TOP
  • Home
  • Buganda
  • Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni ne Mayiga

Ebyabadde mu nsisinkano ya Museveni ne Mayiga

By Dickson Kulumba

Added 16th March 2018

KU Lwokusatu Pulezidenti Museveni yasisinkanye Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga mu maka g’Obwapulezidenti e Ntebe okwogera ku nsonga y’Ebyaffe, Gavumenti bye yeetema okuddiza Obwakabaka mu ndagaano eyateekebwako omukono Museveni ne Kabaka Mutebi nga August 1, 2013.

Mayiga 703x422

Katikkiro Mayiga ne Pulezidenti Museveni

Oluvannyuma lw’ensisinkano, Museveni yataddewo olukiiko lwa baminisita okwetegereza engeri ebintu bya Buganda ebikyasigaddeyo bwe bigenda okugiweebwa mu bwangu oluvannyuma lw’emyaka okuwera ebiri nga tewali kituukiddwaako.

Olukiiko olwateereddwaawo lukulirwa Ssaabawolereza wa Gavumenti William Byaruhanga, baminisita owebyensimbi Matia Kasaija, ow’ensonga z’omunda Gen. Jeje Odongo, owa Gavumenti ezeebitundu Tom Butime, ow'ettaka n’amayumba Betty Amoding, Col. Charles

Okello Engola minisita omubeezi ow'ebyokwerinda nga bano beetabye mu nsisinkano eno.
Bano baakuddamu okusisinkana n’Olukiiko Kabaka lwe yateekawo okukola ku nsonga z’Ebyaffe olukulirwa omumyuka owookusatu owa Katikkiro Apollo Nelson Makubuya, Ssaabawolereza wa Buganda Daudi Mpanga, Amb. William Matovu nga ye minisita w’enkuluze, n’Omulangira David Wasajja nga March 27, 2018.

Mu kugenda e Ntebe, Mayiga yabadde n’Omulangira Wasajja, Amb.Matovu, minisita w’ettaka e Mmengo Ying. Martin Sseremba Kasekende, Bashir Kizito ne Denis Bugaya abakozi ba Buganda Land Baord ne bongera okutegeeza Gavumenti ku bukulu bw’okukomyawo Ebyaffe ebikyasigadde.

Minisita w’ebyamawulire era Omwogezi w’Obwakabaka, Noah Kiyimba yategeezezza nti, okuva endagaano eno lwe yateekebwako omukono ebyapa 280 bye byakaweebwayo kyokka wakyabulayo ebirala bingi n’okuliwa kw’ettaka okuli Poloti 52 ku Kampala Road awali King Fahad Plaza, Muteesa House mu kibuga London e Bungereza.

“ Ensisinkano tugisuubira okuvaamu ebibala okumalayo ebyo byonna Buganda by'ebanja okuli n’okuliwa emmotoka za Ssekabaka Muteesa II ez’ekika kya Rolls Royce n’endala ezaatwalibwa, okusasula ebbanja ly’okupangisa mu bizimbe by’Obwakabaka. Olukiiko lwa baminisita olwa Pulezidenti lugenda kwongera okwekenneenya Ebyaffe ebikyabulayo,” Kiyimba bwe yategeezezza.

Ensisinkano eno eddiridde ensisinkano eyaliwo wakati wa Katikkiro wa Uganda, Ruhakana Rugunda ne Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga nga January 31, 2018.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bo1 220x290

Bobi Wine wakuvunaanibwa mu kkooti...

Bobi Wine wakuvunaanibwa mu kkooti y'Amagye

Index 220x290

Ebya Bobi Wine bibi! Agenda kuvunaanibwa...

Ebya Bobi Wine bibi! Agenda kuvunaanibwa kkooti y'amagye lwa kulya mu nsi ye lukwe

39248881101567630827890782826876916504461312n 220x290

Poliisi eraze emmundu bbiri, basitola...

Poliisi eraze emmundu bbiri, basitola n'amakerenda g'eyise enjaga ewa Bobi Wine:'Twabisanze mu wooteri mw'abadde...

Shecranes03 220x290

She Cranes ekubye Malawi mu za...

SHE CRANES ttiimu y’eggwanga ey’okubaka enkya ya leero eyongedde okulaga nga bw'eri emmalirivu okusigaza engule...

Hip1 220x290

Nnansi agenze ku ndagu okutereeza...

Nnansi agenze ku ndagu okutereeza amaka ne bamubba