TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Owooluganda lwa Suzan Magara emmotoka emutomedde n'emutta

Owooluganda lwa Suzan Magara emmotoka emutomedde n'emutta

By Henry Kasomoko Henry Kasomoko

Added 16th March 2018

OMUWALA owooluganda wa Susan Magara naye afiiridde mu ntiisa emmotoka bw’emutomedde n’afiirawo.

Maga 703x422

Kobusinge n'omwana we gwe yalese. Mu katono ye Suzan Magara eyattibwa.

Abadde avuga emmotoka agibuseemu n’adduka. Maureen Kobusinge Kasaija 31, abadde mupunta mu kitongole ky’ebyamazzi ne kazambi ekya National Water & Sewerage Corporation.

Yabadde ku bodaboda ng’anaatera okutuuka awaka ku Lwokusatu ku ssaawa 5:00 ez’ekiro, mmotoka Benz UAQ 442V n’emutomera.

Poliisi eteebereza nti, kiyinzika okuba ng’akabenje kaabadde kagenderere kubanga Benz teyabaddeko mataala ate ng’edduka nnyo. Bamulesezza omwana we omuto gwe yazaala mu Arthur Kaboyo.

OLUGANDA LWE NE MAGARA

Kobusinge abadde mukwano era owooluganda wa Susan Magara eyatemulwa nga February 27, 2018 oluvannyuma lw’okuwambibwa abatemu e Mengo. Kobusinge abadde atera okubeera ne Magara.

Kaboyo yatutegeezezza nti oluganda lwa Magara ne Kobusinge luli ku ludda lwa maama wa Magara.

Nnyina wa Kobusinge azaalibwa ne Mary Maureen Kabayanja, maama wa Magara. Kabayanja yafa mu 2003.

AKABENJE

Kobusinge yatuuse e Naalya ng’essawa zikunukkiriza mu 5:00 ez’ekiro.

Yavudde mu mmotoka eyamutadde okumpi n’enkulungo, n’akyama ku dduuka n’agulawo ebintu.

Yayimirizza bodaboda ku kkubo, kyokka ng’amafuta tegamala kwe kukyama ku ssundiro ly’amafuta erya Eagen ne bongeramu amafuta.

Bwe baavudde wano baabadde batuuka ku ssundiro lya Mogas okumpi n’ebbaala ya Liquid Silk e Naalya, wano we baamutomeredde.

Emmotoka tennaba kukeberwa kuzuula oba yabaddeko ekizibu, oba nga ddereeva waayo yasse Kobusinge mu bugenderevu kubanga emmotoka yabadde teyaka mataala.

Ddereeva yabadde akozesa ttooci, ate bwe yamaze okutomera Kobusinge, ye ddereeva n’abulawo.

Pikipiki yatomeddwa kuva mabega n’egwa mu luwonko era Kobusinge n’afiirawo. Owa bodaboda yatwaliddwa mu Malcom Medical Centre e Ntinda gy’ajjanjabirwa.

Omwogezi wa poliisi y’ebidduka, Charles Ssebambulidde yategeezezza nti emmotoka ekuumirwa ku poliisi y’e Kira - Namugongo kyokka ddereeva tannazuulwa.

Omwogezi w’ekitongole ky’Ebyamazzi, Vivien Newumbe, yagambye nti Kobusinge abadde yaakabeegattako emyezi esatu emabega era abadde mupunta ng’akolera ku ttabi lyabwe e Kyaliwajjala.

Waabaddewo okusabira omwoyo gw’omugenzi e Lubaga eno omulambo gye gwaggyiddwa okutwalibwa e Butema mu Hoima gy’agenda okuziikibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190719080947 220x290

Bukedde TV Livestream: Ekyenkya...

Bukedde TV Livestream: Ekyenkya

Massagebeingdonewebuse 220x290

By'olina okutunuulira nga tonnakola...

Nakola masaagi ne ntemwako okugulu era ntambulira mu kagaali - Dr. Karuhanga

Omukubayizingalikobyanyonyolawebuse 220x290

Abawala abazaddeko mubazze mu masomero...

Abawala abazaddeko okudda mu masomero kyakuyigiriza abalala obutakola nsobi n'okubudaabuda abafunye obuzibu bwe...

Teekawo1 220x290

Akakiiko ka bannamateeka kasazizzaamu...

OLUKIIKO olufuzi olwa bannamateeka ba Uganda Law Society olukwasisa empisa lusazizzaamu ekibonerezo ky'emyaka ebiri...

Club 220x290

Vipers bagitutte mu kkooti lwa...

KIRAABU ya Vipers bagitutte mu kkooti lwa kukozesa akabonero kaayo (logo) nga tebasasudde yakakola. Era eyabawawaabidde...