TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Abadde yeefudde mmo mu kuguza abantu ettaka ery’empewo bamukutte

Abadde yeefudde mmo mu kuguza abantu ettaka ery’empewo bamukutte

By Rogers Kibirige

Added 15th March 2018

POLIISI y’e Nansana eggalidde omusajja abadde aguza omutuuze w’e Kyebando polotie y’empewo ng’akozesa ebiwandiiko ebijingirire.

Mpewo 703x422

Ddamulira nga bamukunguzza okumutwala ku Poliisi

Edward Ddamulira ye yaggaliddwa oluvannyuma lw’okukwatibwa ng’aguza Geoffrey Mugala poloti ey’empewo esangibwa e Kyebando ku bukadde 15.

Mugala bwe yabadde agenda okusasula Ddamulira ssente yasoose n’amusaba endagaano kwe yagulira poloti n’agimuwa kyokka yagenze okwetegereza omukono gwa ssentebe w’ekyalo ky’e Kyebando, Richard Mwanje n’ogwa Gerald Batte gw’agamba nti, ye yamuguza nga gyombi mijingirire era wano we yategeeredde nti Ddamulira ayagala kumubba.

Mugala yagasseeko nti, Ddamulira bwe yalabye amwekengedde n’ategeeza nti ayagala ensonga bagikutule mangu kuba yabadde alina gy’alaga e Mityana era wano we yasalidde ne ku ssente okuva ku bukadde 15 n’adda ku bukadde 12.

Mugala ng’ayambibwako banne baatutte Ddamulira ewa Batte n’amwegaana nti ye tamuguzangako ku poloti era n’omukono ogwabadde ku ndagaano si gugwe ne batemya ku poliisiy’e Nansana eyazze n’emukwata.

Ddamulira bwe yatuuse ku poliisiy’e Nansana yategeezezza nti naye waliwo eyamuguza poloti eno nga naye yabadde asazeewo okugitunda.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lim1 220x290

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako...

Ennyonyi ya UPDF egudde n'etemako omujaasi omutwe ne gubula

Wez1 220x290

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza...

Alipoota ya TWAWEZA yennyamiza eri abantu be Buikwe

Fut2 220x290

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga...

Ssenga alaze obulabe obuli mu kulaga abaana ebikolwa eby'ekikaba

Fut1 220x290

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana...

Obulabe bw’omuzadde okulaga omwana baganzi be

Sad1 220x290

Engeri abazadde gye bayingiza abaana...

Engeri abazadde gye bayingiza abaana mu nsonga z’obwenzi