abasirikale n’okubawa amayinja
    Alaze nti yasanga abaserikale wonna mu ggwanga bali 14,000 nga kati bali 43,452 mu 2018 ekiyambye poliisi okulabika mu bitundu eby'enjawulo wamu n’okuyingiza abasirikale abalina obuyigirize ne bafuna ofiisi ezeetaagisa obukugu bw’ebyo bye basomeredde. Kyokka kigambibwa nti mu kuleeta abavubuka abato yasuula abakadde abaalina obumanyirivu ekintu ekizze kikosa poliisi mu ngeri eziwerako.
  7. 7 Kayihura era agamba nti we yeegattira ku poliisi yasanga ng'abaserikale tebakuzibwa kuba abamu baali bamaze ku ddaala erimu okumala emyaka 20 wabula kino n’akisalira amagezi abaserikale abasoba mu 15,000 ne bakuzibwa.
    Kyokka era kigambibwa nti, kino asobodde okukikola kubanga abadde muganzi embuga nga ye ssente bw’azisaba zijja ekintu ekitaaliwo mu kusooka ng’amagye tegannajja mu poliisi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sak1 220x290

Gavumenti ekakasizza enkolagana...

Gavumenti ekakasizza enkolagana yaayo n'ekitongole kya SASAKAWA okutumbula eby'obulimi

Kig13 220x290

Robert Ssekweyama alangiriddwa...

Robert Ssekweyama alangiriddwa ku butendesi bwa Kiraabu ya Doves

Ras13 220x290

Ekyabadde e Bugembe nga Bebe Cool...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako