TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Leero mu mboozi yaffe n'omukenkufu Julius Nyanzi tukulaze engeri butto wa Kaloti gy'ayinza okukuwonyaamu ekifu ne puleesa y'amaaso

Leero mu mboozi yaffe n'omukenkufu Julius Nyanzi tukulaze engeri butto wa Kaloti gy'ayinza okukuwonyaamu ekifu ne puleesa y'amaaso

By Musasi wa Bukedde

Added 17th March 2018

Leero mu mboozi yaffe n'omukenkufu Julius Nyanzi tukulaze engeri butto wa Kaloti gy'ayinza okukuwonyaamu ekifu ne puleesa y'amaaso

Ka2 703x422

Kaloti ezoozeddwa, abantu bettanira

KALOTI kye kimu ku birime ebisinga okuliibwa mu nsi yonna ne mu Uganda abantu bagirya mu mmere n’enva n’okuzimeketa nga mbisi. Ziri mu langi ez’enjawulo naye eza kipaapaali ze zisinga okulabika naye waliwo emmyuufu ne kyenvu.

Mu myaka gya 1700, Anne eyali Nnaabakyala wa Bungereza mu biseera ebyo, lumu yeesala akambe n’akozesa omubisi gwa kaloti okwejjanjaba era zaafuuka ez’ettunzi. Naye kaloti zirina emigaso mingi olw’okuba n’ekirungo kya ‘Beta-carotene’ ekikola ekiriisa kya vitamiini A, ekiyamba amaaso obutalwala nsenke, okwozaako ekifu n’okuziyiza puleesa yaago. Osobola okuzikamulamu butto okuva mu nsigo zaazo.

Kaloti ekulira emyezi ena, naye ssinga ogireka n’etuuka ku myezi mukaaga ereeta ensigo n’ofuna ssente mu nsigo n’ekimere wansi. Kkiro y’ensigo ngigula 5,000/-, mu yiika osobola okufunamu kkiro ezisoba mu 60.

Mu kifo ky’okulya ekitundu kya kkiro, ojja kwetaaga amatondo 5 aga butto wa kaloti buli lunaku ofune omuganyulo gwe gumu n’omuntu alidde ekitundu kya kkiro ate kizibu okugimeketa n’obudde oba tobulina.

Obubenje oluusi bw’olaba ekiro bujja lw’abantu abamu okuba nga tebalaba bulungi, olumukubamu amataala ng’atagala n’akola akabenje.

 nsigo za kaloti nga bwe zifaanana Ensigo za kaloti nga bwe zifaanana.

 

Ate abantu abamu batambula batomera ebisenge olw’amaaso agatalaba.

Zisobola okukuyamba ku maaso ssinga osobola okulya ekitundu kya kkiro oba okunywa amatondo 5 buli lunaku.

Kaloti eyamba okukuuma olususu nga luto n’okumalawo enkovu kuba alimu ekirungo ekiddaabiriza obutoffaali bw’omubiri n’oba ng’olabika bulungi.

Butto wa kaloti ssinga omugatta n’ensogasoga akuyamba obutakosebwa musana, kitegeeza bulungi ku bantu abakolera mu musana, bannamagoye n’abo abeeyerusa.

Alimu ekirungo ekyoza ekibumba, naddala ku bantu abanywa omwenge, okulya emmere erimu ebintu ebigiyamba okugikuuma okumalawo ebbanga nga tennafa, abanuusa omukka oguva mu mmotoka n’ebirala.

Mulungi ku bantu abalumbibwalumbibwa endwadde, zongera abaserikale amaanyi. Alimu omunnyo gwa ‘Magnesium’ n’oba nga tulumwa nnyingo.

Asangibwa ku Equatorial Mall dduuka nnamba 152 mu Kampala. Mufune ku 0702061652 / 0779519652.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Afrigo 220x290

Lutalo ekintu akyekwatiddemu

OMUYIMBI w’ennyimba za laavu, David Lutalo (ku ddyo) kirabika akooye bapulomoota okumulyako ssente.

Tege 220x290

Kyokka mwana ggwe Lydia Jazmine!...

MWANAMUWALA Lydia Jazmine abamu gwe bayita muninkini wa gundi yamalayo. Akola bimusanyusa nga tafuddeyo ku bantu...

Kuba 220x290

Eyagaba abalongo bange yantamya...

NZE Charles Adwor, mbeera Mukono. Nasisinkana munnange mu 2014 nga nkyabeera e Jinja. Ebiseera ebyo nalina omulimu...

Melon1 220x290

Weyune enkola ya kontulakiti ofunemu...

OKUKOLA kontulakiti n’omuguzi y’emu ku ngeri omulimi n’omulunzi mw’asobola okuyita okufuna akatale k’ebintu bye...

Remagrad2 220x290

Rema alangiridde bw’addayo ku yunivasite...

REMA Namakula alangiridde nga bw’agenda okuddayo ku yunivasite e Kyambogo amalirize diguli ye omwaka guno oluvannyuma...